TOP

Aba KCCA bagugulana n’abatembeeyi ba paaka enkadde

By Eria Luyimbazi

Added 20th February 2019

ABASERIKALE ba KCCA bazzeemu okugugulana n’abatembeeyi abatundira ebintu mu paaka enkadde ekivuddeko okubakwasa ekifuba.

Pala 703x422

Omusumba Ssemwogerere ng’asala keeki oluvannyuma lwa Mmisa e London. Mu kkanzu ye Mpiima akulira ekibiina ky’Abakatoliki.

Bino byabaddewo ku Lwokubiri abaserikale ba KCCA nga bawerekerwako abapoliisi abakkakkanya obujagalalo bwe bazze mu paaka okusobola okukwata abatembeeyi wabula ne basanga nga nabo babeetegekedde ne batandika okusikahhana engoye n’okubakasukira amayinja okutuusa aba KCCA bwe baabasinzizza amaanyi ne bakwatako abamu.

Guno mulundi gwakuna ng’abaserikale ba KCCA basanga obuzibu okukwata abatembeeyi mu paaka enkadde nga buli lwe bagendayo wabaawo okulwanagana.

Ku mulundi guno abapoliisi baakubye omukka ogubalagala okusobola okubagumbulula.

Ku mulundi ogwasooka abatembeeyi baatabuka ne bakasukira aba KCCA amayinja ate ogwaddako ne babaako omuserikale wa KCCA gwe baakuba n’afuna ebisago n’atwalibwa mu ddwaaliro wabula ku mulundi guno baagenzeeyo nga bamaliridde okubakwata.

Bino we bituukiddewo nga ku Mmande abaserikale ba KCCA abaabadde bali mu kikwekweto e Katwe abantu bwe baabeefuulidde ne babakasukira amayinja nga bawakanya okubawambako ebintu byabwe.

Akulira eby’okukwasisa amateeka mu KCCA, Kitumwa Rusoke yagambye nti, bo baakugenda mu maaso n’okukola ebikwekweto okusobola okukwasisa amateeka agakugira abantu okukolera mu bifo ebitakkirizibwamu era n’alabula abatembeeyi n’abantu okukomya okukola effujjo ku baserikale b’ekitongole kino.

Yagambye nti, KCCA ebadde ekola ebikwekweto nga tefuna kukaluubirizibwa kwonna wabula ensangi zino abatembeeyi batandise okugezaako okubalwanyisa nga balina okwekomako kuba KCCA tekyusangako ku bikolebwa.

Yategeezezza nti, abatembeeyi balina okwebuulirira n’okumanya we bakoma n’obutaddamu kulwanyisa baserikale abali ku mirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana