TOP

Oluguudo lwa Namirembe batandise okuluziba ebitundu

By Hannington Nkalubo

Added 14th April 2019

Minisita Beti Kamya yategeeza nti abakolera ku Namirembe Road bagenda kweyongera okukola obusuubuzi kubanga abantu bagenda kweyongerako obungi nga batambula n’okugulako ebintu. Oluguudo lugenda kusimbibwako ebimuli n’emiti ebbali ate lussibweko ebisikiriza abantu nga batambula okulaba n’okwetegereza amaduuka agatunda kalonda w'ebintu eby'enjawulo era lugenda kussibwako amataala amanene n’ebyokwerinda nga binywevu.

Malawo 703x422

Oluguudo lw'e Namirembe KCCA w'emaliriza w'eziba era ekitundu ekimu tewakyayitawo mmotoka wadde wawedde. Wano nga wasaliddwaako.

OLUGUUDO lwa Namirembe olukolebwa okufuulibwa olw’ebigere ebitundu ebimu ebiwedde bisiddwaamu obugulumu okutangira mmotoka obutaddamu kulukozesa.

Ekitundu okutandikira ku bbaasi za Jaguar okugatta ku masahhanzira ga Pride nga ova e Bakuli lwaggalwa dda n’obugulumu.

Obugulumu bulaga nti ekitundu ekikolebwa kye kizibibwa nga tewali mmotoka kuddamu kuyitawo era bayinginiya ba kkampuni ya Sterling Civil Engineering abalukola omulimu bagukute na maanyi.

Kyokka bannannyini poloti n’abamu ku basuubuzi ku Namirembe Road bakyalumiriza nti, bagenda kufiirwa ate ne poloti zaabwe zigwe bbeeyi lwa KCCA kugaana kubawuliriza.

Abakolera ku paaka ya Namirembe esangibwa emabega wa bbanka ya Centenary basattira.

Muzamir Musoke yagambye nti, KCCA yagaana okumenya ebimu ku bizimbe ebyazimbibwa mu kkubo okusobola okugaziya oluguudo lwa Ssemugooma kisobozese poloti n’ezimu ku mmotoka eziva mu paaka okutambula obulungi.

Yagambye nti kumpi zooni nnamba eya Kisenyi I okuva mu masahhanzira ga Blue Room okwambuka okuyita emabega wa Centenary Bank poloti zonna awo tezirina kkubo.

KCCA yakkiriza abamu ku bagagga okuzimba ne bazibirayo poloti eziri munda era KCCA baagikuba mu kkooti kati bagisaba ebaliyirire buwumbi singa tekola kye bagisaba.

Ssentebe wa NRM mu Kampala Central, Salim Uhuru yagambye nti ekitundu ekitono ekyakaggalwa kyatandise dda okukosa abasuubuzi.

Enguudo eziyita e Kampalamukadde zikwatirira obulippagano era KCCA esaana ezifuule za 'One Way'.

Olwa Namirembe nalwo lusaana kufuula 'One Way' nga lufulumya mmotoka waakiri ezimu naye nga lwonna teruzibiddwa.

Yagambye nti ate okutaasa ku bulippagano KCCA egaziye enguudo mu Kisenyi oba kyetaaga kumenya bizimbe ebimenye ebaliyirire.

Ate Bashir Ssali (muwandiisi wa LC 1 Muzaana) yagambye nti, oluguudo lufuulibwe 'One Way' naye teruggalwa lwonna olw’embeera y’obulippagano eyatandise dda okukosa abantu.

Ssentebe wa Blue Room Asuman Lukwago yagambye nti, KCCA ebakolere enguudo okubayambako obutanyigirizibwa nnyo naddala mu kyalo kye omusangibwa paaka ya takisi ate n’oluguudo balufuule lwa 'One Way'.

Omusuubuzi Wahab Barekye yagambye nti, KCCA egonjoole enkaayana z’ebizimbe ebyaggalira poloti z’abalala kubanga singa KCCA teyabakkiriza kuzimba tewaalibaddewo kuyomba kwonna.

Yagambye nti, KCCA ekole oluguudo kyokka ng'egezaako okulaba nti abantu tebakosebwa nnyo mu kuziba amakubo.

KCCA KY'EGAMBA

Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju yagambye nti, KCCA terina ky'eyagaliza kibi Bannakamapala era byonna bye bakola bagenderera kulaba nti abantu beeyagalira mu kibuga ky’eggwanga.

Yagambye nti baaniriza ebirowoozo era abakungu ba KCCA bazze bawuliriza n’okusisinkana abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo ne babannyonnyola.

Yagambye nti bagenda kukola oluguudo buli alukozesa yeeyagale.

Minisita Beti Kamya yategeeza nti abakolera ku Namirembe Road bagenda kweyongera okukola obusuubuzi kubanga abantu bagenda kweyongerako obungi nga batambula n’okugulako ebintu.

Oluguudo lugenda kusimbibwako ebimuli n’emiti ebbali ate lussibweko ebisikiriza abantu nga batambula okulaba n’okwetegereza amaduuka agatunda kalonda w'ebintu eby'enjawulo era lugenda kussibwako amataala amanene n’ebyokwerinda nga binywevu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.