TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Enguudo ezibadde ziyimbya Bannakampala endubaale bazikwasizza Abachina

Enguudo ezibadde ziyimbya Bannakampala endubaale bazikwasizza Abachina

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

ENGUUDO ssatu ezimaze emyaka nga zikaabya bannakamapala KCCA ezikwasizza kkampuni ezizikola era omulimu gutandise. Enguudo zino kuliko olwa Kulambiro Ring Road, Acacia Avenue oba John Babiha, Nakawa– Ntinda ne Lukuli Road e Makindye.

Kwasa 703x422

Akola nga dayirekita wa Kampala, Ying. Andrew Kitaka yatadde emikono ku ndagaano ne kkampuni bbiri ezigenda okuzikola era n’azikwasa omulimu gutandike.

Olwa Kulambiro Ring Road luwerako obuwanvu bwa Kiromita ttaano ate olwa Acacia Kiromita ne Nakawa – Ntinda Kiromita bbiri nga ziweereddwa kkampuni ya China State Construction Engineering Corporation Ltd ku obuwumbi 97.

Ziteekwa kumalirizibwa mu bbanga lya mwaka gumu n’emyezi mukaaga. Olwa Lukuli Road lukwasiddwa kkampuni ya Stirling Civil Engineering Ltd ku buwumbi 68. Luwerako obuwanvu bwa kiromita musanvu era kkampuni eteekwa okulumaliriza mu bbanga lya myezi 15.

Ying. Kitaka eyabadde n’abakulira kkampuni zino eggulo nga bazikwasa enguudo yategeezezza nti, buli kkampuni eweereddwa omulimu eteekwa okugumaliriza mu bbanga erigiragiddwa.

Yagambye nti, ensonga lwaki kkampuni z’ebweru zirina enkizo okuweebwa emirimu eminene, ze zirina obusobozi bw’ebyuma n’ebikozesebwa okumaliriza omulimu mu budde.

Yagambye nti, kkampuni za bannansi zikola bulungi mu kuddaabiriza n’okukola egimu ku mirimu emitonotono.

Yalangiridde nti, emirimu emirala egigenda okutongozebwa mu bbanga ttono kuliko oluguudo lwa Kabuusu, Bunnamwaya, Lweza era luno luva mu Kampala ne luyingira Wakiso era ekirubakozesa kwe kuyamba ku bulippagano bwa mmotoka ezikozesa oluguudo lwa Entebbe Road.

Kitaka yategeezezza nti, enguudo zino kitundu ku nguudo ezisasulirwa Bbanka y’ensi yonna mu pulojekiti ya KIIDP 2.

Ekitundu ekyasooka ekyalimu enguudo okuli amasang’anzira ga Fair Way, Kira Road, amasang’anzira ga Kabira, Mambule n’amasanganzira g’e Bwaise, Makerere Hill Road, ne Bakuli Nakulabye Kasubi kye kyasooka okumalirizibwa mu April omwaka oguwedde kati batandise ku nguudo endala.

Yagambye nti, balindiridde ssente endala batandike n’okukola omwala gwa Nalukolongo mu Lubaga ne Nakamiro ssaako Lubigi e Bwaise.

Yagambye nti, Bbanka y’ensi yonna yabawa ssente obukadde bwa doola 175 nga Gavumenti ya Uganda yasooka kusasulako obukadde bwa doola munaana ng’omusingo.

Okutandika okukola enguudo zino kiddiridde Kitaka okulangirira okukyusa Kampala mu bbanga lya myezi mukaaga gyokka ku ntandikwa y’omwaka guno era yagambye nti, ebigendererwa bye tayagala kuddamu kulaba ku nfuufu mu Kampala era mu myaka ebiri ayagala nga buli kkubo effu likoleddwa.

Enguudo ezirangiriddwa zeegasse ku pulojekiti ennene ezikolebwa mu Kampala okuli ey’okukyusa oluguudo lwa Namirembe Road lufuulibwe lwa bigere ssaako enguudo endala ezikoleddwa mu Kisenyi ne mu bitundu bya Kampala ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...