TOP

Ssente za ‘welfare’ zitabudde baddereeva ku siteegi y’e Ntebe

By Musasi wa Bukedde

Added 27th February 2019

BADDEREEVA ba takisi ku siteegi y’e Ntebe banyiize ne bagoba olukiiko lw’abakulembeze bonna ababadde bakwata ku ssente zaabwe eza ‘welfare’ ezibakuhhaanyizibwako nga beemulugunya nti zikwatiddwa bubi.

Baana 703x422

Abamu ku baddereeva ku siteegi y’e Ntebe.

Babagaanyi n’okuddamu okukwata ku mmotoka zaabwe ebbiri eza takisi ze baagula mu kibiina kyabwe ekya ‘Entebbe Stage Welfare Committee’ okubakolera ssente nti tebakyalina buyinza bwonna.

Bagobye ssentebe Stephen Kidde, omuwanika Hood Walakira amanyiddwa nga Abiola, omuwandiisi Godfrey Iranda, Hamidu Ssebunya n’abalala ababadde bakwata ku ssente zaabwe.

Eggulo baddereeva beddizza obuyinza ku ssente ze basasula ku siteegi era ne basooka bayimiriza okusasula okutuusa nga balonze obukulembeze obuggya.

Baddereeva baatabuka wiiki ewedde nga babuuza ebikwata ku ssente zaabwe ze basasula buli lunaku okubayambako ku nkulaakulana ssaako eziva mu takisi ebbiri ze baagula kyokka abakulembeze ne batabannyonnyola kubamatiza.

Baatabuka ne bakubagana era wakati mu kuwaanyisiganya ebisongovu, abamu ku bakanyama abaapangisibwa okutaasa embeera ne bakkakkana ku bannamawulire nabo ne babakubiramu.

Ku Mmande baddereeva baakedde kuyimiriza bakulembeze nga bagamba nti basooke babalage ensimbi eziwera akawumbi kalamba n’obukadde 36 gye ziri.

Ddereeva Richard Kiyaga yalaze ekiwandiiko ekiriko amannya ga Mustafa Muwanga mwe baatadde buli ssente za ddereeva zaabadde asasula era ze babanja abakulembeze bababuulire engeri gye babadde bazikwatamu.

Bakiwaddeko ofiisi ya Pulezidenti enoonyereza ku buli bw’enguzi ne Edith Nakalema nga basaba abayambeko.

ABAKULEMBEZE BOOGEDDE

Kyokka ssentebe Stephen Kidde yaluhhamizza nti baddereeva bayingizza enkaayana z’ebiwayi mu ttaka mu nzirukanya ya ssente za baddereeva.

Yagambye nti ddala akawumbi ke boogerako bakamanyi obungi era bamanyi ebbanga omuntu ly’asobola okukasonderamu okukaweza!

Yategeezezza nti buli kiwandiiko bakirina ekikwata ku ssente naye olw’okuba waliwo ababakumamu omuliro tewali kye baagala kuwuliriza.

“Abo bakozesezza nkola ya byabufuzi bya takisi okwagala okulwanyisa ssente za siteegi yaffe olw’okuba abawagira Mayambala balowooza nti ssente ezirwana entalo ziva ku siteegi yaffe ate nga si kituufu,” Kidde bwe yagambye.

Yategeezezza nti babawaddemu obudde bakkakkane balyoke babannyonnyole ebituufu naye nti tewali ssente bakulembeze ze baali banyaze.

Yategeezezza nti bakoledde bingi baddereeva ku siteegi eyo era ateekateeka okubiraga okukakasa nti waliwo abababuzaabuza.

Ssente za Welfare zizze zitabula baddereeva ng’abamu bagamba nti ziriibwa era ezimu ku siteegi zaggulawo dda emisango ku poliisi ez’enjawulo.

Mu lipooti eyafulumizibwa minisita w’emirimu Aggrey Bagiire yalaga nti okutaasa ba dereeva okwemulugunya ku ssente zaabwe nti zibbibwa , gavumenti eyagala bazifuule za SACCO nga buli siteegi erina SACCO mwe ziterekebwa n’okuzeewola kyokka aba takisi bonna tebakiwagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana