TOP

Jennifer Musisi agudde mu bintu: Ateebye omulimu gwa bukadde 185!

By Martin Ndijjo

Added 26th January 2019

JENNIFER Musisi Ssemakula eyali Dayirekita wa KCCA, ateebye omulimu mu Amerika gwa bukadde 185 buli mwezi.

Jennifermusisi850570 703x422

Musisi

Naggagga Michael Bloomberg omu ku basinga obugagga mu nsi yonna y’awadde Jennifer omulimu mu kimu ku bitongole bye ekiyitibwa ‘Bloomberg Harvard City Leadership Initiative’.

Ekitongole kino kyatandikibwawo okutaba ekibuga Bloomberg, Harvard Kennedy School, Harvard Business School n’enteekateeka ez’omugagga Bloomberg mu kuddiza ku bantu baabulijjo n’ebigendererwa by’okulaba nga batendeka abakulembeze b’ebibuga n’okubawa obukugu okusobola okubiddukanya n’okubikulaakulaanya.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Dayirekita wa Bloomberg Harvard City Leadership Initiative, Jorrit de Jong, Musisi ye Muddugavu asoose okufuna omulimu guno era Jong yagambye nti, Musisi aweereddwa obuvunaanyizibwa bwa kuwa amagezi g’ekikugu ku engeri ey’okuteekerateekeramu ebibuga ebiri wabweru wa Amerika.

Okusinziira ku kiwandiiko kino, Musisi emirimu gye agenda kuba agikolera mu Amerika.

Ensonda zaategeezezza nti, omulimu gwe yafunye gwa kontulakiti ya myaka etano asobola okugizza obuggya era agenda kuba ng’afuna omusaala gwa doola 40,000 (eza Uganda 185,180,000/-) ekitegeeza nti omusala guno gukubisamu gw’abadde afuna mu KCCA ogw’obukadde 46 emirundi ena.

Ku musala guno bamugattiddeko tikiti z’ennyonyi, okumusuza mu wooteri ez’ebbeeyi ate famire ye bagenda kusasulirwanga tikiti y’ennyonyi okugenda okumulabako.

Musisi yakulembera KCCA okumala emyaka musanvu n’ekitundu. (April 15, 2011 - December 15, 2018).

Wabula yagenze okulekulira nga kontulakiti ye ebuzaako emyaka ebiri n’ekitundu okuggwaako abantu ne beebuuza ky’azzaako.

Ebikwata ku nnagagga Bloomberg Okusinziira ku mukutu gwa https://en.wikipedia.org Michael Rubens Bloomberg munnabyabufuzi ate nga musubuuzi omukuukuutivu azitowa obugagga bwa doola obuwumbi 51.8.

Akwata ekifo kya munaana mu bantu abasinga obugagga mu Amerika ate mu nsi yonna akwatta kya 11 ekitegeezezza nti okuwa Musisi omusaala ogw’essente zino alinga omuwadde nusu lukumi.

Bloomberg ali ne mu nteekateeka eyatuumibwa ‘The Giving Pledge’ eyatandikibwawo bagagga ffugge mu nsi nga bano beeyama okuwaayo ekitundu ku bugagga bwabwe okuyamba abantu era ono yaakawaayo obugagga bwa doola obuwumbi 8.2.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Love 220x290

Ssezaala yannemesa eddya

GYE nnakoma okwesunga essanyu mu bufumbo gye nkomye okulaba ennaku olwa ssezaala wange okwekiika mu mukwano gwaffe...

Ssenga1 220x290

Nfa ennyonta ya laavu

NDI mukyala mukulu ddala naye kati njagala nnyo okwegatta. Omwami wange alina emyaka 65 ate nze nnina 40. Mpulira...

Oney 220x290

Baze yagera siriiwo n’adduka n’eby’omu...

NNALI simanyi nti n’abasajja banoba ne basiba n’eby’omu nju naye nasooka kukirabira ku baze. Nze Joy Nabirye 29,...

Ssenga1 220x290

Lwaki alumizibwa?

MUKYALA wange naye buli bwe twegatta agamba nti alumizibwa. Kino kiva ku ki?

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula