TOP

Obuyinza bwa Loodi Meeya bwakwongera okukendeezebwa

By Kizito Musoke

Added 7th February 2019

PULEZIDENTI Museveni alagidde ababaka ba NRM obutapapira kuyisa nnongoosereza mu tteeka erifuga Kampala, wabula basooke kulyetegereza bakakase nti ligenda kumalawo okusika omuguwa okuliwo mu bakulembeze.

Loodi 703x422

Loodi Meeya Erias Lukwago n’omumyuka we Sarah Kanyike gye buvuddeko.

Bino byabadde mu lukiiko lw’akabondo k’ababaka ba NRM olwabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Mmande akawungeezi.

Abamu ku babaka abeetabye mu lukiiko abataayagadde kubaatuukiriza mannya baagambye nti ababaka be baasoose okuwa endowooza ezenjawulo.

Ababaka baategeezezza nti beetaaga etteeka eryawula obulungi obuyinza bwa Loodi Meeya ne minisita wa Kampala we bitandikira ne we bikoma.

Pulezidenti yawabudde ababaka nga bwe batalina kupapira kuyisa tteeka lino, kuba basobola okuliyisa mu kupapa, kyokka ne kitagonjoola bizibu biriwo.

Etteeka lino mu kiseera kino liri mu Palamenti era nga minisita omubeezi owa Kampala, Benny Namugwanya yali asuubizza okulyanja mu Palamenti wiiki eno.

Ebimu ku biri mu lipooti eyakoleddwa akakiiko akakola ku nsonga z’obwapulezidenti, Loodi Mmeeya ajja kusigala ng’alondebwa abantu bonna, wadde nga Gavumenti okusooka yali eyagala alondebwe kuva mu bakansala.

Ababaka baagaanye eky’okuggya ku bantu obuyinza era kyalabiddwa nga kimenya Ssemateeka w’eggwanga agamba nti, obuyinza buli mu mikono gy’abantu.

Akakiiko kaasembye obuyinza bwa Loodi Meeya bukendeezebweko nga batondawo ekifo kya Sipiika ekyetongodde agenda okukubirizinga enkiiko zonna minisita wa Kampala z’anaabanga ayagadde zituule.

Ennyingo ya 11 (1), (b) eya Kampala Capital City Act, 2010 obuyinza bw’okukubiriza enkiiko yabuwa Loodi Meeya yekka. Minisita Beti Kamya ku nsonga eno yategeeza ababaka nti kino kya bulabe kuba emirimu mingi gisobola okwesiba nga Loodi Meeya taliiwo.

Ofiisi ya Lood Meeya wadde enaaba esigaddewo naye egenda kubeera eggyiddwaako obuvunaayizibwa bw’okukubiriza enkiiko.

Eky’okulekera Loodi Meeya obuyinza bw’okukubiriza enkiiko baakirabye nga kiyinza okumuleetera okubeera ne ky’ekubira mu kusalawo eby’okuteesaako naddala ensonga bw’ebeera ng’erimu ebyobufuzi.

ETTAKA LYA POLIISI ERY’E NAGGULU LIGENDA KUWEEBWA MUSIGANSIMBI

Ensonda mu kabondo ka NRM era zaategeeza nti, Pulezidenti yannyonnyodde ababaka ku ntegeka za Gavumenti z’erina okulaba ng’ezimba ekifo eky’omulembe ekigenda okukolerwamu okunoonyereza okukwata ku buzzi bw’emisango.

Ekifo kino kigenda kubeera nga kyabyakwerinda era nga kyasalibwawo amawanga g’obuvanjuba bwa Africa kibeere mu Uganda.

Kyokka obuzibu obuliwo mu kiseera kino Gavumenti terina ssente za kukikola wadde nga waliwo obwetaavu.

Yasabye ababaka okuwagira ekirowoozo kya Gavumenti eky’okukozesa ettaka lya poliisi ery'e Naggulu lye baagala okuwa musigansimbi Omuchina alikulaakunye.

Omuchina waakuweebwako ekitundu nga kibaliriddwaamu obuwumbi busatu buli yiika.

Mu ngeri y’okusasula musigansimbi waakuzimbira Uganda ekitebe kya poliisi eky’omulembe, amayumba g’abasirikale awamu n’okuzimba ekifo ekigenda okukolererwamu okunoonyereza.

Ababaka era baalagiddwa engeri ekibiina kya NRM gye kigenda okwetegekeramu okulonda ku mitendera egy’enjawulo okuva ku byalo okutuusa lwe banaalonda omuntu anaakwatira ekibiina bendera ku Bwapulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.