TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo lw’e Namirembe esattizza aba KCCA

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo lw’e Namirembe esattizza aba KCCA

By Musasi wa Bukedde

Added 26th January 2020

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita wa Kampala, Ying. Andrew Kitaka Mubiru nga balabula ku kabi akayinza okuva ku luguudo lwa Namirembe olukolebwa esattiza abakulu mu KCCA.

Kcca 703x422

Abakungu ba KACITA nga bali mu nsinsikano n'aba KCCA

Aba KCCA baasisinkanye bukubirire abakulembeze mu KACITA ne babannyonnyola ebirungi ku luguudo kyokka lwayabuse aba KACITA tebamatidde nga bagamba nti bateekwa kunnyonnyola basuubuzi bennyini abakwatibwaako.

Abasuubuzi baawandiise ensonga 10 ze basaba KCCA ebayambe etereeze ng’ekola oluguudo luno. ENSONGA;

l Buli kitundu KCCA gy’emaliriza okukola abatundira ku nguudo kye bawamba ne bayiwamu ebintu.

l Emyala egissiddwa ku luguudo luno mifunda era amazzi gajjula ne gonoona ebintu by’abasuubuzi. l Ebitundu ku luguudo luno bizibiddwa, ambyulensi oba mmotoka ezizikiriza omuliro tezirina we ziyita. l Oluguudo luluddewo nnyo nga teruggwa ekisse emirimu.

l Baagala KCCA ebabuulire lwaki amaduuka agafiiriddwa ebintu gasasula layisinsi omwaka guno.

l Baagala KCCA ennyonnyole lwaki ebyabagambibwa mu kusooka si byebikoleddwa kati.

l Tewali nguudo zikoleddwa kuyamba basuubuzi naddala okubayunga ku luguudo lw’e Ntebe.

l Tewali mataala gassiddwa ku nguudo okuyambako ekiro. l Oluguudo lutaddewo akavuyo wakati mu kibuga.

l Ebifo ebyali biragiddwa abasuubuzi okusimbamu mmotoka byaggyibwaawo ekifiirizza bannannyini madduuka.

Omumyuka wa ssentebe wa KACITA, Hope Katwine yategeezezza nti bakkiriziganyizza n’aba KCCA okusisinkana abasuubuzi babannyonnyole ku nkola y’oluguudo luno.

Omumyuuka wa dayirekita wa Kampala, Samuel Sserunkuuma yagambye nti ensonga ezimu ng’okugoba abatundira ku luguudo luno bagenda kukikolako.

Ku ky’amataala bagenda kusisinkana abasuubuzi bennyini babannyonnyole. Yagambye nti bagenda kusomesa abasuubuzi ebirungi by’oluguudo luno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...