TOP

Ebiri mu lipoota y'okutta Andrew Felix Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2018

Mu katambi Kayihura yabuuza nti ‘Andrew Felix Kaweesi afudde’ mbu Muhangi n’addamu nti, ‘Ehh ye, ye’ mbu Kayihura n'amuddamu nti ‘kikoleddwa weebale nnyo’.

Barya 703x422

Omugenzi Kaweesi (ku kkono) ng’ali ne Gen . Kayihura ku mukolo ogumu.

LIPOOTI ku kuttibwa kwa Kaweesi eyakoleddwa ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI nga kiri wamu ne poliisi ne ISO eraze obujulizi abeebyokwerinda bwe baakuhhaanya ku Gen. Kale Kayihura ne boofiisa ba poliisi abalala abaakwatibwa.

Lipooti eraga abajulizi 16, ekitongole ekya ISO be kyawaayo mu kakiiko ka National Security Council (NSC) okulumiriza Kayihura ne basajja be mu by’okutta Kaweesi.

Abajulizi bano bonna, baddamu okubuuzibwa akana n’akataano akakiiko akaalondebwa okuli aba poliisi, ISO ne CMI okukakasa obutuufu bw’ebyo bye boogera.

Kaweesi yattibwa March 17, 2017 e Kulambiro bwe yali ava ewuwe ng’agenda ku mirimu gye, yattibwa ne ddereeva we, Godfrey Mambewa n’omukuumi Kenneth Erau.

Abazigu abaali batambulira ku pikipiki baabasindirira amasasi agaabattirawo.

Abantu bangi abaakwatibwa mu ttemu lino ne basimbibwa mu maaso g’omulamuzi w’eddala erisooka Noah Ssajjabbi e Nakawa, munaana ku bbo n’abasindika mu kkooti enkulu.

Nga June 13, 2018 akakiiko akaalondebwa mu NSC kaddamu okwekeneenya obujulizi mu kuttibwa kwa Kaweesi, Erau ne Mambewa, abajulizi byonna bye baayogera, byali biteeka Gen. Kale Kayihura mu mupango, akakiiko kwe kulagira Kayihura ne basajja be bakwatibwe.

Mu bujulizi ISO bwe yawa aba NSC obwatwalibwayo dayirekita wa ISO Col. Frank Kaka Bagyenda mwalimu akatambi k’amaloboozi g’emboozi egambibwa nti yali wakati wa Kayihura ne ACP Herbert Muhangi eyali aduumira Flying Squad.

Mu katambi Kayihura yabuuza nti ‘Andrew Felix Kaweesi afudde’ mbu Muhangi n’addamu nti, ‘Ehh ye, ye’ mbu Kayihura n'amuddamu nti ‘kikoleddwa weebale nnyo’.

'ISO kuno kwe yagasse abajulizi 16 okuli; Kiiza Rwogamutyarise amanyiddwa nga Rasta, Frank Difas Nyindo, Christine Umohooza Mbabazi, Annah Ninsiima, Wilber Kiggundu, Moses Kintu Kavuma, Omugenzi Kaweesi (ku kkono) ng’ali ne Gen . Kayihura ku mukolo ogumu.

Hope Ainomugisha, Lazio Mugerwa, Difas Kadaala, Nnaalongo Nabawanuka, AIGP Fred Yiga, IP Mary Mbabazi, Col. Grant Mugabi wa SFC, ASP Aggrey Owor, Ahmed Kakonge ne Micheal Mugabi.

Abajulizi ba ISO;

KIIZA RWOGAMUTYARIZE (Rasta)

Amanyiddwa nnyo nga Rasta wa myaka 34, mu lipooti ya NSC agamba nti, mu 2012, yatuukirirwa omusajja Livingstone Ssennyondo okubaako by’atambuza okubitwala e Namugongo ne Buziga bye yazuula oluvannyuma nti zaali mmundu.

Agamba nti, yatuukirira poliisi, CMI ne ISO n’abategeeza naye tewali kyakolebwawo.

Agamba nti mu 2015 oluvannyuma lw’okutambuza ebitereke ebiwerako, Ssennyondo yamwanjula ewa Kayihura nga bali ku mukolo ogumu ogwaliko Kayihura e Wakiso, Nixon Agasirwe yamutwala ku misoni ezeebyokwerinda.

Oluvannyuma yasisinkana Agasirwe mu maka ge e Kololo namukwataganya n’abeebyokwerinda abalala okwali ne Muhangi.

Oluvannyuma baasisinkana ku Nyondo Pub ku lw’e Ntebe mu lukiiko olwalimu Ndahura Atwoki, Frank Mwesigwa, Muhangi, Jonathan Baroza, Agasirwe, Richard Ndabwoine, Abel Kitagenda, Martin Kimbowa, Fiasal Katende, Abel Tumukunde n’abalala ne bateesa okubaako omukungu wa Gavumenti gwe batta.

Agamba nti, misoni yayiika oluvannyuma lw’okukizuula nti we baali baagala okumuttira ku bbaala emu e Kololo waaliwo kkamera.

Yagambye nti nga March 10, baamuyita ku Indigo Bar e Nakasero gye yasanga bamayinja bebamu be yali nabo ku Nyondo bemugamba nti misoni y’omukungu wa Gavumenti bagiyimirizza kati baagala Kaweesi.

Ye ne Kimbowa baaweebwa omulimu gwa kuvuga pikipiki okwali Abel Tumukunde ne Muhangi, b’agamba nti baalina okukuba Kaweesi amasasi ate abalala, baali bbali nga balinze ssinga misoni erema Muhangi ne Tumukunde bbo bagimalirize.

Agamba nti, mu kitundu baatuuka ku ssaawa 12:30 ez’oku makya ne balinda Kaweesi afulumeyo.

Alumiriza nti, Ndahura yawa ssente Christine Mbabazi olw’omulimu gwe yali agenda okukola mu kutta Kaweesi n’endala eza ddereeva wa Kaweesi n’omukuumi ate ye ne bamusuubiza okumuwa amaka ga myaliiro esatu ga bukadde 500 e Kiwatule n’emmotoka Toyota Land Cruiser eya Silver.

Ku ssaawa 8:00 ez’ekiro baatuuza olukiiko olusemayo ku Kati Kati ku Lugogo Bypass era bwe baamala ne balumba Kulambiro okumaliriza misoni.

Olwamala okutta Kaweesi pikipiki zaavuga zidda Kyanja ne bagwa ku lw’e Gayaza, ne badda e Mulago nebayita e Wandegeya gye baasanga mmotoka ya UPDF eya Maj. Dick mwe bateeka emmundu.

Lipooti egamba nti, misoni yali ya ddakiika 12, baatandika okukuba amasasi ku ssaawa 1:40 ez’oku makya ne bamaliriza ku ssaawa 1:52. Bwe baamala, Rwogamutyarize yaggulawo emmotoka okukakasa oba Kaweesi teyalina jjaketi etayitamu masasi (bullet proof),Tumukunde n’aggyamu ensawo omwali kompyuta ya Kaweesi naagiwa Muhangi nga batuuse ku Shell e Mulago.

Agamba nti, yalaba Kaweesi ng’ali ku ssimu alina gw’ayogera naye. Lipooti egattako nti, ddereeva baali bamubuulidde eky’okukola mbu bw’awulira amasasi agalabula mu bbanga Tumukunde ge yakuba asiba emmotoka ne balyoka bagifukirira amasasi.

Olwamala misoni pikipiki ze baali bakozesezza baazizzaayo mu Ndeeba gye zaali zipangisiddwa nti era mu misoni yonna baakozesa essimu za seetirayiti ezitakettebwa.

Lipooti eraga nti, nga March 28, 2017 Rwagamutyarize yakwatibwa poliisi y’e Nansana ku biragiro bya Ndahura nga bamubuuza kyamanyi ku by’okutta Kaweesi n’abyegaana oluvannyuma nebamuyimbula.

SIMON PETER ODONGO (ISO)

Ye yakulira okunoonyereza naddala ku by’amasimu, yaakulira okunoonyereza ku misango egizzibwa ku yintanenti ne tekinologiya mu ISO. Mu lipooti agamba nti, yalagirwa mukama we Kaka okunoonyereza ku masimu gonna agakozesa setirayiti agaali e Kulambiro mu budde Kaweesi we baamuttira.

Agamba nti, nga March 17, 2017 e Kulambiro waaliyo amasimu ga seetirayiti musanvu era nga gakozesebwa okwekubira. Emu ku ssimu zino, yafuna essimu okuva ku layini ezabulijjo.

Essimu eno yayungibwa ku mboozi y’essimu omusanvu era baagenda okunoonyereza nga yali ya Kayihura.

Agamba nti, emu ku ssimu omusanvu yakubira Muhangi ne Muhangi naagiyisaamu ku nnamba ya Kayihura naye omuntu eyali ku ssimu ya setirayiti eyali akubye teyayogera n’aleka Muhangi naayogera ne Kayihura emboozi n’emala eddakiika 27 era awo we baafunira omukisa okulumika emboozi.

Okusinziira ku Odongo, essimu za sseetirayiti zaatambula okuva e Kulambiro ne zituuka e Mulago ku nkulungo, Wandegeya ne zikwata ku Kampala Road, Kololo ne zituuka e Naggulu awo essimu eyomunaana we yazeegattirako.

N’essimu ya Kaweesi ey’omulimu kiraga nti yaggyibwayo neetambula okuva e Kulambiro neeyita e Mulago, Wandegeya, Kampala Road, Kololo n’etuuka e Naggulu gye yava n’eddayo e Kulambiro.

Agamba nti essimu za seetirayiti zaavaako nga March 17, 2017 ku ssaawa emu ey’ekiro tezaddako.

CHRISTINE MUHOOZA MBABAZI

Mbabazi agamba nti, yali muntu wa Kaweesi ow’ebbali era alina bwino gwe yamuwa ku ‘flash disk’ ng’amugamba nti, kwaliko bwino wa Kayihura ku mirimu emicaafu gy’akola gyonna ne Rwanda ky’agamba nti kyandiba nga kye kyamussa kubanga yamugambako nti, Kayihura ayagala kumutta.

