TOP

Amaka g’omugagga Mugenga ganditundibwa lwa bbanja lya buwumbi 3

By Musasi wa Bukedde

Added 4th March 2019

AMAKA g’omugagga Tom Mugenga ng’ono ali ne mu kibiina ky’abagagga ekya Kwagalana gali mu lusuubo olw’ebbanja lya bbanka lya buwumbi busatu.

Muge 703x422

Tom Mugenga

Mukyala we Sarah Mugenga n’abaana baabwe bazzeeyo mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala ne bateekayo okusaba nnamba MA 123/2019 okusuubira okuwulirwa ku Lwokubiri nga March 5.

Yakwataganye n’abaana baabwe okuli Fred, Andrew ne Prince Mugenga nga baagala kuyimiriza Bank of Africa Kenya Ltd okutunda amaka gano ku nnyondo. Ddoola 951,509 (3,493,941,048/- eza Uganda) Mugenga yazeewola mu bbanka eno nga kati mulimu n’amagoba ageeyongera buli kiseera nga baakoma kugabala nga November 21, 2018.

Yateekayo omusingo gw’amaka ge agatudde ku Bbulooka 244 poloti 948 Kyaddondo nga gasangibwa Kisugu mu Kampala mw’abeera ne famire ye.

Mugenga mmemba mu kibiina kya ‘Bagagga Kwagalana’ era ye nnannyini Mugenga Holdings e Mombasa Kenya.

Gye buvuddeko ebbanja bwe lyamuyinze obuzito, kwe kugenda mu Kkooti e Kenya ebalamule.

Baategeeragana era omulamuzi w’e Kenya Msagha Mboghoi n’alagira Mugenga okusasula ssente ezimubanjibwa nga November 8, 2018. Guno omulundi si gwe gusoose okwagala okugatunda.

Nga March 15, 2017 bbanka ng’eyita mu bannamateeka ba Ligomarc Advocates, yawandiikidde Mugenga ng’emulagira nti nga yeesigama ku tteeka erifuga emisingo, yabadde egenda kutunda amaka ge enunule ssente zaayo.

Mukyala we Sarah Mugenga yakwatagana n’abaana baabwe ne basaba kkooti okuwa ekiragiro okuyimiriza okutunda amaka gaabwe era nga October 25, 2017 omulamuzi Jane Elizabeth Alividza owa kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala yawa ekiragiro ekiyimiriza enteekateeka z’okutunda.

Ekiragiro kino yakiweerako akakwakkulizo nti okuyimiriza okugatunda balina okuba nga basasuddeko waakiri ebitundu 30 ku buli 100 ku ssente ezibabanjibwa.

Omulamuzi ono abadde agenda mu maaso n’okuguwulira wabula nga February 11 omwaka guno Sarah Mugenga ne looya waabwe, Badru Bwangu ne batajja mu kkooti nga bamanyi nti omusango gwakuwulira nga February 12 omulamuzi n’agugoba.

Kwe kusaba kkooti eno omusango gwaabwe gwe baagoba bagukomyewo guddemu okuwulirwa.

Okusaba kuno kuli ku fayiro nnamba A 95/2019 era kujja kuwulirwa omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti eno, Lilian Bucyana ku ku Lwokubiri nga March 5, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...