TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Lukwago awandiikidde Ochola ng'ayagala akyuse akulira eby’okwerinda mu KCCA

Lukwago awandiikidde Ochola ng'ayagala akyuse akulira eby’okwerinda mu KCCA

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2019

Lukwago awandiikidde Ochola amukyusize akulira eby’okwerinda mu KCCA

Capture 703x422

Bya Stuart Yiga

LOODI Meeya w’ekibuga Kampala, Ssaalongo Elias Lukwago awandiikiddee aduumira Poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola, ng’ayagala aggye omuserikalewe, SSP Kituuma Rusoke, mu kitongole kya KCCA gy’abadde akola ng’akulira eby’okwerinda.

Kino kiddiridde Lukwago okuyisa ekiteeso ekigoba Kituuma mu lukiiko lweyatuuza ennaku z’omwezi nga 16,August,2018 era nga lwetabwamu bakkansala abawerako.

Ng’ayita mu bbaluwa gye yawandiikidde  Ochola ng’ennaku z’omwezi 8, January,2019, Lukwago agamba nti Kituuma yakamala emyaka kati etaano bukyanga alondebwa ku kifo ky’okukulira eby’okwerinda mu kitongole kya KCCA naye nga tewali kikyuka ku ky’okutulugunya abantu okuli abatembeeyi n’abasuubuzi.

Lukwago era ayongerako nti, baakizuula ng’omupoliisi ono yali yalondebwa mu bukyamu okubeera mu kifo kino kyokka bekikwatako ensonga eno baasalawo okugibuusa amaaso newankubadde nga baali baagibategeezaako.

“Kituuma gye yeeyongera  okusigala mu kifo kino kabonero kankukunala nti, ayisa amaaso mu kusalawo kw’ekitongole olw’ensonga nti ye akola by’ayagala takoonebwaako naye ggwa nga mukamaawe, tukusaba omuggye mu KCCA omuzzeeyo ku kitebe kya Poliisi,” Lukwago bw’ayogera mu bbaluwa gye yawadde Ochola.

KCCA EYOGEDDE:

Ye ayogerera ekitongole kya KCCA Peter Kaujju, yategeezezza Bukedde nti, ebbaluwa Lukwago gye yawandiise tebannagifunako kkopi nti naye bwe banaaba bagifunye, bajja kumuddamu mu ngeri y’okumulung'amya ku nsonga gye yeemulugunyaako.

“Tukyalinze ebbaluwa bwe tunaafunako kkopi tujja kusobola okumuwabula asobole okunnyonnyoka ku nsonga ye,” Kaujju bwe yategeezezza.

BYAJJA BITYA:

Kinajjukirwa nti guno si gwemulundi ogusoose nga Lukwago yeemulugunya ku akulira eby’okwerinda mu kitongole kya KCCA.

Mu mwezi gwa July, 2017, Lukwago yalabikako mu maaso g’akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z’obwapulezidenti era nga kano keekwtwala n’ekitongole kya KCCA.

Lukwago yali ayitiddwa n’eyali Nnankulu w’ekitongole kino, Jennifer Musisi Ssemakula, okunnyonnyola ku bukuubagano obwaliwo wakati waabwe bombi nga buva ku mivuyo egyaliwo wakati w’abakwatisa amateeka mu KCCA n’abatembeeyi saako abasuubuzi.

Bombi bano (Lukwago ne Musisi) baawa akakiiko alipoota ezikontana. Lipoota ya Musisi yamusomerwa eyali akulira eby’amateeka mu KCCA mu biseera ebyo, Charles Ouma.

Ono yategeeza nti, nga tebannayingiza muntu yenna mu kitongole ekikwatisa amateeka mu KCCA, buli muntu aba aleese okusabakwe bazooka kumugezesa nga bayita mukumukuba  ebibuuzo n’okugezeza obusobozi bw’omubirigwe.

Musisi agamba nti, Kituuma yaweebwa omulimu oluvannyuma lw’okukizuula nti ng’ekitongole baali betaaga omuntu alina obukugu mu nsonga z’eby’okwerinda asobola okukwasisa empisa n’okukulembera abamuli wansi bonna.

Wabula Lukwago, yakalambira ntui, Kituuma yali tasaanidde kuweebwa kifo kino kubanga abatembeyi n’abasuubuzi bangi abazze batulugunyizibwa abaserikale b’ekitongole abamu nebatuuka n’okuttibwa naye nga tewali kikolebwaawo olw’ensonga nti omupoliisi ono yaweebwa obuyinza bungi takonwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.