TOP

Buubuno obuwaayiro obuli mu ndagaano ya KCCA ne Nabugabo

By Moses Kigongo

Added 21st December 2018

ENDAGAANO KCCA gye yakola ne kkampuni ya Nabugabo Joint Venture Ltd ebadde egulumbya abasuubuzi b’omu Kampala wakati omutwe yiino.

Abuigabo 703x422

Ssentebe w’aba suubuzi abeegattira mu kibiina kya KATA Katongole (ku kkono) n’abamu ku basuubuzi be ku kkooti y’ebyobusuubuzi e Nakasero. Amuddiridde (ku ddyo) ye looya waabwe Tomusange.

Erimu obuwaayiro obwewuunyisizza abasuubuzi ababaddenga bakakibwa okusasula ssente za kasasiro ekibatuusizza n’okutwalibwa mu kkooti y’ebyobusuubuzi ebakake okuzisasula.

  • Kkampuni za kasasiro ziteekeddwa okuwa buli musuubuzi gwe ziyoolera kasasiro akaveera akasitula liita 100 ate nga kalina obugazi n’obuwanvu bwa 60 x 90 cm. Bateekeddwa okuba nga kasasiro bamunona ku dduuka oba mu mulyango gw’omusuubuzi abeera yakkaanya nabo mu nkola ya ‘door to door services’.
  • Mu bukwakkulizo obulala mulimu; Okugaana kkampuni za kasasiro okusasuza abasuubuzi ssente ezisuka 30,000 buli mwezi.
  • Kkopi y’endagaano eno eyafuniddwa olupapula lwa Bukedde gye buvuddeko, erimu akawaayiro akawa omusuubuzi omukisa okukkiriza oba okugaana okukolagana ne kkampuni yonna eyagala okumuyoolera kasasiro kasita abeera nga takkaanyizza na bukwakkulizo bwayo.
  • Omusuubuzi akkirizza okuzisasula bateekeddwa okumuyoolera kasasiro azitowa liita 100 emirundi esatu mu mwezi.
  • Ewa omusuubuzi atalina busobozi kusasula mitwalo esatu okusasula 3,000/- zokka omwezi ng’ayita mu nkola ya ‘Premium waste services’ ey’okwetwalirayo kasasiro ku mmotoka ebeera ekimye kasasiro ku kizimbe waali.

Abasuubuzi abaakulembeddwa Godfrey Katongole ssentebbe w’ekibiina kya KATA omwegattira abasuubuzi baakeedi abattunka ne Nabugabo mu kkooti y’ebyobusuubuzi ku nsonga za kasasiro, beewuunyizza obuwaayiro obuli mu ndagaano kyokka ng’aba Nabugabo babaddenga babutuulira mu bugenderevu ne babaggyako ssente ezimenya amateeka.

Baweze okufaafaagana ne kkampuni eziri mu kiti kya Nabugabo mu mbuga z’amateeka nti bakooye okubbibwa.

Peter Kaujju atangaazizza KCCA kitongole kya Gavumenti ekikolera emirimu gyakyo mu mateeka era tusaba abasuubuzi bwe baba balina okwemulugunya ku nzirukanya y’emirimu gya kkampuni ya kasasiro yonna bakututuuseeko tusobole okuzirondoola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.