TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Minisita Kamya awadde ekiragiro: 'Tewali kuddamu kukwata batembeeyi bakolera mu paaka za takisi'

Minisita Kamya awadde ekiragiro: 'Tewali kuddamu kukwata batembeeyi bakolera mu paaka za takisi'

By Hannington Nkalubo

Added 31st March 2019

MINISITA wa Kampala Beti Namisango Kamya awadde ekiragiro obutaddamu kukwata batembeeyi bakolera mu ppaaka za takisi ne bbaasi mu kibuga.

Kamya1703422 703x422

Minisita Betty Olive Namisango Kamya

Yagambye nti ekiseera kino bakkiriziddwa mu ppaaka za mmotoka mwokka nga bwagenda mu maaso n’okubafunira ebifo ebirala.

Kyokka abayiwa ebintu ku nguudo n’okukolera ku mbalaza z’ebizimbe bo tebakkiriziddwa era abaserikale bagenda kweyongera okubayigga mu bikwekweeto eby’enjawulo ebikolebwa.

Kino minisita yakirangiridde ggulo mu lukiiko lwa bannamawulire owatudde ku Media Centre mu Kampala.

Kino kiddiridde n’olukiiko lwa bakansala olufuga Kampala okutegeeza nti abatembeeyi tebalina mateeka ge bamenya kukolera mu kibuga wabula kati buvunaanyizibwa bwa KCCA okubafunira pamiti ne basasula ssente za layisinsi.

Minisita yalagidde batandike okukola kyeere mu bifo bya ppaaka ya takisi enkadde, empya n’eya USAFI eza KCCA.

Mu kiseera kye kimu Kamya yalangiridde nti KCCA egenda kukuza olunaku lw’abakyala olwaliwo nga March 08 2019 ga April 10 omwaka guno mu kisaawe e Kololo.

Yayise abakyala abeegattira mu bibiina eby’enjawulo omuli; Mothers Union, abakuba amatafaali, abaweesa, abatunga ebitambaala, abazimba , abakozi mu ofiisi, abakolera mu butale abaawaka, abasomesa n’abalina bye basobola okwolesa bagende beewandiise ku City Hall ewa dayirekita atwala obutale n’ekikula ky’abantu Harriet Mudondo.

Kamya yasiimye abakyala abayimirizaawo amaka nga bakola buteebalina ne baweerera abaana n’okuyimirizaawo famire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ekyama mu bakazi Haruna Mubiru b'awasa. Anoonya baana ba bagagga.