TOP

Oluguudo ku Arua Park baluguzizza omugagga w'omu Kampala

By Hannington Nkalubo

Added 3rd December 2018

OLUTALO lubaluseewo mu banene abakulira Kampala oluvannyuma lw’akakiiko k’Ebyettaka okuggyawo oluguudo ku Arua Park ne lufuulibwa poloti era n’eguzibwa omugagga.

United 703x422

Oluguudo olwafuuliddwa poloti.

Bino aba KCCA abatwala Kampala Central nga bakulemberwa Meeya Charles Musoke Sserunjogi, olwabiwulidde ne batwala tulakita zikole mangu oluguudo olwo.

Era ne bawa ekiragiro obutabaawo yeetantala kukolerawo kintu kirala okuggyako okulekawo oluguudo.

Tulakita olwatandise okukola ekkubo wiiki ewedde, omugagga Boaz Ndyamuhaki n’ajja n’abaziyiza ng’agamba nti eyo poloti ye gye yagula mu mateeka.

Aba KCCA baagaanyi okuwuliriza omugagga, olwo ne yeekubira enduulu mu kkooti eyawadde ekiragiro okukola ekkubo kuyimirire.

Poloti eno eri mabega w’essundiro ly’amafuta erya Total eriri wakati wa Ben Kiwanuka Street ne Arua Park.

Poloti yagaziyiziddwa n’etwala oluguudo lwa Wilson okuva we lusalira olwa Johnson okutuuka ku Ben Kiwanuka.

Oluguudo olwo we luyitira ku Arua Park lwayawulwamu enguudo bbiri. Olumu oluliraanye Total lwe lufuuliddwa poloti, kati olwo emmotoka zikozese lumu oluyita ku dduuka lya kkampuni ya Roofings.

Ebintu byatandikira mu kakiiko k’Ebyettaka aka Kampala District Land Board, akakulirwa Yusuf Nsibambi.

Akakiiko kaatuula mu 2014 ne kayisa ekiteeso ekitondawo poloti eyo. Mu 2017, olukiiko nga lusinziira ku kiteeso kya 2014 ne lufulumya ekyapa.

Loodi Meeya Erias Lukwago, agambye nti takkiririza mu nkola ya kutunda makubo era abadde talina ky’akimanyiiko.

“N'genda kutaganjula ebitabo okulaba ani yatunze oluguudo luno...”

Yategeezezza nti waliwo enguudo ezimu ezaatundibwa nga tannajja ku bukulembeze kyokka tasobola kukkiriza kutunda nguudo ku mulembe gwe.

Meeya Sserunjogi yategeezezza Bukedde nti bwe yabitegeera ne yeebuuza ku Mumyuka wa Dayirekira wa KCCA, Samuel Sserunkuuma nga naye talina ky’amanyi. Kwe kukkaanya okukola ekkubo.

Poloti we yatondeddwa wazingiramu ofiisi ya NRM, kaabuyonjo y’olukale ne poliisi y’oku Arua Park.

Ku Mmande ewedde aba KCCA baatutte ebyuma ne batandika okukola ekkubo.

Kyokka ku Lwokutaano, Boaz(omugagga eyaguze) n’aleeta ekiragiro kya kkooti ekibayimiriza. “Ekkubo teritundibwa.

Olwo abantu banaayita wa? Buli eyeenyigidde mu kikolwa kino ateekwa okunoonyerezebwako akangavvulwe”, bwe yagambye. Kyokka Nsibambi yagambye nti KCCA ereme kweyisaako.

Awo waliwo poloti y’omuntu era aba KCCA ekyo bakimanyi kubanga omuntu tayinza kumala gava eri n’agula poloti mu Kampala ng’abakwatibwako tebamanyi.

Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju yategeezezza nti baafunye ekiragiro kya kkooti ekyaweereddwa Boaz Ndyamuhaki ng’abayimiriza okukola ekkubo nti alina ekyapa .

“Twayimirizza okukola oluguudo tunoonyereza ku butuufu bw’ekyapa ekyo. Amateeka agafuga enguudo tegakkiriza kulugabako kyapa wadde okuluziba okuggyako ng’otaddewo oluguudo olulala.

Tetusobola kutunda luguudo wadde okuluggyawo”, bwe yagambye. Enkya ku Lwokubiri bagenda mu kkooti etawulule ensonga ezo Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire yagambye nti omuntu yabatwalidde ekiragiro kya kkooti kyokka ne bakimugobesa nti yabadde takiyisizza mu makubo matuufu.

Yabadde ateekwa kutwala kiragiro ekyo mu kitongole ekikola ku by’ettaka ne bambega e Kibuli bamuyambe era ffe tetwatawaanye kukissa mu nkola kubanga kyabadde kiyisiddwa mu makubo makyamu.

Abaabadde bakola oluguudo bwe baafunye ekiragiro ne bakigondera ne bavaawo. Eyali akiikirira ekitundu ekyo mu KCCA, Kansala Abdukarim Lukodda yagambye nti omugagga yaguze mpewo.

Ssentebe wa LC1 atwala MUNNO B omusangibwa Arua Park, Muzamir Lukumu yategeezezza nti yafunye ekiragiro kya kkooti ekiyimiriza KCCA okukola kyokka naye tamanyi kituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera