TOP

Mariam Ndagire ne Wannyana beefuulidde Ssegawa: Talina mukwano

By Musasi Wa

Added 6th July 2013

BAKYALA ba Munnakatemba John Ssegawa, Mariam Ndagire ne Ruth Wannyana akakasizza nga bwe baamuta nga buli omu ali ku lulwe.

2013 7largeimg206 jul 2013 111050477 703x422

 

 

 

 

 

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

BAKYALA ba Munnakatemba John Ssegawa, Mariam Ndagire ne Ruth Wannyana akakasizza nga bwe baamuta nga buli omu ali ku lulwe.

Ndagire ne Wanyana wiikendi ewedde beegudde mu bifuba ku siteegi mu kivvulu kya Haruna Mubiru ku Equatoria Parking ne balangirira nti, “Ebizibu byaffe eby’obuggya byaggwaawo era kati omukwano gutusaza mu kabu”.

Bwe yavudde ku siteegi, Wannyana yategeezezza Bukedde Online nti, “Omukwano gwange ne Ssegawa gwaggwaawo dda kati tukuza baana.

Ssegawa taata w’abaana mulungi nnyo, naye ebirala nedda.”

Ate ku bbaala ya Club Explorer ku Ssande, Wannyana eyabadde kalabaalaba w’ekivvulu kya Haruna, y’omu ku baasibye Mariam Ndagire engatto nga bw’agamba abantu abaabadde abakubira emizira nti, ‘yee, eby’obuggya byaggwaawo.’

Mariam Ndagire yategeezezza Bukedde Online gye buvuddeko nti, ebibye ne Ssegawa byaggwa dda n’agamba nti ali bwa nnamunigina era yakoma ku mwana waabwe omu gwe yamuzaalamu.

Ssegawa bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti, “Abakyala abo tubaleke bakuze abaana. Nayawukana nabo era ndi bw’omu. Abaana kikulu okusinga ffe eby’omukwano byaggwaawo.

Yagambye nti, ensonga ezaabaawukanya nnyingi era azze ayawukana n’omu ku omu nga
mu kiseera kino talina mukyala!

Wabula ensonga ennyingi ze yayogeddeko, Ssegawa yalemeddwa okwogerayo n’emu. Yagambye nti, ‘Haa.. ndeka munnange ebintu ebyo nnatamwa n’okubyogerako ndi ku bulamu bupya.’

Ndagire ne Wannyana baludde nga tebalima kambugu, Ndagire bwe yatuuka n’okukuba oluyimba lwa “Kiki ye onvuma, nvaako sivuganye naawe, ebigambo byange si bingi, omwana yasiima nze by’enkola…”, olugambibwa nti yali akoona Wannyana.

Mu luyimba lwe lumu mulimu akatundu akagamba nti; “Ssaaliyo nga bakukyawa…”

Ate olulala Sophie Gombya yali ayimba ‘Spare Tyre’ ku Bat Valley, Wannyana n’asituka nga mucamufu n’amufuuwa.

Ndagire ne Ssegawa baasisinkana mu kibiina kya Black Pearls ekyali eky’Omugave Ndugwa. Black Pearls yavaamu ekibiina kya Afri-Diamond, Ndagire n’abalala ne bagenda n’ekyo.

Ekyo nakyo kyasasika ne kivaamu Afri Talent ekyagenda ne Ndagire ne Ssegawa, ate Diamond Ensemble n’egenda n’abalala.

Mu kiseera ekyo omukwano gwa Ndagire ne Ssegawa gwali gutinta okukkakkana nga guvuddemu n’omwana.

Ndagire ne Ssegawa nga batuuka ku Theatre Labonita gye buvuddeko.

Ssegawa alina abaana babiri be yazaala mu Wannyana, era ekyabaawula Wannyana kumanya nti mukwano gwe nfaafe, Mariam ate yamukwata mu liiso.

Wabula abamanyi Ssegawa ne Wannyana bagamba nti laavu yaabwe ebaddemu okwekyawa
n’okudding’ana era tebajja kwewuunya nga bazzeemu.

Nti kirabika ekiruma Wannyana kwe kuba nti Ssegawa alabika tafaayo ku bufumbo bwa mpeta ate nga ye alaba obudde bumugendako.

Ayagala alage bba mu bantu era abeere ng’abakazi abalala abaddayo awaka okufumbira abaami baabwe ekintu Ssegawa ky’alabika obutatwala ng’ekikulu.

 

Ndagire ng'akutte Wannyana ku mukono mu kivulu kya Haruna ku Hotel.

Mariam Ndagire ne Wannyana beefuulidde Ssegawa: Talina mukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Samhouse7 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.