TOP

Abasuubuzi b'e Wandegeya beeyawuddemu ku bukulembeze

By Musasi wa Bukedde

Added 25th November 2019

POLIISI yayiiriddwa mu bungi ku katale ka KCCA e Wandegeya okukakanya e mbeera oluvannyuma lwa basuubuzi kwekalakaasa.

Whatsappimage20191125at1358091 703x422

BYA REGINAH NALUNGA
 
Bano baakedde kuva mu mbeera ku Mmande nga baagala Jonathan Gitta, ssentebe w'akatale ave ku bukulembeze.
 
Abasuubuzi baludde nga beemulugunya ku bukulembeze bwa Gitta nga bagamba kino kye kiseera bakyuseemu obukulembeze kyokka Gitta n'olukiiko lwe tebakkiriziganya nakyo.
 
Embeera eno yaviiriddeko abasuubuzi okwetemamu ebiwayi ng'abamu baagala Gitta ng'ate abalala basemba eky'okumuggyamu obwesige.
 
Gitta yagambye nti abaviirako akacankalano mu katale bannakigwanyizi kubanga ye abasuubuzi bakyamwagala.
  
Oluvannyuma abasirikale  okuva ku poliisi y'e Wandegeya beebulungudde ekifo kyonna okuwa abasuubuzi obukuumi n'okutangira embeera y'akajagalalo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...