TOP

Agambibwa okubba mukama we bamufuumudde mu katale e Nakawa

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2019

VINCENT Ssengendo omusubuuzi w’engatto agobeddwa mu katale ke Nakawa oluvanyuma lwa abadde mukama we okukizuula nti abadde amubba okumala ebbanga.

Waabwe 703x422

Kino kiddiridde okugwikiriza omuvubuka ono ng'atudde ku mudaala gw’abadde mukama we nga taliwo olwo banne ne batemya ku bakulembeze baabwe n'akwatibwa.

Kino kyawalirizza n'olukiiko olutwala abasuubuzi b’engatto mu katale okukung'aanya emikono nga baagala omuvubaka ono abaviire mu katale kabwe era ne batuukirira ne ssentebe ku nsonga eno.

Andrew Oketch abadde mukamawe yategeezezza nti amaze emyaka 8 ng'amukozesa wabula yatuuse ekiseera n'asiiwuka empisa n'atandika okumubba kwe kusalawo okumugoba ng'alaba bizinensi etandise okugwa.

Yagambye nti abadde yaakamukomyawo nga waakayita wiiki bbiri zokka n'addamu emize egyamugobya era nga yabadde amazze wiiki emu nga takola oluvanyuma lw’okutunda engatto namala nabba emitwalo munana.

Charles Okuni sentebe wa katale k’e Nakawa yategezezza nti okusinziira ku mateeka agafuga akatele, agobye Ssengedo era talina kwesembereza mudaala gwonna mu katale. 

Ssengendo mu kwewozaako yategeezezza ssentebe nti abanja Oketch obukadde busatu era tasobola kuva mu katale nga tannasasulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...