TOP

Ham bamututte mu kkooti lwa ttaka lya Nakivubo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th December 2019

OMUGAGGA Hamis Kiggundu owa Ham Enterprises U Ltd ayolekedde okufiirwa ettaka ly’ekisaawe ky’e Nakivubo abantu babiri bwe bamututte mu kkooti nga beemulugunya ku ngeri gye yalifunamu era baagala kkooti erimuggyeko kuba lyamuweebwa mu bukyamu.

Images4 703x422

Omugagga Ham

Bagamba nti abayima b’ekisaawe (Nakivubo War Memorial Studium) tebakkirizibwa kuwa liizi oba kusinga ekyapa ky’ettaka mu kkooti, mu bbanka oba awantu wonna naye bbo mu bumenyi bw’amateeka baagenda mu maaso ne bawa Hamis Kiggundu liizi ku ttaka ekintu ekikontana n’amateeka.

Kiggundu avunaaniddwa wamu n’abayima b’ekisaawe e Nakivubo, Absa Bank eyali eyitibwa Barclays, Kampala District Land Board ne kamisona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa.

Bagamba nti abayima b’ekisaawe baava mu kuwabulwa kwa ‘solicitor general’ eyali abawabudde bakolagane ne Ham buli ludda luganyulwe naye bbo baamunyooma ne bamuweera ddala ettaka ku liizi ekintu ekikyamu.

Kiggundu yatandika okukulaakulanya ettaka lino azimbeko ebizimbe ebyamaanyi mu 2017 wabula abaamuwaabidde mu kkooti bagamba nti ettaka okulifuna yasooka kwekobaana n’abayima b’ekisaawe nga bwe baawandiikiddwa waggulu.

Bagattako nti nga March 4, 2019 Kiggundu, abayima b’ekisaawe n’aba Kampala district Land Board beekobaana ne basinga ekyapa mu Absa bank ekitakkirizibwa bbanka n’ebawola ssente ddoola obukadde musanvu ekyavaako ekyapa ky’ekisaawe okubaako ekiraga nti kiri mu bbanka lwa looni.

Basabye kkooti eyise ekiragiro ekigaana Kiggundu okugenda mu maaso n’okukulaakulanya ettaka lino okutuusa ng’omusango guno gumaze okusalibwa.

Basabye ne kkooti eragire kamisona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa asazeemu liizi eyaweebwa Kiggundu ekyapa ky’ekisaawe kizzibwe nga bwe kyali era n’ebibadde biraga nti baakyewolerako ssente mu bbanka nabyo bigibweeko.

Gye buvuddeko, palamenti yayisa ekiteeso eky’okukola ennongoosereza mu tteeka lya Nakivubo War Memoria Stadium Act1963 okusobola okutereeza obumulumulu obulirimu.

Mu nnongoosereza eno eneetera okuteesebwako gavumenti eyagala wabeewo enkola esobozesa okuzimba n’okukulaakulanya ekisaawe n’okukugira abayima b’ekisaawe okukitunda oba okusinga wadde waliwo abagamba nti ennongoosereza eno eyinza okuvaako ekisaawe okutundibwa ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...