TOP

Ebbaluwa y’omusawo eyanise poliisi ku nfa y’abasibe

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

EBBALUWA y’abasawo eyanise poliisi ku basibe abaafiiridde mu kaduukulu ka poliisi ya Clock Tower mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano lwa wiiki ewedde.

Use 703x422

Lukwago (mu ssuuti) ng’akulembeddemu abaasitudde omulambo gwa Kaboogere okuva mu ggwanika e Mulago.

Eggulo, aba famire n’emikwano gya Kaboogere Among omu ku baafiiridde mu kaduukulu, baakedde ku ggwanika e Mulago okuggyayo omulambo.

Baasoose kwagala kugubawa nga tebabaweereddeeko bbaluwa eraga byavudde mu kugukebera.

Baabadde bayambibwako Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago ne bakansala ku KCCA okwabadde Rashida Naluwooza, Michael Wamala Zzigwa ne Muhamood Mutazindwa.

Lukwago yakalambidde nti, okutwala omulambo balina kusooka kufuna bbaluwa y’abasawo eraga ebyavudde mu kukebera omulambo.

Akulira abasawo ba poliisi, Dr. Moses Byaruhanga yategeezezza Lukwago nti, tasobola kubawa bbaluwa y’abasawo kubanga si be balina okugibawa mu mateeka.

Yamugambye nti, ebbaluwa balina kugiwa ba poliisi y’e Katwe bagikwase aba famire.

Yamugambye nti, basobola okubakolera ebbaluwa ne batwala omulambo eby’ebbaluwa eraga enfa y’omuntu ne babifuna oluvannyuma.

Lukwago yakalaambidde nti okutwala omulambo ebbaluwa erina kubabeera mu ttaano.

Byaruhanga yakubidde abakulira poliisi y’e Katwe ne basindika akola ku kunoonyereza ku nfa ya Kaboogere, James Balaza.

Olwatuuse Byaruhanga n’amuyitiramu ekyabadde kimuyisizza kyokka n’asanga akaseera akazibu bwe baamulagidde okunnyonnyola.

EMIRAMBO BAAGISUULA KU GGWANIKA

Byaruhanga yalaze okunyolwa olw’engeri poliisi y’e Katwe gye yakwatamu ensonga za Kaboogere.

Yategeezezza Lukwago mu lukiiko olw’amangu lwe yauuzizza ku ggwanika nti, omulambo baagubasuulira nga teguliiko wadde ekigwogerako.

Yagambye nti, okuva ku Lwokutaano ku makya emirambo lwe baagibatwalira, mu kitabo kyabwe awagenda amannya, emyaka n’omugenzi gye yali abeera tebaabijjuzaamu.

Yagambye nti baabijjuzza ggulo ng’abolunganda bakimye omulambo.

Omuntu owookubiri eyafa naye ensonda e Mulago zaatutegeezezza nti ye David Nenendunga wabula ye tannazuulwako bantu be era omulambo gukyaliyo mu ggwanika.

EBBALUWA Y’OMUSAWO

Byaruhanga yannyonnyodde nti, omusawo eyakebedde omulambo gwa Kaboogere yagusanzeemu omusaayi mu lubuto ekiraga nti, yasooka kukubwa nga tannafa n’ayabika akataago.

Lukwago ne bakansala baategeezezza nti, guno omusango gwa butemu era gwetaaga kunoonyerezaako n’amaanyi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, ekitongole ekikwasisa empisa mu poliisi ekya Professional Standards Unit (PSU) kyatandise okunoonyereza ku baserikale abagambibwa okutulugunya Kaboogere ne Nenendunga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...