Yeegaana okubeera mu lukwe. Lipooti eraga nti abadde mu mawanga mangi okuli Kenya, Rwanda, Congo, Tanzania ne Uganda era amanyi ennimi nnyingi omuli Olwaswayiri, Olunyarwanda, Olulingara, Oluganda, Olunyankore, n’oluzungu.

FRANK DIFAS NYINDO

Wa myaka 25, makanika yali akolera mu garagi ya Bashir Motor Garage and Transporters mu Ndeeba.

Agamba nti, yali akanika emmotoka eyali efiiridde ku kkubo okuliraana amaka ga Kaweesi. Yali ne munne Mukwasi eyattibwa oluvannyuma.

Agamba nti ku ssaawa nga 2:00 yalaba mmotoka kika kya Super custom eyayimirira ku kikomera kya Kaweesi ne muvaamu omuserikale n’ayogera n’abakuumi.

Kaweesi bwe yafuluma ku ssaawa nga 3:00 munne naatandika okukwata ebifaananyi ng’akozesa essimu ye.

Mu yaadi nga 70 yalengera omusajja akuba emmotoka ya Kaweesi omukono ekyaddako kuwulira masasi.

Lipooti eraga nti, abatemu baabalaba ne babawerekereza amasasi ne baddukira mu lusuku. Amasasi asatu gaakwata emmotoka gye baali bakanika.

Mu lusuku baasangayo omukadde eyali alima naabazaayo mu kifo we baali battidde Kaweesi.

Yalaba omusajja eyalina abakuumi ng’ali mu ngoye ezaabulijjo ng’ayoola omusaayi gwa Kaweesi naaguteeka mu konteyina eya pulasitiika.

Bino byaliwo nga poliisi tennatuuka. Poliisi bwe yatuuka omukadde eyabazzaayo we battira Kaweesi yagitegeeza nti baalina kye baali balabye ku basse Kaweesi ne bakwatibwa ne batwalibwa ku poliisi ya Ttuba gye baabasibira ennaku bbiri oluvannyuma ne batwalibwa ku kitebe kya poliisi e Naggulu okusisinkana Kayihura.

Lipooti egamba nti, omuduumizi wa poliisi ya Kira Road ye yabatwala okulaba Kayihura ne bamulaga bye baali bakutte ku ssimu.

Waaliwo Mwesigwa era mbu olwalaba akatambi n’akyusa mu ntunula n’abaako bye yayogera ne Mwesigwa mu Runyankore bbo bye bataategeera.

Oluvannyuma essimu zaabwe ne zibaggyibwako. Baatwalibwa mu Sheron Hotel e Kasubi gyebaabatulugunyiriza okumala emyezi esatu.

Oluvannyuma nga babayimbudde yakizuula nga munne Mukwasi yali yattibwa ku luguudo oluva e Masaka okugenda e Mbarara.

ANNA NINSIIMA

Yali alongoosa bbaala okumpi ne Kaweesi we baamuttira naalaba pikipiki bbiri eziriko abasajja babiri babiri nga baambadde ebikooti ebifaanana ebya poliisi nga zigoberera mmotoka ya Kaweesi.

Omu ku be baali baweese naakuba omupiira gw’emmotoka ogw’emabega ne babuuka ku pikipiki ne batandika okufukirira mmotoka ebyasi ne babuukira pikipiki ne babulawo.

WILBER KIGGUNDU

Yagambye nti yatuuka ku Jomayi siteegi ku ssaawa 5:30 naakola wabula pikipiki n’eggwamu amafuta naasimba ku Kaboko siteegi ng’akyanoonya amafuta, banne abalala Godfrey, Sweet Pepsi, ne Kakonge ne bamwegattako ne bamuwaamu eya bbiya n’alaba emmotoka ya Kaweesi ng’eyitawo kyokka yali yakamuyitako naawulira amasasi, aba adduka banne ne bamuyita agenda okuddayo we yalese pikipiki ye yasanga abaserikale bagyetoolodde ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi Kira Road gye baamuggya okumutwala ku SID e Kireka ne bamuta nga May 4, 2017.

LUMU

Agamba yava ewa ssenga we ku ssaawa nga 1:00 ku makya ng’agenda ku poliisi y’e Ttuba okuloopa pamiti ye eyali emubuzeeko n’alaba abasajja babiri abaali bambadde erementi n’ebijaketi ebifaana ebya poliisi nga beefudde abakanika pikipiki bwe yali asembera omu naakwata mu nsawo abeeko kyaggyayo ye kwe kutya natabasemberera.

MARY MBABAZI

Muserikale wa poliisi akulira okwekebejja ebizibiti n’obujulizi mu poliisi ya Kampala n’emiriraano.

Mukwano gwa Christine Mbabazi okuva 2015 era yagambye nti, Mbabazi yamutegeezaako nga Kaweesi bwe yamugamba nti Kayihura ayagala kumutta.

Lipooti eraga nti, bino Mbabazi yabimutegeeza ku lunaku Kaweesi lwe yattibwa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA