TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Balagidde Minisita Beti Kamya annyonnyole ekivuddeko abakungu ba KCCA okulekuliranga entakera

Balagidde Minisita Beti Kamya annyonnyole ekivuddeko abakungu ba KCCA okulekuliranga entakera

By Muwanga Kakooza

Added 24th July 2019

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye minisita w’ensonga za Kampala, Beti Kamya anyonnyole palamenti ebigenda maaso mu KCCA ebivuddeko abakungu b’ekitongole kino okutandika okulekulira ng’ebifo byabwe tebizibwamu bantu mu butongole.

Kamya 703x422

Minisita Beti Kamya

Kino kidiridde omubaka w’ekibuga Mukono Betty Nambooze okwebuuza ekivuddeko abakungu b’ekitongole kino okuli n’eyali dayirekita wakyo Jenniffer Musisi okulekulira  ate Pulezidenti Museveni n’atabaako muntu gw’azza mu kifo kino.

Jennifer Musisi yalekulira mu October w’omwaka oguwedde ng’ate eyali amumyuka Judith Tukahirwa yalekulira mu 2016.

Abalala okuli Daniel Kyambadde ng’ono yali avunaanyizibwa ku bya gwanika ,Fred Andema eyali avunaanyizibwa ku kung’anya emisolo ne Dr. Martin Kiiza avunaanyizibwa ku by’emyala nabo baalekulira.

Abalala kuliko ow’ebyobulamu David Sseruka, avunaanyizibwa ku mbeera z’abantu Jennifer Kaggwa, ow’ebyamateeka Charles Ouma, ne Dr. Jeremy Ntambi nabo baalekulira.

Ebifo by’abantu bano tebinaba kujjuzibwamu balala mu butongole. Ekya Jennifer Musisi , Pulezidenti Museveni tavangayo kukijjuza kyokka gye buvuddeko emikutu gy’amawulire gyawandiika nti yagamba nti yegyussa ensimbi ennyingi ze yali asasulwa.

Wabula sipiika Kadaga yagambye minisita akwatibwako (Beti Kamya) afune obudde annyonnyole palamenti ekigenda maaso mu kitongole kino.

Ebyo nga biri awo Kadaga era yasabye Katikkiro Dr. Ruhakana Rugunda okunnyonnyola wa gavumenti w’etuuse ku kisuubizo kyayo eky’okugulira abantu b’e Buyende mu Busoga abaakosebwa enkuba amabaati         

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...