TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Meeya Sserunjogi agumizza ab'e Lusanja - Kasangati ku mugagga abagobaganya ku ttaka

Meeya Sserunjogi agumizza ab'e Lusanja - Kasangati ku mugagga abagobaganya ku ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2018

ABATUUZE b’e Lusanja - Kasangati abasoba mu mitwalo esatu balumirizza omuggaga okukolagana n’abanene mu gavumenti okubasenda ku ttaka lye bamazeeko emyaka n’ebisiibo.

Meeyangayogerakoeriabantu2 703x422

Meeya wa Kawempe, Sserunjogi ng'agumya abatuuze b'e Lusanja

BYA ROSEMARY NAKALIRI

ABATUUZE b’e Lusanja  - Kasangati abasoba mu mitwalo esatu balumirizza omuggaga okukolagana n’abanene mu gavumenti okubasenda ku ttaka lye bamazeeko emyaka n’ebisiibo.

Bano beekubidde enduulu ewa Meeya wa Kawempe,  Emmanuel Sserunjoji ne bamutegeeza nti omugagaga Medard Kanyike, nnannyini kampuni ya Chichoncho e Kasangati bw'akolagana n’abanene mu gavumenti okubasengula ku ttaka gye buvuddeko yabayungulidde abasirikale ba FFU abakkakkanya obujagalalo  mu kitundu n’ebimotoka biweetiye n'atiisa okumenya amayumba gaabwe bamuviire ku ttaka.

Baabadde mu lukiiko lw’ekyalo okutema empenda ku ngeri gye bagenda okuvvuunukamu eky’okubasengula ku mpaka, meeya n’abagumya nti teri muntu yeena agenda kubaggya ku ttaka lyabwe

Sserunjogi yabategeezezza nti yamaze dda okwogera ne DPC wa Kasangati, Robert Katumwa n’amutegeza nga RPC wa Kampala North, Wisily Nganizi, ensonga zino bw’azimanyiiko era zaatuuse ne mu ofiisi ya Moses Kafeero, atwala Poliisi ya Kampala Metropolitan Police n’ayimiriza mbagirawo enteekateeka z’omugagga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.