TOP

KCCA ekyusizza pulaani ya Namirembe Road

By Hannington Nkalubo

Added 6th August 2019

AKAZITO abasuubuzi ke baatadde ku KCCA ku nkola y’oluguudo lwa Namirembe kavuddemu ebibala. Dayirekita Andrew Kitaka Mubiru akoze ennongoosereza mu pulaani enkadde.

Call 703x422

Oluguudo lw’e Namirembe olukolebwa.

Agenda kutema oluguudo olupya ku katale ka St. Balikuddembe ate akole oluguudo oluyita ku paaka ya takisi eya Namirembe ezitabaddeewo.

Bakirizza mmotoka okutambula okuva waggulu ku Pride okutuuka ku bizimbe bya Qualicel (Allen road) ate olwa Ssebaana Kizito Road (Nakivubo Road) lugenda kukyusibwa lukkirizibwe okutwala mmotoka ku Channel Street.

Mu kiseera kye kimu balindiridde kiva mu kkooti ku bizimbe by’abagagga ebigambibwa okuzimbibwa mu kkubo oba kkooti eragira bimenyebwe oluvannyuma lwa kkampuni ya Mugalasi Holding okukuba KCCA mu kkooti nga yeemulugunya okukkiriza bannyini ebyo okuzimba mu kkubo.

Kkampuni eyo yeemulugunya nti byazibikira poloti endala ezaaliko ebyapa ate ne bifunza oluguudo nga kati terusobola kutambuza mmotoka bbiri. Ku Lwokutaano, yinginiya Andrew Sserunjogi akulira pulojekiti ya Namirembe Road yalambudde enguudo empya ze bagenda okukola ng’ali n’abakulembeze ba LC n’abasuubuzi ne bakkiriziganya.

Yabalaze nti oluguudo oluyita wakati wa ppaaka ya takisi ku Namirembe Road omusimba mmotoka ezikwata ku lw’e Nakulabye n’ebizimbe okuli bbanka ya Centenary kwe bagenda okutandikira.

Wiiki eno bagenda ku lupima batandikirewo okuzimba ng’aba takisi n’abasuubuzi bwe bazze basaba.

Yabagambye nti olutalo lw’abagagga oluli mu kkooti balulinda kuggwa era bagenda kukolera ku kkooti ky’enaasalawo ku bizimbe eby’enjawulo ebitunudde mu ppaaka ya Kisenyi Bus Terminal ng’omusango guwedde.

Yategeezezza nti oluguudo olupya lwe bagenda okutema wakati w’ebizimbe bya Hamne St. Balikuddembe lugenda kufulumya mmotoka eziyita ku Container Village okugenda mu Kisenyi zifulume ku Lubaga Road.

Aba LC baasembye enteekateeka za KCCA empya ne basaba enguudo zino zimalirizibwe mangu kubanga akalippagano bususse KCCA okuddamu okutereeza kiddiridde abantu ab’enjawulo okwekalakaasa nga beemulugunya ku kalipagano akeeyongedde ku luguudo luno nga kava ku kkampuni erukola.

Abakolera ku luguudo luno bazze beemulugunya nti bali mu mbeera mbi era basaba KCCA ebayambe.

Kyokka Sserunjogi yategeezezza nti okusinziira ku nnoongosereza zino, ebimu ku bizibu bagenda kumalibwawo mangu ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye

Lop1 220x290

Ebya Museveni ne Kagame bireka...

Ebya Museveni ne Kagame bireka wa basajja ba Kayihura

Hit1 220x290

Aba Bobi Wine baddizza Otafire...

Aba Bobi Wine baddizza Otafire omuliro