TOP

Abayimbi abayuuguumizza Uganda mu myaka 50

By Musasi Wa

Added 6th January 2012

NGA Bannayuganda beeteekerateekera okukuza ameefuga ga Uganda aga 50 nga October 9, 2012 eggwanga liyise mu buzibu n’essanyu lingi.

2012 1largeimg206 jan 2012 145615693 703x422

Bya Josephat Sseguya

NGA Bannayuganda beeteekerateekera okukuza ameefuga ga Uganda aga 50 nga October 9, 2012 eggwanga liyise mu buzibu n’essanyu lingi.

Essanyu erisinga livudde ku bayimbi abazze babeesabeesa abantu kyokka abamu bazze bafuna obuzibu ne gavumenti ez’enjawulo ne batuuka n’okuwang’angusibwa olw’ennyimba zaabwe ezaalowoozebwa okusekeeterera gavumenti n’endala ne ziwerebwa.

Wabula abayimbi b’ennaku zino nga Iryn Namubiru, Mesach Ssemakula, Bobi Wine , Chameleone n’abalala bafunyemu omudidi n’engule era abamu bagagga ddala. Bano be bamu ku bayimbi abayuuguumizza Uganda mu myaka 50 nga bakuba emiziki egikyanyumira abadigize n’okutuusa kati.

Hadija Namale

Ono amanyiddwa nnyo olw’ennyimba ze ebbiri omuli Zoozo ne Mukulike omwaka. Nga bw’olaba Philly Bongole Lutaaya eyayimba ennyimba za Ssekukkulu kumpi ne wabulawo omuyimbi omulala azimenyawo, ne Namale bwe yayimba oluyimba olukulisa Bannayuganda omwaka waabulawo alina olusinga olulwe. Yayatiikirira nnyo mu myaka gy’ensanvu.

Namale agamba nti oba oli awo yali si wa kubeera muyimbi naye kitaawe yamufumbiza ku myaka emito, 13 gyokka n’azaalayo omwana omu ne bimutama n’agenda mu bidongo kyokka yabifunamu erinnya n’okutambula amawanga.

Anyumya nti Amin bwe yawamba yabatwala ne bakubiranga ebidongo mu Jjajja Villa e Cape. Ennyimba za Namale endala mulimu Bbosa, Ekyama ky’okufa.

Jimmy Katumba

Yali mu kibiina kya Ebonies era yayatiikirira nnyo mu myaka gye 70. Bwe yava mu kibiina kino teyaddamu kufuna mirembe okutuuka okufa kwe. Y’omu ku bayimbi abaasooka okumanyika mu mawanga g’obuvanjuba n’amassekkati ga Afrika, Bulaaya ne Amerika olw’okudda mu nnyimba za Jim Reeves.

Ezimu ku nnyimba ezaamutunda kuliko ‘Twalina omukwano ne gufa’, ‘Munnyambe ntuukeyo’, ‘Abaana ba Uganda’, ‘Kinnawattaka’ n’endala.

Yazaalibwa Omugenzi Reverend Blasio Katumba ne Alice Nakyagaba abeera e Bweyogerere. Yava mu bbandi ya Eschatos Brides ey’ekkanisa n’akola Jimmy Katumba and the Ebonies.

Mu 1973 yasoma ebya yinsuwalensi era yakolako mu East African General Insurance Company (EAGEN) gye yafuna ssente ze yatandisa okukuba emiziki.

Mu 1976, omuyambi wa Amin, Bob Assaules yawa Katumba ddiiru y’okuyimbiranga Amin buli kadde lw’ayagadde okusanyuka. Mu 1977, Katumba ne Ebonies baayimba ‘Twalina omukwano ne gufa’ ne ‘Zizinga’. Mu 1983, yayimbira Julius Nyerere eyali Pulezidenti wa Tanzania oluyimba lwa Chama Cha Mapinduzi (CCM) ng’atendereza ekibiina ekyo.

Kino kyamuleetera obuzibu kubanga abaali mu Gavumenti ya Obote baali baamusaba dda ayimbe oluyimba lwa UPC n’agaana. Bwe yakomawo ebyuma bye baabikwatira ku kisaawe e Ntebe ne bamukunya.

Katumba yayabulira Ebonies n’agenda mu Amerika mu 1991 n’asisinkana mukyala wa Jim Reeves, Mary Reeves Davis eyamukkiriza okuddamu ennyimba za bba zonna era wano we yava okukola bbandi eyitibwa Jimmy Katumba with the Breves kyokka n’afa nga tennakwatayo.

Elly Wamala

Yazaalibwa Burusheke mu Mbale ewa Mw. Ignatius Mutambuze ne Gladys Nabutiti mu 1935. E Mbale kitaawe yagendayo lwakuba jjajjawe yali muserikale wa Semei Kakungulu eyali atwala ekitundu ekyo ku lw’Abangereza abafuzi b’amatwale.

Nga tannafa, Wamala yategeeza nti ekyamwagazisa okuyimba yali mugenzi Rev. Canon Polycarp Kakooza eyayimba oluyimba Omwami Omu n’ekitiibwa Kya Buganda. Yayimba Twalyako bye twalya, bodaboda, Emirina, Peninah, Taata wange tosunguwala n’endala nnyingi.

Philly Lutaaya

Yafa 1989 era ye yamenya likodi y’okwerangirira nga bw’alina akawuka akaleeta mukenenya ng’abantu balowooza nti okubeera ne mukenenya olina kuboolwa. Yayimba Born in Afrika ne Alone and frightened ezaamanyibwa ensi yonna ssaako eza Ssekukkulu ezitamenyebwangawo.

Eclas Kawalya

Ye taata w’omuyimbi Joanita Kawalya owa Afrigo Band. Yayimba mu myaka gya nkaaga kyokka oluyimba lwa ‘Empologoma tulya nayo’ lwe lwamuleetera obuzibu nga kigambibwa nti yali ayimba ku Obote mu myaka gy’enkaaga ng’asula ku nsiko.

 

 

Fred Masagazi

Ono ye yayimba Alulululu ne Atannawa musolo mu myaka gy’enkaaga ng’abantu tebaagala kuwa musolo. Kyokka kigambibwa nti naye yamala kuyoolwa olw’omusolo. Y’omu ku baaleetera amazina ga twist okubeera ag’amaanyi mu myaka gy’enkaaga n’ensanvu.
 
 

 

Abayimbi abayuuguumizza Uganda mu myaka 50

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...