TOP

Loodi Meeya takyaddamu kukubiriza nkiiko za KCCA

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2020

OLUVANNYUMA lw’ennongoosereza ezaakoleddwa mu tteeka erifuga Kampala okulangibwa mu katabo k’eggwanga aka Uganda Gazette ne zitandika okukola, Loodi meeya Erias Lukwaago tagenda kuddamu kuyita wadde okukubiriza olukiiko lwonna nga bw’abadde akola.

Skjhtlu3 703x422

Erias Lukwago

Dayirekita wa Kampala, Andrew Kitaka yategeezezza nti olukiiko lwa Loodi meeya Lukwago lwe yasembye okukubiriza mu tteeka ekkadde lwabaddewo ku Lwokubiri era lwayisizza ebintu bingi.

Lwatudde ku City Hall ku kuwabulwa kwa minisita wa Kampala, Betty Amongi Ongom. Lwateesezza ku bintu eby’enjawulo omuli embalirira y’ekitongole ey’omwaka 2020 – 2021 ey’obuwumbi 323 nga tekuli mutemwa gwa buwumbi munaana ogwabaliriddwa okukola ku ofi isi ya sipiika n’abamyuka baabwe.

Ennongoosereza mu tteeka erifuga Kampala yalangiddwa ku Mmande wiiki eno. Ewa Lukwago obuyinza okulonda olukiiko lwe olufuzi lwa bantu bataano nga kuliko omumyuka we gwe yalonda edda, Hajjati Sarah Kanyike, akola ku by’enguudo, ebyensimbi 

ssaako n’abakulembeze babiri bonna bagenda okuggya mu bakkansala. Kyokka obuyinza bw’okuyita n’okukubiriza enkiiko bwassiddwa mu ofi isi ya sipiika. Loodi meeya yayongeddwa obuyinza bw’okuteekateeka ebiba bigenda okuteesebwako mu lukiiko ebiyamba okukulaakulanya ekibuga.

Kitaka yategeezezza nti baatandika dda okukola ku nteekateeka y’okufunira basipiika ofi isi n’ebikozesebwa byonna. Bagenda kukola ku ntegeka y’okubalonda emirimu gisobole okutambula nga tewali kisannyaladde.

ABA MUNISIPAALI

Enkiiko zonna mu munisipaali ettaano ezikola Kampala tezikkirizibwa kuddamu kutuuzibwa mu nkola enkadde ebaddewo.

Ofiisi y’akola nga dayirekita wa Kampala, Andrew Mubiru Kitaka eteekwa kusooka kukola ku nteekateeka za kulonda basipiika bonna mu nkiiko zino.

Oluvannyuma basipiika bwe banaamala okulondebwa ng’enkiiko ziddamu okuyitibwa n’okutuuzibwa mu nkola empya. 

Eggulo, minisita wa Kampala Betty Amongi ne Andrew Mubiru Kitaka baagenze mu kakiiko ka 

palamenti akakola ku nsonga za pulezidenti ne banjula embalirira ya KCCA ey’omwaka 2020 – 2021 mwe baatadde ensimbi obuwumbi munaana ezigenda okukola ku kifo kya sipiika.

ENSIMBI

Mu mbalirira eyayanjuddwa mu palamenti, sipiika wa KCCA agenda kusasulwa omusaala gwa bukadde 13, ate omumyuka we asasulwe obukadde 11. Aba munisipaali bagenda kusasula obukadde mwenda.

Bonna bagenda kuweebwa ofi isi ezirimu buli kimu n’emmotoka z’okukoleramu emirimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu