TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo e Nakawa; Bakansala ne Meeya balwanira ki?

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne Meeya balwanira ki?

By Eria Luyimbazi

Added 21st August 2019

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za ttaka. Meeya agamba nti waliwo abagagga abaagala okuyita mu bakansala okuleeta emivuyo mu kulonda akakiiko k’ebyettaka basobole okubaako ettaka lye beekomya.

Kanso1web 703x422

Bakansala Fredrick Kisembo owa Luzira Prisons (ku kkono) ng’ alwanagana ne Khasim Ddungu Sagalabayomba owa Kyanja . Baabadde mu lukiiko lwa kkanso y’e Nakawa e Nagulu gye buvuddeko.

 
AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za ttaka. Meeya agamba nti waliwo abagagga abaagala okuyita mu bakansala okuleeta emivuyo mu kulonda akakiiko k’ebyettaka basobole okubaako ettaka lye beekomya.
 
Ettaka eririko embiranye lisangibwa mu Zooni 3 eza Kasenke  Nagulu, ekisaawe ky’e Kataza-Bugolobi, ettaka ly’e Bugolobi okuliraana ewa Nyakana, ekisaawe ekiriraanye Youth Aid e Mbuya, ettaka  erisangibwa mu zooni ya Buyinja- Nagulu, olutobazi lw’e Kinnawattaka n’ettaka eririraanye Spear Motors e Nakawa.
Wiiki ewedde bakansala ba munisipaali y’e Nakawa baatabukidde Meeya Ronald Balimwezo nga bamulanga okubayita ababbi nti beekobaana n’abaagala okutwala ettaka mu Nakawa.
 
Baabadde mu lukiiko olwabaddemu okulonda abantu abataano abagenda okukiikirira munisipaali y’e Nakawa ku kakiiko k’ettaka. Meeya Balimwezo mu b’ayagala  ku kakiiko kuliko; Ronald Ruhinda, Jackie Kemigisha, Deogratius Tendo, Wilberforce Sseryazi ne Margaret Serunjogi Nassanga.
Winnie Nandudu, kansala omukyala owa Naggulu 1 yaleese  akatambi akaliko eddoboozi lya Balimwezo wabula kaabadde kakyagenda mu maaso n’okuzannya Balimwezo n’amulagira okukaggyako. Nandudu naye yamusabye okubeetondera kyokka n’agaana ng’agamba nti takkiriza byabadde byogerwa.
 
Akavuyo kaavudde ku Simon Barigo kansala wa Naggulu 1 okwagala  okwogera  kyokka Balimwezo n’amusirisa ekyamunyiizizza n’agenda okubba  omuggo gwe ogumuwa obuyinza kyokka Ben Mwanje omuserikale wa kkanso n’ayanguwa okugukwata. 
 
eeya onald alimwezo mu gawuni ku ddyo  ngava mu lukiiiko ne meeya we awempe mmanuel erunjogiBalimwezo ne SserunjogiMeeya Ronald Balimwezo (mu gawuni ku ddyo) ng'ava mu lukiiiko ne meeya w'e Kawempe Emmanuel Serunjogi.

 

 
Baatandise okugulwanira era ne bakansala abalala ne bamwegattako mu lutalo olwalanze ne balufulumya n’ebweru gye beesikidde amataayi.
Balimwezo agamba nti mu Nakawa mulimu emivuyo gy’ettaka mingi olw’abagagga abaagala okwezza ettaka ng’erimu liriko abatuuze be baagala okusindiikiriza.
Agamba nti olw’okwewala emivuyo egitera okwetobeka mu bukiiko bw’ettaka obwa KCCA, yasalawo okulonda abantu abatayinza kutiiririra kuwaayo ttaka lya bantu eri abagagga abeeyagaliza bokka. 
 
Ayongerako nti waliwo abagagga be yasuuza ettaka erimu mu bitundu bya Nakawa, abaagala okuyita mu  bakansala okulemesa okuyisa abantu abataano abalina okubeera  ku kakiiko k’ebyettaka abaasunsuddwa nga baagala bateekewo abaabwe be bayinza okuyisaamu ddiiru zaabwe ez’okutwala  ettaka.
Balimwezo agamba nti newankubadde ng’etteeka ly’okulonda abantu abanaabeera ku kakiiko k’ettaka limuwa enkizo okusunsula abantu bataano, bakansala bamulemesa nga baagala okulonda abaabwe be banaakozesa okugemulira abagagga ettaka.
 
Yategeezezza nti waliwo bakansala abasaba ekyojjamumiro okuyisaawo abantu abo be baagala okwezza ettaka nga be beekiika  mu bantu abaalondeddwa ku kakiiko.
Wabula Samuel Kisame Kansala w’omuluka gwa Bukoto 2 awakanya ebyogerwa Balimwezo ng’agamba nti tewali mugagga  gwe bakolagana naye kumulemesa kulonda abantu bano wabula baagala  abeere  mulambulukufu ng’alonda  olukiiko luno.
 
Yagambye nti mu ntuula essatu ze baakeetabamu azze akyusa amannya gano ate tewali n’omu gwe yali akkirizza kukubwamu tooci nga bwe balagirwa. Yayongeddeko nti tewali muntu yenna  gwe baagala kuleeta ku lukiiko luno  nga Balimwezo  bw’alowooza.
 
Kisame yagambye nti abamu ku bantu be yalonda ku lukiiko luno ba hhanda ze okuli; Wilberforce Seryazzi ne Deogratius Tendo kuba tebabeera Nakawa.
 
 akansala be akawa nga balwanira omuggo  mu kkanso ye akawa mu lukiiko  lwe baayiyeBakansala nga balwanira omuggo. Bakansala b'e Nakawa nga balwanira omuggo mu kkanso y'e Nakawa mu lukiiko lwe baayiye.

 

 
 
Balimwezo agamba nti tajja kukkiriza kibbattaka mu Nakawa nga bakansala be abamu bwe baagala  okukola era n’abo be yalonda ku lukiiko luno bw’anaakizuula nga balya enguzi nabo ajja kubaggyayo.
Kisame yatuuse n’okulumiriza nti Meeya okuba mu lukwe n’abaalondeddwa ku kakiiko okwefuula abawa bakansala abamu enguzi bakkirize okubasemba ku kakiiko.
Kisame agamba nti Balimwezo by’akola ayagala kuboonoona ng’abalabisa bubi  mu bantu baabwe.
 
Robert Asiimwe, kansala wa  Nagulu 2 agamba nti  ye yalemesa abagagga okutwala ettaka  eriri mu zooni  okuli Buyinja, Kasenke 1,2 ne 4 kyokka Balimwezo amusibako  eky’okwekobaana n’abagagga bagobeko abantu ekitali kituufu.
Balimwezo agamba nti waliwo abagagga ne kkampuni ezimu  ezirina  ettaka  lye baagula  mu makubo agatali matuufu nga kati baagala bayiseemu  akakiiko akatali  keesimbu  batwale ettaka ly’abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.