TOP

Musisi asiibudde Erias Lukwago

By Hannington Nkalubo

Added 6th December 2018

DAYIREKITA wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula asiibudde Loodi meeya Erias Lukwago n’amukakasa nti buli lipooti gy’abadde amwagalamu omumyuka we Samuel Sserunkuma agenda kugimuwa.

4736800618612642006578605997438146826993664n 703x422

Musisi ng'asiibula Lukwago

Yamusiibudde ku Lwokubiri. Musisi yeesitudde n’agenda mu ofiisi ya Lukwago.

Yabadde n’omumyuka we Samuel Sserunkuma ne Peter Kaujju ayogerera ekitongole.

Ate Lukwago yabadde n’omumyuka we Hajjat Sarah Kanyike. Lukwago amaze ebbanga nga talima kambugu na Musisi.

Obusungu baabutadde ku bbali ne banyumya emboozi eya ddala ng’abakulu mu kitongole. Bonna baabadde basanyufu era abaabadde ebweru wa ofiisi ya Lukwago beewuunyizza enseko ezaabaddemu n’okutema obukule okuva mu bakulu bano.

Akafubo kaatutte essaawa nnamba nga banyumya. Lukwago yavuddeyo ne mu ntebe mwe yabadde n’atuula mu ndala mw’alabira abagenyi ng’ali mu mbeera eya bulijjo okulaga nti mukkakkamu era gw’anyumya naye tamulinaako ttabbu.

Baatuusizza ekiseera omu n’abuuza munne nti naye ddala bulijjo kiki ekitutta awo enseko ne zibula okubatta! Oluvannyuma beekubisizza ebifaananyi ebya wamu.

Ebifaananyi by’omunda mu ofiisi bwe byawedde ne bafuluma ebweru ku maddala nawo ne beekubisizaawo ebifananyi buli omu n’asiibula munne mu mukwano.

Lukwago yagambye nti yamusiibudde mu butongole era yamukakasizza nti lipooti n’ebiwandiiko byonna by’ayagala mu kitongole Sserunkuma ne badayirekita abakulira ebitongole 10 bagenda kubimuwa.

Lukwago yategeezezza nti ekyamwanguyizza okusiibula Musisi z’engendo zaagendako okuva kati okutuusa nga December 20, kale nga yandisanze agenze.

Musisi yawandiikira pulezidenti ng’amutegeeza nti agenda kukoma okukola nga December 15, 2018 era mu bbaluwa nassaamu ensonga ez’enjawulo ezimusoomoozezza naddala obutayambibwa bannabyabufuzi.

Musisi ekiseera kino agenda asisinkana abantu ab’enjawulo ng’abasiibula era wiiki ewedde yasisinkanye abamu ku bakozi , abasomesa n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...