TOP

Ngenda kubakubira omuzungu ayogere Oluganda- Golola

By Musasi Wa

Added 9th December 2011

EKIMU ku bintu ebisinga okucamula abawagizi ba Moses Golola bye bigambo byakozesa naddala ng’awera ‘okuttira’ omuntu mu miguwa.

2011 12largeimg209 dec 2011 121143517 703x422

Bya Martin Ndijjo

Ebigambo bya Golola eby’obusagwa

 

EKIMU ku bintu ebisinga okucamula abawagizi ba Moses Golola bye bigambo byakozesa naddala ng’awera ‘okuttira’ omuntu mu miguwa.

  1. Nneebaza omutonzi ansobozesezza okutuuka ku lunaku luno mulindwa. Nze Golola of Uganda, musajja nsolonkambwe etateekeddwa kwemoolerwako.
  2. Nja kukuba Omuzungu eng’uumi addugale atandike n’okwogera Oluganda mu lunaku lumu.
  3. Ng’ambye nti  nja kumufumita eng’uumi bagimulongoosezeemu Mulago kyokka mu kubbo nga bamutwala atandike okulogootana nga bwayimba erinnya lya Golola.
  4. Okumanya ndi musajja wakabi, nsobola okusaabulula eddagala erikkakkannya obulumi (pain killer) naawe gwe balikubye n’otandika okuwulira obulumi.
  5. Nze gwe mulaba nsobola okutunuulira omukazi n’afuna olubuto. Ate temunjogeza nnyo kubanga nnyinza okuggwaamu amaanyi. 
  6. Abantu abansaba okulwana nabo, mbaddamu kimu nti nze sirwana na bakubi ba butayimbwa ate njagala mukimanye nti eddaala lye ndiko lya yunivasite sisobola kulwana nammwe abasoma nursery.
  7. Maama wange singa teyanzala yandifunye obuzibu era naye kennyini kino aking’amba.
  8. Ngenda kwewandiikako akatabo ke naawa omukazi gwe nnaawasa ng’endagiriro y’ebintu bye njagala okukola mu budde obw’enjawulo. Okugeza bwe bubeera budde bwa kuyingira mu buliri kuzaala tekinneetaagisa kumala kumugamba. 
  9. Nneewuunya omuntu atatya Golola kubana nange kennyini bwe mba nasanze Golola mutya.

Moses Golola y’ani?

Yazaalibwa mu 1980 Omw. n’Omuky. Daniel ne Mary Ssenoga ab’e Kawempe, Lugoba. Muto wa Paasita Evans Mayambala era agamba nti taata waabwe yali munnabyabufuzi. 

Ebiseera bye eby’omu buto yabimala ne maama we oluvannyuma lwa taata we okusibwa mu kkomera gye yamala emyaka etaano. Embeera eno yabaviirako okubonaabona n’obwavu mu maka kubanga mu kkolero lya Biscuit e Kawempe maama waabwe gye yali akolera nga bamuwa obusente butono obutasobola kumulabirira n’abaana be omukaaga. 

Embeera eno yawaliriza mukulu we Pasita Mayambala okutandika okutunda ebikajjo okuyamba ku maama waabwe omugugu gwe yali yeetisse. Golola gamba nti embeera eno yamukosa nnyo kubanga yalwawo okutandika okusoma ate n’akoma mu siniya eyookuna. 

Agamba nti yasomera Kawempe Muslim Secondary School ne Kawempe Progressive Secondary. Si mufumbo era agamba nti bino tannaba kubirowoozaako kubanga alina okufuna omukazi amumatiza  mu by’omukwano ng’ate bwe baba batandise ekyeso tajja kumukaabirira. 

Atandika okukuba  ebikonde n’ensambaggere;

‘Okuva mu buto nnalina eddalu nga ndi mulwanyi era natuutuzanga nnyo obwana bw’oku kyalo naddala nga tugenze ku luzzi. Abaana bandoopanga mu bazadde baabwe ne bambonereza kyokka nga sibonerera era nga buli ancookooza gwe nkuba. 

Nakwatagana n’abavubuka abakozi b’ebikolobero omwali n’abaana b’oku nguudo nga tukeera kutaayaaya okuzibya obudde. Bazadde bange baagezaako okuntangira kyokka nga sibawuliriza. 

Agamba nti lumu kitaawe yamugwikiriza ku makya ng’adduka ne banne n’alowooza nti yasuze wabweru ng’atigomya abantu n’amukwata n’amutwala ku poliisi bamusibe kubanga tawuliriza bazadde be. 

Bwe baamuta yagaana okuddayo awaka n’atandika obulamu obupya ng’abeera ne mikwano gye era ye yali akulira ekibinja kino. Ku ‘Street’ gye yayigira okukuba emigere n’ebikonde. Yasooka kwatiikirira mu kukuba bikonde era yakiikirirako ‘Kawempe Box Club’ mu mpaka z’eggwanga.

Embeera eno yamuleetera n’okuyiga okukozesa ebiragalalagala kyokka mukulu we n’amukwata ku mukono n’afuna entandikwa y’ekirooto kye okufuuka munnabyamizannyo ow’erinnya. 

Ekirooto kye kituukirira:

Paasita Mayambala yamutwala mu maka ge gye yalokokera. Oluvannyuma mukwano gwa Mayambala, Matovu yamusabayo n’amutwala ewuwe akole obwayaaya.  Matovu yamwagala nnyo era ono bwe yateegera nti Golola alina ekitone ky’omuzannyo gw’ebikonde n’amuzzaayo mu Kampala Boxing Club ayongere okuyiga okukuba ebikonde. Mu 2000, yawangula engule ya ‘light feather weight’ wabula nga si mumativu ne ssente ze baali bamuwa. Yagezaako omuzannyo gw’okuzimbya omubiri ogwamufunyisa emirimu gy’okukola nga kanyama mu bifo ebisanyukirwamu. Wabula bino nabyo teyabirwamu n’atandika okukuba ensambaggere omuzannyo ogumufudde ow’ekitalo. 

 

 

Ngenda kubakubira omuzungu ayogere Oluganda- Golola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...