TOP

Omubaka Nsereko asattizza Gav't

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

OMUBAKA wa Kampala Central mu Palamenti, Muhammad Nsereko era minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obutebenkevu mu Gavumenti y’oludda oluvuganya, atiisizza okutwala Gavumenti mu kkooti ng’awakanya eky’okuleeta paasipooti ey’awamu egatta amawanga ag’obuvanjuba bwa Africa empya.

Mohammadnsereko 703x422

Omubaka Muhammad Nsereko

Mu kiwandiiko kye yafulumizza yagambye nti, kibeera kikyamu omuntu eyaakasasula paasipooti ng’amanyi nti, egenda kumala emyaka 10 ate okumugamba okuddamu okusasula ssente endala.

Yasabye annyonnyolwe ekigenda okukolebwa ku Bannayuganda abali ebweru w’eggwanga abatasuubira kukomawo mu myaka ebiri ate nga n’ebitebe ebimu tebirina busobozi bukubisa paasipooti empya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo