TOP

Bano abavubuka abamansamansa ssente baziggya wa

By Musasi Wa

Added 9th March 2012

BAVUBUKA bato, ssente ze balina teziriiko agamba era bwe batuuka mu bifo ebisanyukirwamu ssente bazirya nga buuma bwa kasooli.

2012 3largeimg209 mar 2012 093837203 703x422

BAVUBUKA bato, ssente ze balina teziriiko agamba era bwe batuuka mu bifo ebisanyukirwamu ssente bazirya nga buuma
bwa kasooli.

Lino abadigize balyeyitira ‘Swaga’ kyokka engeri gye bayiwaayiwa ssente n’okweraga, ababalaba bagayita malala. Abavubuka bano bali wakati w’emyaka 25 ne 35 ng’era beeyongedde mu kibuga. Bavulumula ebyuma eby’ebbeeyi nga n’abasajja abamu abalina bizinensi ezikola omudidi mu kibuga tebasobola kuzivuga.

Abamu bagattako okuba n’amayumba ag’omulembe mwe basula, ebizimbe, ettaka n’ebintu ebirala. Yadde ssente zibayitaba, abasinga ku bano emirimu gye bakola tegimanyiddwa.

Abamu beeyita basuubuzi, bambega, abalala bankubakyeyo n’ebirala bingi. ‘Omugagga omuto’ Meddie Ssentongo y’omu ku babadde mu kiti kino kyokka okuva Omuzungu muninkini wa Bad Black lwe yamwabya n’amutwala mu kkooti, twategedde ssente ze gy’abadde aziggya.

MARTIN NDIJJO NE JOSEPHAT SSEGUYA bakuleetedde abamu ku bavubuka bano, wa gye baja ssente n’ebika by’emmotoka ze bavuga.

Ronald Ssemakula ne kapyata ye eriko R1.

RONALD SSEMAKULA (RUBELETO) Asula Bwebajja ku luguudo lw’e Ntebe gy’alina ne ofiisi eyookubiri. Y’omu ku bavubuka
abayiwaayiwa ssente ng’agulira abantu omwenge mu bifo ebisanyukirwamu era abavubuka ba bodaboda e Kajjansi n’e Bwebajja bamutegeera bulungi.

Agamba musuubuzi wa ttaka n’amayumba n’okugazimba era ye nnannyini kkampuni ya Robeleto Construction Concern. Alina mmotoka magulu kkumi eziwera, Ipsum ne Mark 11 ezikola sipesulo mu bifo eby’enjawulo, alina ffaamu ku Ntebe Road n’ebintu ebirala bingi. Mmotoka z’avuga mulimu Land Cruiser Model 2011, Mark 11 PX, Super custom, Noah, Ipsum n’endala.

Ray Kawalya n’ekimu ku byuma by’avulumula

RAY KAWALYA (KAWIE) Ono naye musajja wa kulya maswaga era tava mu bifo ebisanyukirwamu. Bw’abeera mu kifo ayagala nnyo okumanyibwa era waakiri abaako ky’akola ekimwawula ku balala.

Avuga ebyuma eby’ebbeeyi omuli Range Rover Sport, BMW okuli nnamba eziri mu mannya ge (KAWIE). Emirimu emituufu gy’akola ne ssente gy’aziggya tebimanyiddwa. Batugambye nti nkubakyeyo e South Africa nga yasomerako ku Kako SS.

Kennie Mayanja n’ekyuma ky’avuga

KENNIE MAYANJA (KENNIE GP) Yeeyita musuubuzi w’e South Africa kyokka naye emirimu emituufu gy’akola tegimanyiddwa.

Tamanyiddwa nnyo mu kibuga kubanga yaakatandika okulaga ssente kyokka abaasomerako mu Mulama SS bamutegeera. Ono naye azze ne ‘Swaga’ lirye.

Ebyuma avulumula ebiriko amannya ga KENNIE GP. Alina BMW 6 series 64SCI Model 2010 eyeebikkula gy’atera okutambuliramu ng’ebalirirwamu obukadde 300.

Bano abavubuka abamansamansa ssente baziggya wa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono