TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Enteekateeka z’okufuula oluguudo lwa Namirembe olw’ebigere ziwedde

Enteekateeka z’okufuula oluguudo lwa Namirembe olw’ebigere ziwedde

By Hannington Nkalubo

Added 28th February 2019

OKUKOLA oluguudo lwa Namirembe Road mu nteekateeka y’okulugobako mmotoka n’ebidduka ebirala kutandise era Abazungu abaawaddeyo ssente balulambudde ne basiima engeri omulimu gye gukwatiddwaamu obulungi.

Tekako 703x422

Lukwago (ku ddyo) ne Sserunjogi (wakati) nga baaniriza Walker akuliddemu omulimu.

Baalulambudde eggulo okutandikira ku Shell Bakuli, mu masahhanzira ga Pride, ku Blue Room, ku Mini Price n’enguudo zonna mu Kisenyi ezikoleddwa okuyambako ku bulippagano bw’ebidduka.

Nga tebannaba kulambula, baasoose mu lukiiko abakugu mwe baategeerezza Loodi meeya Erias Lukwago obwetaavu bw’okukyusa oluguudo luno balugobeko mmotoka.

Olukiiko lwetabiddwaamu ba meeya ba munisipaali okuli Charles Musoke Sserunjogi (Central) ne Joyce Ssebugwaawo (Lubaga).

Bano baawagidde enteekateeka y’okukyusa oluguudo luno era Sserunjogi n’ategeeza nti bo baayisa dda ekiteeso ekisemba mmotoka okukoma okulukozesa.

Lukwago yategeezezza nti enteekateeka nnungi naye abagiwomyeemu omutwe bateekwa okunnyonnyola abakulembeze n’abantu abakwatibwako mu kitundu engeri entambula gy’egenda okukolebwamu.

Omu ku bakugu era omusomesa e Makerere Yunivasite, Amanda Ngabirano yategeezezza nti buli kimu kyamala kwetegerezebwa ng’enteekateeka tennatandikibwa.

Yategeezezza nti okunoonyereza kwe baakola mu bibuga ebirimu enkola eno eraga nti bannannyini bizimbe n’ettaka bafuna nnyo ng’ekifo tekiyitamu mmotoka abantu batambuza bigere kubanga lwe basinga okugula ebintu.

Kyokka abamu ku balina ettaka n’ebizimbe mu kitundu omugenda okugobwa mmotoka bawanda muliro nti emirimu gyabwe gigenda kufa era ne basaba waakiri lufuulibwe One Way.

Ate abaddukanya ppaaka ya takisi ku Namirembe Road bagamba nti KCCA eteekwa okusooka okugonjoola enkaayana ku bamu ku bantu abaazimba mu luguudo ate n’obuguudo obuyita wakati w’ebizimbe naddala emabega wa bbanka ya Centenary babukole okwewala emirimu gyabwe okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana