TOP

KCCA ekoledde abasuubuzi entegeka ku Ssekukkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 19th December 2019

KCCA esabuukululidde bannakampala ettu lya Ssekukkulu bw’ekkirizza ebifo bisatu abasuubuzi batundiremu ebyamaguzi byabwe. Ebifo ebyakkiriziddwa mulimu ekibangirizi kya ppaaka ya ttakisi enkadde ekyakazibwaako ku kisansa era abasuubuzi bakiyiyeemu emmaali yaabwe.

Mpeta1 703x422

Akamu ku butale bwa ssekukkulu akassiddwa mu luggya lwa ppaaka enkadde awamanyiddwa nga ku kisansa. Wano ng’abasuubuzi batandise okukola.

Ekirala kibangirizi kya ssemateeka era abasuubuzi baataddewo dda ebintu ssaako ekibangirizi ky’eggaali y’omukka ekiyitibwa Railway Grounds.

Ebifo byatandise dda okujjula abasuubuzi. Batimbye ebintu bya Ssekukkulu okuli; engoye, engatto, ebyokulya n’okunywa ssaako ebikozesebwa mu ffumbiro.

Ebifo bino biddiridde abamu ku basuubuzi okwekubira enduulu mu KCCA nga bagamba nti baagala bakkirizibwe okukola ku mmaali ya Ssekukkulu mu mateeka nga tebayiggibwa .

Akwanaganya abasuubuzi abaweereddwa okukolera mu luggya lwa Paaka ya ttakisi enkadde, Sowed Nkonge yagambye nti kino kikoleddwa okutangira ababadde bayiwa ebintu ku nguudo baleme kuzijjulako.

Yagambye nti baasabye ekifo ekyo KCCA n’ekibawa okumala wiiki bbiri zokka nga bakikoleramu .Yagambye nti oluggya luno KCCA yalulabye nti ekifo weruli tekigenda kutataaganya ntambula ya bidduka ate nga kiri kumpi ne kaabuyonjo ya paaka egenda okubasobozesa okukuuma obuyonjo bw’ekibuga.

Yategeezezza nti baabagaanyi okusaasaanira enguudo nti balemesa abantu okutambula ne babakkiriza mu luggya lwa ppaaka lwokka. Ate ku kibangirizi ky’eggaali y’omukka nawo waliwo akatale akatwalibwa ng’akatunda ebimu ku bintu byabakolera ennyo mu ofiisi abatafuna budde kukkirira wansi ku paaka.

KCC A; Omwogezi wa KCCA peter Kaujju yagambye nti ekiteeso ky’okubawa enguudo bakyayongera okukikubaganyaako ebirowoozo wadde kyayisibwa dda olukiiko lwa bakansala olufuga ekibuga olukulemberwa Loodi meeya, Erias Lukwago.

Olukiiko lwa Lukwago lwasemba enguudo nnya ziweebwe abasuubuzi bazikolereko nga batandika ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo.

Ezimu ku nguudo zino kuliko Ssebaana Kizito Road (Nakivubo Road) Allen Road, Namirembe Road ne Kisenyi Road. Lukwago yawagirwa meeya wa Kampala, Central Charles Musoke Sserunjogi n’olukiiko lwe era kyokka mu butongole KCCA tennaba kubakkiriza kuzikolerako.

Wadde KCCA tennaba kuvaayo kulangirira, abasuubuzi baatandika dda okuzikolerako era okutandika n’essaawa 11:00 ez’olweggulo, ziba zikubyeeko abasuubuzi nga tolina wooyisa kigere. 

Abasuubuzi baagabana dda ebifo nga buli omu amanyi wassa emmaali ye buli lunaku. Kauju yagambye nti baagala abantu balye Ssekukkulu mu ssanyu.

Yategeezezza nti tebaagala musuubuzi yenna ku luguudo okuggyako mu bifo ebyo byokka bye babakkirizaamu okukoleramu. Yasembye nti abasuubuzi basinga kubaagala kukolera mu butale ne mu ppaaka za ttakisi ssaako mu maduuka naye ku nguudo tebabaagalako.

 no ngatunda ebitimbisibwa ku sekukkulu Ono ng’atunda ebitimbisibwa ku Ssekukkulu.

Yategeezezza nti abaserikale baabwe bagenda kukwata abo bonna abayiwa ebintu ku nguudo kubanga balemesa abatambula n’emmotoka kikyongera obulipagano mu kibuga.

MU BUTALE;

Abakolera mu butale omuli USAFI , St. Balikuddembe ne mu ppaaka za ttakisi okuli eya USAFI, mu Kisenyi, ku Namirembe Road ne Namayiba bagambye nti nayo beetegese nnyo era abantu tebalowooza nti ebya Ssekukkulu biri wakati mu kibuga wokka.

Abasuubuzi okuli; Stella Namusisi ne John Masembe okuva mu USAFI baategeezezza nti ne mu bitundu byabwe nayo balina ebintu eby’enjawulo era abaguzi baalibadde tebeesiba wakati mu kibuga wokka.

EBYOKWERINDA;

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yagambye nti bakolagana ne poliisi okukwasisa amateeka. “Poliisi eyigga abamenyi b’amateeka ate nga bwekuuma Bannakampala okulaba nga beeyagalira mu kibuga kyabwe.

KCCA yayungudde abakozi baayo abayamba okulagirira ebidduka, okutaasa ku bulippagano bwa mmotoka n’okukuuma abasuubuzi okulaba nga bakolera mu maduuka awatali kufi irizibwa.

Obulippagano mu Kampala bwatandise dda okukwata nga buli wamu wajjudde mmotoka. Abantu abanoonya ebya Ssekukkulu beeyongedde mu Kampala. KCCA yatandise okutimba era yataddewo dda omuti gwa Ssekukkulu .

Bannakamapala omuli kkampuni ennene n’abalina amaduuka n’ebizimbe babitaddeko obutaala n’emiti nga ekibuga kitandise okwaka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...