TOP

Kitaka ye kabalagala wange - Stecia

By Musasi Wa

Added 6th January 2012

OMUYIMBI wa Eagles Production Stecia Mayanja era ng’aweereza pulogulaamu ya ‘Kulya Cash’ ku Bukedde Ttivvi ali mu keetereekerero ka kutongoza entambi ze essatu.

2012 1largeimg206 jan 2012 152755193 703x422

Bya Josephat Sseguya

OMUYIMBI wa Eagles Production Stecia Mayanja era ng’aweereza pulogulaamu ya ‘Kulya Cash’ ku Bukedde Ttivvi ali mu keetereekerero ka kutongoza entambi ze essatu.

Twamutuukiridde n’atunnyonnyola ku bulamu bwe n’alaga ani gw’ayimbako mu nnyimba ze essatu ezikutte akati omuli ‘Kantinti’, ‘Kabalagala’ ne ‘Equaliser’.

Guno gwe mulundi ogugenda okusooka nga Mayanja atongoza bukya atandika kuyimba mu 2002.
Nga January 20, 2012 waakubeera ku Club Obligatto ng’okuyingira 20,000/- ne 30,000/-. Enkeera waakubeera ku Afronica Bar e Kasangati ku 5,000/- ne 10,000/- ate nga January 22 agende ku Explorer ewa Zzana.

Wonna awerekeddwaako abayimbi ba Eagles Production bonna, Judith Babirye, Mariam Ndagire, Haruna Mubiru, Angella Kalule n’abalala bangi b’agamba nti bajja kuleka abalabi nga basanyufu.

Obulamu bwe
Stecia okufaananako abayimbi abalala, naye obulamu bwe bwetooloolera ku bidongo, baana be ababiri, bbandi ya Eagles.

Wabula mu by’omukwano, azze afuna obulippo okutuusa lwe yafuna bba gw’asuuta, Busuulwa Kitaka omusuubuzi w’emmotoka. Ono abasinga gwe boogerako nti Stecia gw’ayimbako mu ‘Kantinti’ ne ‘Kabalagala’. Ate bwe yayimbye ‘Equaliser’ abantu ne babitebya nga Stecia bw’ayimba ku muggya we (oba gy’ali?) mbu engeri gye yazaalidde Busuulwa, kati naye amukubye ggoolo ey’ekyenkanyi!

Oluyimba luno yalufulumizza oluvannyuma lw’okuzaala mu July wa 2011 era lukutteyo ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.

Equaliser

Stecia agamba nti oluyimba luno yaluggya mu bantu ku mikolo gy’azze ayimbira ng’abakazi bamusaba abakubire akayimba akasobola okulumya baggya baabwe.


Kitaka ne Stecia nga lwe beeyanjula mu bakadde.

Equaliser kitegeeza kukola kintu kya kyenkanyi nga mu mbeera eno kiyinza okutegeeza nti, ‘mukazi muggya bw’aba yazaala omwana ne munne yazadde, bwe baba baamwanjudde ne munne bamwanjudde, bwe baba baamukubye empeta ne munne bagimukubye...’

Kabalagala
“Luno naluyimbira baze Busuuwa”. Stecia agamba nti Busuulwa amulaze laavu n’awulira ng’emutuuse ku bwongo era bwe yajjukira kabalagala engeri gye yamuwoomerangamu nga muto, kwe kumuyita kabalagala.

Kantinti
Stecia yategeezezza nti aliko omusajja gwe yayimbako naye tasobola kumwogera. Yagasseeko nti alina ddiiru gye yakola n’omusajja ono. “Abaagala okumanya ddiiru eno, mujje mu bivvulu byange mujja kugitegeera...” bwe yagambye.

Laavu ya Stecia
Stecia okufuna Busuulwa yamala kwawukana ne Charles Ssekyewa. Yategeezezza nti abantu bangi balowooza nti akyayagalana ne Ssekyewa wabula n’agamba nti ebyo byaggwaawo dda era nti okumwagala yali ‘accident’.

Baasisinkana ne Ssekyewa mu Splash Band mu 2002 nga Mesach Ssemakula tannamutwala mu Eagles mu 2004.
Nti Ssekyewa yamwewulirirangako kubanga ye yalina ky’alinawo ate nga Stecia atandika butandisi era yafunayo n’omukazi omulala ye n’amusuulawo.

Awo we yava okwagalana ne Meddie Kanyike gwe yasooka okuzaalamu omwana kubanga bombi baali baavu nga buli omu alina obudde bwa munne.

Kyokka aba ateredde mu Eagles ate ne Ssekyewa ne bamuyita abeegatteko. Ssekyewa yaddamu okumutokota n’akkiriza kubanga ne Kanyike yali atandise okwekola obusolosolo.

Ayongerako nti laavu eno eyookubiri teyawangaala kubanga Ssekyewa yaddamu okwemoolera mu bintu naye kwe kusalawo amute n’amala emyaka ebiri nga talina musajja okutuusa lwe yafuna Busuulwa amunaazizzaako ennaku.
 
Asanga Kitaka
Lumu yali ku bbaala ye e Makindye, Kitaka eyali kasitoma we ow’olulango n’amusaba baagalane. Yamuteerawo obukwakkulizo era n’abutuukiriza era kati basanyfu.

Kitaka ye kabalagala wange - Stecia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....