Bya Martin Ndijjo
KYADDAAKI omuyimbi Bebe Cool muyite Big Size ayawukanye ne Rehema Namakula abasinga gwe bamanyi nga Rema bw'alangiridde mu butongole nti amugobye mu bbandi ye eya Gagamel.
Okumala ebbanga wabaddewo oluvuuvuumo nti ababiri bano babadde tebakyakwatagana olw’ensonga ezitali zimu wadde nga bbo (Bebe ne Rema) bw'obabuuza bagamba nti bakolagana bulungi okutuusa mu kiro ekikeesezza leero (Lwamukaaga), Bebe cool bw'atadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Facebook obukakasa nga bw'amugobye mu kibiina kye.
Kigambibwa nti entabwe yavudde ku Rema okukyalako ku mukutu gwa ttiivi ogumu omuweereza waayo gye yamubuuliza ebibuuzo omwabadde n’ebyo ebikwatagana ne lonki gy'ateekateeka ssaako okufuna maneja we omuggya, bye yakakasizza nti bituufu ekintu ekitaasanyusizza Bebe Cool bulijjo abadde abiwuulira mu ng’ambo n'atabuka era n'awandiika obubaka obugoba Rema mu butongole ku peegi ye eya feesibuuku.
Bebe Cool awandiise bwati ku peegi ye ;
“I WUD LIKE TO OFFICIALLY ANOUNCE THE DEPARTURE OF REMA NNAMAKULA FROM GAGAMEL TODAY.THE REASONS R three...she got her self a manager out of the group....2 she n her manager and new friends fill she shud launch an album concert and so they sold it without my concent which I disaprove as the one who made her knowing the danger of that n havin had difrent planz...3 as usual there wil alwez be thoz who say they know better than the makers and so a day will alwez come when a child must get on its feet tho it dont mean the baby can run.REMA I WISH U LUCK AND I PRAY ALLAH GUIDES U THRU TO YOUR”
Mu bubaka buno bwe yawandiise mu Lungereza Bebe Cool yawadde ensonga ssatu lwaki agobye Rema okuli okuba nti yafunye maneja omupya atali wa Gagamel ekimenya amateeka g’ekibiina, ye ne maneja we omuggya okubeera nga bali mu nteekateeka z'okukola lonki era nti ekivvulu kino baliko omugagga gwe baakiguzizza kyokka nga Bebe Cool amulinako obuvunanyizibwa (Rema) takimanyiiko ate eky’okusatu amugobye ng'amulanga kwewaggula n'akwatagana n’ekibinja ky’abantu abalala.
Rema ekya Bebe Cool okumugoba kirabika tekimutiisizza, agambye akuze era asobola okwetengerera kubanga n’emiziki gy’akuba gya mulembe eginyumira abadigize wano Bebe Cool wasinzidde okumuddamu nti amwagaliza mukisa mu bulamu bwe obw’omumaaso.
Maneja omuggya Rema gwe yafunye ye Ssaalongo Kayemba era ono ye maneja w'omuyimbi Chris Evans.
Bebe Cool ayambye nnyo Rema okumanyika bw'amutunze mu bantu era nga kati naye afuuuse muganzi bwe yamuwa omukisa okuyimba naye ng'avudde ewa Halima Namakula gwe yasooka okuyimba naye.
Bagenze okwawukana nga baliko ennyimba eziweerako ze bakoze bambi okuli; Missing You, Ceaze And Sekkle n’endala ate Rema naye alina enyimba ezookya z'akoze obw’omu okuli; oliwange, Fire to night, ku kaliba n’endala ezongedde okumutunda n’okumufuula ow'amanyi mu nsiike y’okuyimba nga kati avuganya n’abayimbi abakyala ab'amannya okuli Juliana Kanyomozi ne Iryn Namubiru era ennaku zino ayimba mu bivvulu ne ku mikolo omuli embanga n'ayoola omudidi.
Bebe Cool agobye omuyimbi Rema Namakula mu kibiina kya Gagamel