TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA erangiridde omusolo omupya ku bodaboda ogusasulwa buli mwezi

KCCA erangiridde omusolo omupya ku bodaboda ogusasulwa buli mwezi

By Kizito Musoke

Added 10th March 2019

OMUVUZI wa bodaboda ku ssente z’obadde otereka buli lunaku olina okutandika okufi ssa 10,000/- z’onoosasula KCCA buli mwezi bw’oba okyayagala okusigala ng’ovugira ku nguudo z’omu Kampala.

Sasa 703x422

Abantu bangi bakozesa bodaboda olw’obwangu.

Guno gwe gumu ku misolo emipya KCCA gw’eyagala okutandika okusolooza ku buli bodaboda okutandika ne July w’omwaka guno.

Zino ogenda kuzongera ku PSV eya 60,000/- awamu ne yinsuwa ya Third Party eya 50,000/-.

Ate ggwe avuga ey’omugagga olina okusigala ng’omuwa 10,000/- ogwa buli lunaku.

Yinginiya Andrew Kitaka akulira emirimu gya KCCA yasinzidde mu kakiiko ka bajeti aka palamenti akukubirizibwa Amos Lugoloobi (Ntenjeru North) n’ategeeza nti buli pikipiki ekola bodaboda mu Kampala bagenda kutandika okugisolooza 10,000/- buli mwezi.

Omusolo guno gwakuyamba KCCA okukung’anya obuwumbi 12 okuva mu bodaboda ezibalirirwa okuba nga ziwera emitwalo 10 mu kibuga.

Biri mu bajeti y’omwaka oguggya ogwa 2019/2020. Kyokka kino tekyasanyusizza babaka abamu era Lugoloobi yeewunyizza ekigendererwa kya KCCA ku musolo gwa bodaboda ng’ate bamaze ekiseera nga bategeeza nga bwe baagala okuzikendeeza kikendeeze omujjuzo mu kibuga.

Rashid Kawaawa, omwogezi w’abavuzi ba bodaboda abeegattira mu Kampala Cooperative Union yagambye nti omusolo tegwandibadde mubi naye ekizibu kye balina kwe kuyisa ebintu nga tebamaze kutuula nabo.

Ekimu ku kibeewunyisa kwe kulaba nga batuula n’abaddukanya kkampuni za bodaboda ezitambuza abantu ate nga bano tebalina pikipiki, okuggyako okubakoleramu bizinensi.

Emmotoka za takisi eziva mu Kampala nga zigenda mu bitundu by’ewala zijja kuggyibwako emitwalo 84 buli mwaka. Ate ezikolera mu kibuga ziggyibweko emitwalo 72 buli mwaka.

Wano KCCA esuubira okusolooza obuwumbi mwenda n’obukadde 600.

Yasin Sematimba, ssentebe w’abavuzi ba takisi abeegattira mu kibiina kya KOTSA yagambye nti omusolo tebagulinaako buzibu okugusasula, naye ensasula baagala ebeere ya buli mwezi mu kifo ky’omwaka.

Mu kifo ky’okusasula 84 ku takisi ezigenda ewala ayagala basasule emitwalo musanvu buli mwezi ate ez’omu Kampala zisasule emitwalo mukaaga buli mwezi mu kifo kye 72 ez’omwaka.

Kansala wa KCCA, Damba Kisuze yeewunyizza emisolo gye gyavudde gye baagala okuleeta ng’olukiiko olufuga ekibuga tegyanjulwangayo.

Yagambye nti bulijjo bwe babuuza lwaki takisi tezisasula misolo nga babagamba balindeko bamale okuyisa etteeka erizifuga erisuubirwa okwanjulwa mu lukiiko lwa kkanso olunaddako.

Yagambye nti enkola y’okuleeta emisolo abakulembeze mu Kampala gye batamanyiiko, kigenda kufuukira KCCA ekizibu okugikung’anya.

EMISOLO EMIRALA EGIJJA

Emisolo emirala emiggya gye baagala okuleeta mulimu ogw’okusolooza 1,000/- ku buli mmita yamasannyalaze n’amazzi eri mu kibuga.

Kampala yenna agambibwa okubeeramu mmita eziwera emitwalo 40, era zisuubirwa okuvaamu obuwumbi mwenda n’obukadde 600. KCCA era yalaze nga bwe yeetaaga obuwumbi 150 okutandika okuzimba ekifo ekipya we bayiwa kasasiro e Dundu mu Mukono n’okugula emmotoka endala 20 ezisomba kasasiro.

Joseph Mutyaba ow’e Busega ng’alina amayumba g’abapangisa agawerako yavumiridde eky’okuteeka omusolo ku mmita z’amasannyalaze n’amazzi n’agamba kubeera kubasaba gwa mirundi ebiri.

Yawabudde KCCA nti amaanyi egateeka ku kya kutereeza nkozesa ssente eziba zikung’anyiziddwa n’endala abawooza ze bezza.

Benny Namugwanya (waggulu), minisita omubeezi owa KCCA yasabye Palamenti ebawagire ku misolo emiggya basobole okugaziya ennyingiza n’okutuusa obuweereza obw’omulembe eri abantu.

Omwaka gw’ebyensimbi ogwayita, KCCA yali ebaliridde okukung’anya obuwumbi 122, kyokka n’ekung’anya 79 zokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte