TOP

Omuserikale akubye 2 amasasi ng’atangira bakifeesi okubba

By Hannington Nkalubo

Added 30th April 2019

OMUSUUBUZI n’owa bodaboda bakubiddwa amasasi ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bataawa omuserikale w’ekitongole ky’obwannannyini bw’abadde alwana n’ekibinja ky’ababbi abazinze edduuka ku luguudo lwa Namirembe.

Pera 703x422

Nsubuga

Abdul Tamale alina edduuka ku bizimbe by’abasuubuzi ku paaka empya ne Robert Tweheyo awa bodaboda ku ppaaka empya baakubiddwa ku ssaawa 3:30 ez’oku makya ku Lwokuna.

Ababiri bano baabadde ku pikipiki nga bava ku ppaaka mpya okugenda ku Lubaga Road Baabadde bayita kumpi n’edduuka lya TECNO erisangibwa okumpi n’ekizimbe kya Makenzie ku Namirembe Road ne balengera ng’omuserikale w’ekitongole kya Vision Security Services alwana n’abavubuka.

Pikipiki yaabwe olwabayiseeko ne bawulira ng’amasasi gatulika. Omusuubuzi Abdul Tamale yagenze okwetunuulira ng’avaamu musaayi mu kisambi n’oludda lw’omugongo.

Ate Tweheyo ye yakubiddwa kabina. Wano amaanyi we gaabaweereddemu era Tamale n’atwalibwa mu ddwaaliro e Namirembe ate Tweheyo ne bamutwala e Mulago wadde ng’oluvannyuma ne Tamale baamuggyeyo naye ne bamutwala e Mulago.

Tweheyo yalongooseddwa wadde ng’embeera tennatereera naye Tamale ye engeri gye yavuddemu omusaayi omungi, tannalongoosebwa.

Omuserikale yakwatiddwa n’aggalirwa ku poliisi ya Kampalamukadde. Akulira abakozi ku dduuka lya TECNO, Nicholus Nsubuga yagambye nti ekibinja ky’abavubuka abasoba mu munaana baayiise omulundi gumu ku dduuka kyokka abakozi bwe baabalabye ne baagala okuggalawo edduuka era olutalo we lwatandikidde ng’ababbi baagala kuyingira babbe essimu wabula omuserikale n’abalemesa.

Ababbi bano mu busungu baatandise okukasuka amayinja mu duukka waakiri boonoone ebiri munda n’okulumya abakozi.

Wakati mu lutalo olwabadde mu luguudo ng’omuserikale ayagala okukwatako abamu ku babbi, yawaliriziddwa okukuba amasasi naye ebyembi ne gakwata abatambuze.

Ababbi baatutte weema n’ebintu bya TECNO bye batimba ebweru w’edduuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailkabongengomupiiraagulabiraeberuwekisaawe 220x290

Omutendesi Kabonge awanduse mu...

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa...

Thumbnailabazannyibacityoilersngabafaessanyulyekikopoekyomusanvu2 220x290

Aba City Oilers 2 batambulira...

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo...

Genda 220x290

Abadiventi beebugira lukung'aana...

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw'aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival...

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...