TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Abagagga bagabanye olutobazzi e namuwongo ne balemesa kcca okutema oluguudo olupya

Abagagga bagabanye olutobazzi e namuwongo ne balemesa kcca okutema oluguudo olupya

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2019

AKOLA nga dayirekita wa Kampala Ying. Andrew Kitaka asabye minisita Chris Baryomunsi, Gavumenti eyanguye entegeka y’okusazaamu ebyapa bye yagaba mu bifo by’entobazzi kubanga bannannyinibyo bafuuse omuziziko mu nkulaakulana.

Laba 703x422

Minisita Chris Baryomunsi (ayogera), Andrew Kitaka (amuddiridde) , Moses Atwin (ddyo) n’omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Faridah Mpiima Mayanja mu lukiiko eggulo.

Yaloopye nti waliwo abagagga babiri abaagula olutobazzi lw’omwala gwa Nakivubo mu bitundu by’e Namuwongo naye babalemesezza okutema oluguudo olupya olugatta Namuwongo ku Bugoloobi, luwonye bannakampala ku bulippagano.

Yategeezezza nti omulimu baali bagutandise nga ne ssente bazirina kyokka tebamanyi bakungu mu kitongole ky’ettaka abaawa abagagga bano ebyapa mu kifo ekirabikira ddala nti lutobazzi.

Bino bibadde mu nsisinkano ebaddewo n’abakungu okuva mu bitongole bya Gavumenti ebikola ku ttaka mu Kampala omuli olukiiko lwa Kampala District Land Board, abawandiisi mu ofiisi ezikola ku by’ettaka, omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Faridah Mpiima Mayanja, omumyuka wa Loodi meeya, Hajjat Sarah Kanyike, n’abamu ku bazze banyigirizibwa ku ttaka.

Kitaka yayanjudde nti ekiseera kino ebyapa ebiwera 19531 tebinnaba kuyingizibwa mu kompyuta za Gavumenti kye yagambye nti kya bulabe ekisobola okuvaako okukeereya emirimu gy’enkulaakulana ssaako okubba ettaka ly’abantu nga balikolera ebyapa ebisukka mu kimu.

Ate omubaka wa pulezidenti mu Kampala, Faridah Mayanja yategeezezza minisita nti yeewuunya abakozi ba gavumenti abakola ebyapa ebisoba mu kimu ku poloti oba ettaka, kyokka ne basigala mu ofiisi nga tebalina wadde kyebakoleddwaako.

Minisita baamwanjulidde emivuyo egiri ku ttaka mu Kampala omuli, omuntu okumugobera ekyapa emyaka egisoba mu etaano, enguzi efuhhamye ku ttaka, babulooka abayitiridde mu ofiisi z’eby’ettaka abavaako okulinnyisa ebisale by’okufuna ebbaluwa yonna mu ofiisi z’ebyettaka ssaako abakozi ba Gavumenti (Registrar) abalina obuyinza ku fayiro obusinga n’obwaminisita.

Minisita Baryomunsi yategeezezza nti bagenda kusazaamu ebyapa byonna mu ntobazzi kubanga olukiiko lw’abaminisita lwayisa dda n’ekirango ne kifuluma.

Yagambye nti buli kyapa baagala kiyingizibwe mu kompyuta okwewala okukola ebyapa ebisoba mu kimu.

Yategeezezza nti bagenda kulondoola abakozi ba gavumenti (Registrar) abalina obuyinza obwenkomeredde n’abakyusibwa ne bagaanira mu Kampala.

Yamenye ofiisi 13 okuli; eya Kampala, Wakiso, Mukono, Jinja, Masaka, Mbarara, Kabalole, Arua, Masindi, Mbale.

N’agamba nti ate bagenda kuggulawo endala mukaaga okuli; Mpigi, Luweero, Mityana, Rukungiri, Tororo, moroto ne Soroti okuyambako okwanguyiza abantu okugoba ku ttaka lyabwe.

Kyokka omu ku bakozi ba Gavumenti akulira zooni ya Kampala, Johnson Bigiira yategeezezza nti abamu ku abagobwa ettaka tebatuukiriza bisaanyizo ate ne batayagala kwebuuza ekibaleetera okulowooza nti abakozi ba gavumenti be bazibu.

Yategeezezza nti tewali alya nguzi era ofiisi zaabwe baazikola nga bonna batuula wamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...