TOP

KCCA ekyusizza yunifoomu y’abaserikale baayo

By Musasi wa Bukedde

Added 5th October 2019

EKITONGOLE KYA Kampala Capital City Authority (KCCA) kikyusizza yunifoomu y’abaserikale baakyo abakwasisa amateeka okuva ku nkadde ebaddewo ey’essaati ya kyenvu n’empale enzirugavu kati bambala bbulu.

Prayer 703x422

Aba KCCA nga bambadde yunifoomu empya.

Kino KCCA ekikola wakati mu kaweefube w’okwongera okubbulula ekifaananyi kyayo ekibadde kyonoonese nga bakibateekako nti abaserikale baayo abambala kyenvu basusse okutulugunya abantu n’okweyisa mu ngeri etesaana.

Omwogezi w’ekitongole kya KCCA, Peter Kaujju yagambye nti okukyusa yunfoomu y’abaserikale b’ekitongole kino kyaddiridde okuzuula nti gye babadde bayambala ebadde tekyatuukana na mutindo ne basalawo okufuna eri mu langi endala gye balina okwambala.

“KCCA yasazeewo okyusa yunifoomu y’abaserikale baayo kuba kyazuuliddwa nti yunifoomu gye babadde bakoleramu emirimu ebadde ekaddiye nga tekyatuukana n’ennono y’ekibuga kwe kusalawo tubawe langi endala mwe balina okukolera.” Kaujju bwe yategeezezza.

Yagambye nti KCCA yalaga nti abaserikale baayo bagenda kuyusa yunifoomu gye bambala era nga mu butongole yunfoomu empya baatandise okugyambala nga October 2, 2019 nga tewakyali akkirizibwa kwambala yunifoomu ya kyenvu kuba yadibiziddwa.

Yategeezezza nti okwambala yufoomu empya y’omu ku kaweefube w’okubbulula n’okweyubula kw’ekitongole ekikwasiza amateeka n’okulaga nti enkola yaabwe ey’emirimu ekyuse okuva kw’eyo gye babadde bakolamu nga bali mu yunifoomu enkadde abantu gye babadde balaba nga ebatulugunya.

Yagaseeko nti KCCA yasazeewo okulonda ku emu ku langi zaayo etaano nga ekitongole ze kikozesa omuli emmyuufu, eya kiragala, enzirugavu, eyakyeevu ne bululu nga abanti tebalina kubeera ne ndoowaza endala yonna.

Eyali akulira ekitongole kya KCCA Jennifer Musisi Ssemakula bwe yali yaakayingira ekitongole kino kyakyusa yunifoomu y’abaserikale ba KCC mu kiseera ekyo abaali bambala essaati eza kyenvu n’empale eza kiragala n’asalawo abaserikale bambale essaati eza kyenvu n’empale enzirugavu nga kati ku mulembe gwa Kitaka yunifoomu yazzeemu okukyusibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.