TOP

Gav't eragidde Drake Lubega ne Young okuggula amadduuka agaggaddwa abasuubuzi bakole

By Musasi wa Bukedde

Added 4th April 2019

GAVUMENTI ewadde ebiragiro ebigendereddwaamu okuggyawo embeera y’obunkenke eremesezza abasuubuzi abakolera ku bizimbe okuli ekya Qualicell ne Nabukeera mu Kampala okukola emirimu gyaabwe olw’enkayana z’obwanannyini ku bizimbe kino.

Whatsappimage20190403at100230 703x422

GAVUMENTI ewadde ebiragiro  ebigendereddwaamu okuggyawo embeera y’obunkenke eremesezza abasuubuzi abakolera ku bizimbe okuli ekya Qualicell ne  Nabukeera mu Kampala okukola emirimu gyaabwe olw’enkayana z’obwanannyini ku bizimbe kino.

Enkyana zino ziri wakati Drake Lubega ne Mansour Matovu amanyiddwa nga Young ku ludda olumu abakayana ne famile y’omugenzi Charles Muhangi.

Kino kivudeko akavuyo akaletedde abasuubuzi abakikolerako okubonabona ne balemwa n’okukola emirimu gyaabwe nga babuliddwa gwe baba basasula ensimbi z’obupangisa omutuufu.

Minisita w’eggwanga avunaanyizibwa ku Kampala Benny Namugwanya yavumiridde ekya  ebyabanannyini bizimbe okuggala amadduuka ekikosezza ennyo abapangisa baabwe.

Namugwaanya yagambye nti gavumenti esazeewo poliisi esigale ng’ekuuma ekitundu kino era eby’okuggala amadduuka bikome mbagirawo abasuubuzi bakole emirimu gyaabwe.

Poliisi eragiddwa okulaba ng’embeera y’obukkakkamu ebeerawo abasuubuzi bakole emirimu gyabwe. 

Yagambye nti obwanannyini ku bizimbe busigadde bwa Young ne Drake Lubega okutuusa nga kkooti zisazeewo eky’enkomerero.

Minisita yagambye nti teri kusaba basuubuzi baasasula Muhangi ssnte ndala za bupangisa.

Gavumenti egenda kuggulawo akawunti abasuubuzi kwe bassa ssente basasule ez’obupangisa okuva mu Febuary 2019 era zisigale okwo okutuusa kkooti lwe zinaasalawo eky’enkomerero.Abasuubuzi baalagiddwa okusigala nga basasula busuulu.

Mu ngeri y’emu gavumenti yagambye nti waliwo ekizimbe Drake Lubega ky’azimba ku puloti 50-52 ku Nakivubo Road nga teyasooka kukakasibwa kwa pamiti kuva mu KCCA era n’emulagirira agoberere amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...