TOP

Ndagire azannye firimu ya bamaama

By Musasi Wa

Added 30th December 2011

MUYIMBI, muzannyi wa Katemba, awandiika emizannyo ne firimu n’okuzitendeka. Azannye firimu nga Strength of a Stranger, Tendo Sisters, Down this Road I Walk, Hearts in Pieces n’endala nnyingi.

2011 12largeimg230 dec 2011 091705340 703x422

Bya Emmanuel Ssebanenya

MUYIMBI, muzannyi wa Katemba, awandiika emizannyo ne firimu n’okuzitendeka. Azannye firimu nga Strength of a Stranger, Tendo Sisters, Down this Road I Walk, Hearts in Pieces n’endala nnyingi. 

Kati aleese firimu empya gy’atuumye ‘Dear Mum’ ekitegeeza ‘Ow’omukwano Maama’. Firimu eno ekwata ku bizibu abayimbi ne Bannakatemba n’addala abakyala bye basanga nga bagoba ebitone byabwe bye baba beezuddemu okulaba nga bituukirira n’okubiganyulwamu.  

Mu firimu eno Ndagire alaga abantu nti omuntu bwe yeezuulamu ekitone:

Alwana okukikulaakulanya,  Ayitawo atya okutuuka ku ntikko,

Bw’atuuka ku ntikko akola atya okulemerayo abakutuusizzaayo ne batakuvaamu.

Ogumira otya ebivumo by’abawagizi, abasajja ababakwana, okulwanyisa endagaano ez’ekimpatira ze bakola oluusi ezibasuula mu matigga,  N’abantu okukomya okwegomba abayimbi olw’emmotoka ze bavuga, amayumba ge basulamu n’engoye ez’ebbeeyi ze bambala kubanga bangi batudde ku bbomu.

Era agamba nti abantu baalibadde tebasalira bayimbi bano musango nga waliwo ebisobye nga tebannaba kukola kunoonyereza. 

Ezannyiddwa Mariam Ndagire, Nanziri Rebecca, Rorah Kahunde, Zziwa Ddungu, Mufuumula (eyazannya firimu ya 180), Nalubiri azannya nga Muky. Dube, Faridah Nabagesera n’abalala bangi. Agitongoza mu January 2012 ku National Theatre.

Ndagire azannye firimu ya bamaama

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Condomismaelssempumatestimonywebuse 220x290

Enkozesa ya kondomu eneekutangira...

Okwesunga akaboozi ekisusse kiremesezza bangi okukozesa kondomu

Kab2 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba...

Kig1 220x290

Akatabo ka Ham kawangudde engule...

Akatabo ka Ham kawangudde engule ey'okubiri

Kabaleeweb 220x290

Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa...

Kabale Sharp eya Big League, ewangudde Water FC, n'esannyalaza emikisa gyayo okwesogga liigi ya babinywera

Hajjathanifakawooya 220x290

Kkooti y'e Sembabule terina kaabuyonjo...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Sembabule, Hanifa Kawooya, asabye gavumenti okuzimba ekizimbe kya kkooti y’e...