TOP

Lukwago agasimbaganye n’omugagga Yanga

By Hannington Nkalubo

Added 23rd March 2019

LOODI Meeya Erias Lukwago agasimbaganye n’omugagga Mansoor Matovu (Yanga) mu lutalo lw’abapangisa olukyayinda ku bizimbe bya Qualicel ne Nabukeera e Nakivubo.

Wano 703x422

Lukwago ng’awuliriza Yanga by’ayogera mu lukiiko lw’abasuubuzi ku Qualicel.

Ababiri buli omu aludde ng’ayogerera munne ebisongovu. Lukwago agamba nti Yanga anyigiriza abasuubuzi ate ne Lukwago nti ayingiza entalo z’ebyobufuzi mu bizimbe.

Mu nsisinkano eyabaddewo ku Lwokuna ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu ku kizimbe kya Qualicel, Lukwago yabuuzizza Yanga lwaki ye ne bagagga banne bayitirizza okweyagaliza bokka ne batalumirirwa bapangisa babayimirizaawo!

Yagambye nti embeera y’olutalo eriwo mu bizimbe mu Kampala esobola okuggwaawo singa abagagga bakkiriza okuteesa n’abapangisa naye bwe kirema abakulembeze bagenda kwegatta ku bapangisa ensonga bazitwale mu mateeka gabalamule.

Yagambye nti olutalo mu bizimbe luvudde ku mbeera y’akabondo k’abagagga ab’olubatu abaguze ekibuga kumpi kukimalawo ne batuuka n’okulowooza nti basobola okukiggala emirimu gy’abapangisa ne gisannyalala.

Ebigambo bya Lukwago byasaanudde Yanga n’ayagala okusituka mu katebe mwe yabadde atudde. Lukwago bwe yamaze okwogera, abasuubuzi ne baweebwa omukisa okubaako bye boogera n’okubuuza omugagga Yanga.

Abakulembeze b’abasuubuzi okuli Hussein Kato ne Ibrahim Mboowa baakwasizza Yanga akazindaalo ayanukule ebibuuzo ng’ebisinga byabadde bikomerera Yanga n’abagagga abalala.

Yanga ng’atandika okwogera yajjukizza Lukwago nti ekirungi munnamateeka era amusuubira okumanya okutaputa ebiwandiiko okuli n’ebyapa. Era yamusabye ataputire abasuubuzi ebiwandiiko bategeere bulungi obwannannyini bw’ebizimbe n’obuyinza bw’omupangisa we bukoma.

Yamuwadde empapula n’amusaba agende azitunulemu ayambe abasuubuzi abalowooza nti ebizimbe bya Charles Muhangi, okutegeerera ddala ani nnyini byo! Yagambye nti ye talina lutalo lwonna na basuubuzi wabula ayagala basasule nga bwe babadde basasula bulijjo.

Yabalabudde nti ataasasule yeetegekere ekinaddirira. Kino kyasaanudde abamu ku basuubuzi ne bawoggana okutuusa lwe baabakkakkanyizza.

DRAKE LUBEGA AYIMIRIZZA SSENTE EZ’EMABEGA

Ate Drake Lubega bwe yakubiddwa essimu yategeezezza nti ssente abasuubuzi ze babadde beekwasa ez’emyezi egy’emabega aziyimirizza kati ayagala za guno (March). Yagambye nti abadde akuma omuliro mu basuubuzi, Mutwalibu Waggwa yamugobye naye bw’anaasasula talina lutalo naye.

Yagambye nti abamu ku bapangisa abalowooza nti ebyo ebizimbe bya Gavumenti bakimanye nti bya bwannannyini.

“Oba bannabyabufuzi babalumirirwa babatwale mu maduuka ga KCCA agali ku paaka ya takisi enkadde. Okuzimba mu Kampala tekuva mu kwekalakaasa.

Naffe tuli basuubuzi era bwe baba balaba nti mbayisa bubi bave mu bizimbe byange bisigale nga bikalu...,” Lubega bwe yacwanye.

Omumyuka w’atwala poliisi mu Kampala Metropolitan Denis Namuwoza yagambye nti poliisi yabaddewo okulaba nga tewabaawo atabangula emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...