TOP

KCCA bagiwadde emmotoka ezigaaya n’okuyoola kasasiro

By Hannington Nkalubo

Added 31st March 2019

EKITONGOLE ekyassibwaayo okuyambako okukuuma ennyanja kiwadde KCCA mmotoka ssatu ezigaaya n’okuyoola kasasiro ziyambeko okutangira abadde akulukutira mu myala ne gizibikira.

Gaaya 703x422

Florence Adong (ku kkono), minisita Beti Kamya ne Kitaka (ku ddyo) nga bakwasibwa emmotoka ku City Hall.

Mmotoka zino nga buli emu yeetikka ttani 20, zaakwasiddwa minisita wa Kampala, Beti Namisango Kamya abadde n’akola nga dayirekita, Andrew Kitaka ku mukolo ogwabadde ku City Hall ku Lwokutaano.

Abaddewo ku lw’ekitongole kino ekiyitibwa, ‘Lake Victoria Management Project’, Florence Adong yayanjudde nti mu nteekateeka ya minisitule y’amazzi n’okukuuma obutonde bw’ensi naddala amazzi g’ennyanja nga mayonjo, KCCA ekola ekitundu kinene era bateekwa okugiwagira ennyo naddala ku ludda lw’okuyoola kasasiro abadde akuluggukira mu nnyanja n’ayonoona amazzi.

Yagambye nti minisitule y’amazzi yakiraba nti singa KCCA eyongera amaanyi mu kuyoola kasasiro, amazzi g’ennyanja gagenda kulongooka era y’ensonga lwaki basobodde okugiwa mmotoka ssatu ezisobola okutwala ttani 60 buli luyiwa.

Minisita Kamya yeebazizza obuyambi buno n’ategeeza nti kasasiro kikyali kizibu kinene mu Kampala kubanga buli lunaku Bannakampala bakola kasasiro aweza ttani 2000.

“Wadde tufunye emmotoka zino naye okusobola okumalawo kasasiro obulungi twetaaga emmotoka eziyoola kasasiro nga buli emu etwala ttani 20 nga zino ze batuwadde, emmotoka 60 naye kati tulinako 10 zokka era tukyetaaga obuyambi,” Kamya bwe yagambye.

Yannyonnyodde nti kasasiro buvunaanyizibwa bwa buli muntu okukakasa nti asuulibwa mu bifo ebituufu nga ne KCCA bw’emuyoola.

Yagambye nti kkampuni eziyoola kasasiro zibayambako wadde bakyagenda mu maaso n’okuzeetegereza okulaba nti zongera okukolera Bannakamapala obulungi.

Kamya yagambye nti wadde buvunaanyizibwa bwa KCCA okuyoola kasasiro naye n’abantu bateekwa okusasulayo akasente eri kkampuni ezikolagana ne KCCA kasasiro n’ayoolebwa.

Ate Akola nga dayirekita wa Kampala, Andrew Kitaka yagambye nti obuyambi bwa mmotoka zino bugenda kubakolera kinene okusobola okwongera okutumbula obuyonjo bw’ekibuga.

Adong emmotoka yazikwasizza minisita Kamya naye eyazikwasizza Kitaka kyokka n’alabula aba KCCA okukakasa nti bazikuuma bulungi ate tebageza ne beenyigira mu mize gy’okubba amafuta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...