TOP

KCCA eyimirizza okumenya amayumba g'abatuuze mu Kampala

By Hannington Nkalubo

Added 11th October 2018

OLUKIIKO lwa KCCA luyimirizza okumenya amayumba g’abatuuze mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala nti basooke bakole okunoonyereza okw’enjawulo ku bigendererwa ebikirimu.

Lukwago 703x422

Lukwago ng'akubiriza olukiiko lwa KCCA

Ekitongole ekitegekera ekibuga kyafulumya olukalala lw’amayumba agasoba mu 500 agagenda okumenyebwa olw’obutaba ku pulaani era bannannyini go ne balumiriza nti waliwo abagagga mu Kampala nti be bali emabega w’olukwe luno .

Eggulo Loodi Meeya Erias Lukwago yatadde akulira ekitongole ekitegekera ekibuga Moses Atwine, ku nninga annyonnyole oba olukalala lutuufu n’akakasa nti lutuufu era bakansala ne bayisa ekiteeso obutageza kukwata ku nnyumba ya muntu yenna.

Baagambye nti balina okusooka okuddayo okwetegereza balabe oba nga ddala ennyumba zino zisaanye okumenyebwa ye bwe babeera baakuzimenya balina kuyita mu mitendera ki okusobola okulaba nga bannanyini zo ate tebanyigiriziddwa n’okuweebwayo ekiseera ekimala okutegulawo ebintu byabwe ate n’abalina obusobozi bazikyusa zituukane n’omutindo gw’ekibuga.

Mu lukiiko luno olwatudde ku City Hall eggulo, Lukwago yagobezza bakansala lipooti erimu bye baasalawo mu lukiiko lw’okutabagana ye lwe yagaana okwetabamu n’alusindikamu looya we Nathan Mpenja kyokka ne bamugoba.

Mu bimu ku byamutabudde, yategeezezza nti lipooti gye baabadde bamwanjulira teraga ani akulira ekitongole kya KCCA kubanga enfunda nnyingi Jennifer Musisi yeeyanjula nga y’akikulira ye Lukwago ky’awakanya.

Lipooti eno yatabudde Lukwago n’ayagala okwongerayo olukiiko nga yeemulugunya nti byonna ebyasalibwawo biyamba ludda lwa minisita ne dayirekita Jennifer Musisi Ssemakula.

Lukwago yanokoddeyo akatundu akalaga nti, minisita wa Kampala ne bakansala be bamulinako obuyinza kyokka nga mu bye baasalawo tewali we bamwogererako nti y’akulira ekitongole kya KCCA era Jennifer Musisi ali wansi we.

Kansala Kenedy Okello eyayanjudde lipooti ne banne okuli Bruhan Byaruhanga (Kyambogo), Fatumah Nsereko (Kampala Central), Doreen Sabuka n’abalala baagezezzaako okuwaliriza bayise lipooti kyokka Lukwago n’agibagobesa baddemu bagitereeze.

EKIFO KYA BASALIRWABAKIRONDEDDEMU OMULALA

Lukwago yatadde ku ninga akulira okutegekera ekibuga Moses Atwine eyabaddewo ku lwa Jennifer Musisi amuwe lipooti ku ssente ezaakozesebwa ku kakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereirwe akaamunoonyerezaako, lipooti ku butale aka USAFI ne Wandegeya ku ngeri gye buddukanyizibwamu kyokka ne bamugamba nti zikyakolebwa.

Lukwago yabasabye lipooti ekwata ku ssente ezibadde ziva mu kivvulu kya kanivo (Kampala Carnival) ekyayimiriziddwa kyokka ne bamugamba nti nayo

yabadde tennaba kuggwa era n’alagira nti zonna bateekwa okuzimuwa mu bbanga lya mwezi gumu.

Oluvannyuma Lukwago yayanjulidde bakansala ekifo ky’okugereka obusuulu bw’ebizimbe ekibaddemu omubaka wa Munisipaali y’e Bugiri, Asuman Basaalirwa n’ategeeza nti kikalu era yakirondeddemu munna FDC Dan Wandera Ogalo era awatali kwesalamu ne bamusemba akitwale.

Bakansala nabo baakyusizza obukiiko ne balonda obupya era kansala Ismail Ddamba yasigadde ku by’enjigiriza, Bruhan Byaruhanga wa by’amateeka, Abubaker Kawalya, kutegekera kibuga, ate Kenedy Okello kikula ky’abantu ne Alice Omony byabulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsa 220x290

Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma...

Omuyimbi Busy Criminal yejjusa ekyamuggya mu kusoma ntandike okuyimba, agamba nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Kwata 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Tukulaze omusajja gwe baakutte mu bukambwe ne bamukubisa ebigala by’emmundu mu Kampala. Aba famire ye bagguddewo...

Hib2 220x290

EBIKWATA KU KICONCO

EBIKWATA KU KICONCO

Co2 220x290

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku...

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja