TOP

Jennifer Musisi alaze ky’agenda okuzzaako

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2018

JENNIFER Musisi nga tannagenda ku siteegi kubiibya ku kabaga akamusiibula, baasoose kumubuuza nti, “Dayirekita ogenda, naye ani gw’olese owanzeeko eddusu anaakuddira mu bigere?” Musisi mu ngeri ey’okusaaga n’ayanukula nti, “Mbalekedde Yesu kubanga y’asinga obukulu mu byonna.”

Labe 703x422

Obuyinza obulonda Dayirekita wa KCCA bwa Pulezidenti era asuubirwa okulonda anaddira Musisi mu bigere kubanga ofiisi agivaamu ku nkomerero ya wiiki eno era okuva ku Mmande ya wiiki eno abadde yeetaba ku bubaga obumusiibula n’okusisinkana abantu ababa bamuleetedde ebirabo ebimwebaza olw’emirimu gy’akoledde Kampala mu myaka musanvu n’ekitundu gy’amaze ku bwadayirekita.

Ku kabaga ka bannamawulire akaategekeddwa KCCA ku Lwokubiri, Jennifer yagambye nti yaguze dda ebinu (empale ennyimpi) z’agenda okuliiramu obulamu ku bbiici kubanga oluvannyuma lw’okuwummula ekifo ekyo, agenda kuba n’obudde obucakalako ne famire ye.

“Ng’enda kufuna n’obudde obuwera ne famire yange nsobole n’okubafumbiranga ku ttooke ebboobeze obulungi.” Bwe yayongeddeko.

Yagambye nti amawulire gonna agabadde gawandiikibwa gabadde gamusanyusa kubanga n’agabadde gakolokota enkola yaabwe gabadde gamuyamba ne bakozi banne okutereeza awaba watateredde.

Yagambye by’akoze bingi, kyokka n’ebisoomooza nabyo bibadde bingi era abanaamuddira mu bigere abaagaliza buwanguzi naddala mu kukola kw’ebyo ebibadde bikyalemye.

Wakati mu kunywa n’okulya, Musisi yatandise okusala endongo ne bannamawulire nga bwe beekubya ebifaananyi.

Musisi yawandiikira Pulezidenti ebbaluwa erekulira nga October 8, 2018 era n’alaga nti mu ofi isi avaamu nga December 15, omwaka guno.

Obuyinza obulonda anaamuddira mu bigere kati buli wa Pulezidenti era kigambibwa nti mu kusunsula amannya ge bamutwalira, Minisita wa Kampala Beti Kamya naye ayambako.

ANI ADDIRA MUSISI MU BIGERE?

Ensonda mu gavumenti zigamba nti waliwo amannya g’abantu abasongeddwaako okuddira Musisi mu bigere.

Agamu ku mannya agagambibwa okuba nga gaatunuuliddwa kuliko erya Andrew Kitaka, Patrick Mukiibi, Sam Sserunkuuma abadde amyuka Musisi ku bwa Dayirekita, Fred Ruhindi, Henry Mayega n’abalala abakyakuumiddwa nga ba kyama.

Kitaka mukozi wa kitongole kya KCCA nga y’avunaanyizibwa okukola enguudo mu Kampala era kigambibwa nti waliwo baminisita abamukkiririzaamu abaategeezezza Pulezidenti nti ekifo akisobola.

Yajja ne Musisi mu KCCA mu 2011 era abamusemba ewa Pulezidenti bagamba nti pulaani y’ekibuga ne gye kirina okugenda amanyiiyo bulungi.

Mayega naye nti alina baminisita n’abakozi mu maka g’Obwapulezidenti abamusemba ewa Pulezidenti nga bagamba nti asobola bulungi okuzannya ekifo kya Dayirekita n’ebyobufuzi bya Kampala n’akkakkanya Loodi Meeya Erias Lukwago.

Ruhindi naye engeri gy’ali munnamateeka ate munnabyabufuzi omukkakkamu akkiririza mu kuteesa, naye bamulabamu obusobozi ku kifo kino.

Mukiibi omumyuka wa Dorris Akol akulira ekitongole ky’omusolo (URA) naye atunuuliddwa.

Ono bamulabamu obukugu obunyweza ebyo ebikoleddwa Musisi n’okukola ku bimulemye awatali kuttira muntu ku liiso; kyokka abatamusemba bagamba nti obutabeera munnabyabufuzi kiyinza okumukaluubiriza okufaananako ne Musisi eyalekulidde ng’ensonga enkulu gy’awa butafuna buwagizi bumala okuva mu bannabyabufuzi.

Kyokka omukungu omu mu gavumenti yagambye nti Pulezidenti asobola okutwala obudde nga yeetegereza abantu era asobola okuleka Sserunkuuma ng’agira akola nga Dayirekita okutuusa ng’asazeewo gw’anaakwasa ekifo ekyo mu bujjuvu.

Ekifo kya Dayirekita wa KCCA kyatondebwawo etteeka lya KCCA Act 2010 era Musisi ye yasoose mu kifo ekyo era azze afuna okusoomoozebwa mu bintu eby’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu