TOP

Stecia yali wa bisiraani - Kitaka

By Musasi Wa

Added 10th September 2013

EYALI bba w''omuyimbi Stecia Mayanja owa Eagles Production Fred Kitaka awaava Stecia Mayanja ayingizzaawo embooko y''omuwala eyamyuka ng''ettungulu etambula esagala Kitaka n''abuukula nti emuwonyezza ennaku ya nnamba lujega Stecia!

2013 9largeimg210 sep 2013 160417000 703x422Bya Bonitah Kibalama

EYALI bba w'omuyimbi Stecia Mayanja owa Eagles Production Fred Kitaka awaava Stecia Mayanja ayingizzaawo embooko y'omuwala eyamyuka ng'ettungulu etambula esagala Kitaka n'abuukula nti emuwonyezza ennaku ya nnamba lujega Stecia!

"Nnyingizzaawo embooko. Ono amponyezza ennaku ya Stecia eyalema okumanya omukwano.Kati ndiisa buti ngenda n'akufuna ku mubiri ndye ne ssente zange bulungi Stecia yali azindiisa bubi" Bwatyo Kitaka bwe yagambye.

Kitaka gwe twagwikirizza mu bbaala ya Ambiance e Masaka ku Lwokutaano oluwedde, yagambye nti yabadde ali ku kasiki kubanga enkeera ku Lwomukaga yabadde agenda kukyala mu bazadde ba mwana muwala gwe yayogeddeko erya Rehemah.

Kitaka yategeezezza owoolugambo waffe nti teyejjusa kwawukana na Stecia kubanga ensonga z'omukwano zaamugwa kkono wabula olw'okuba yamuzaalamu omwana tagenda kumuggyako nnyumba gye yamuwa nga baawukana.

 Kitaka ng'anywegera kabiite we omuggya, Rehemah mu kiraabu Ambiance e Masaka ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde. Rehemah yagaanye okulaga feesi bakira abulidde mu muninkini we nga yeebalema kkamera za Bukedde. Ebifaananyi bya  BONITAH KIBALAMA

Yategeezezza nti aluddewo okuzzaawo omukazi omulala oluvannyuma lw'okwawukana ne Stecia lwakuba abadde akyetegereza asobole okufuna anaamuyamba okukuuma obugagga bwe n'okulaba nga bizinesi ze zitambula kinnawadda.

Bwe yabuuziddwa ku nsonga y'okwenda ku mulamu we nga Stecia bw'ayimba mu luyimba lwe olwa "tosala gwa kawala" teyakikkiriza wadde okukyegaana.

"Obuzibu bwava ku Stecia eyandeka e Uganda n'agenda e South Africa ne Meddie Bwete ne basindiraayo omukwano ekintu ekyannyiiza olwo nze nandikozeeki?´ Kitaka bwe yagasseeko.

Ate ye Rehemah yategezezza nti omukwano gwalina ne Kitaka tewali muntu yenna ayinza kugwekiikamu kubanga yagenze okusalawo okutwala Kitaka mu bazadde be ng'amazeeko era nga amwetegerezza okumala ebbanga.

......................................................................................................................................................

Ebirala ku Stecia ne Kitaka..............

.....................................................................................................................................................

 

 

Stecia Mayanja wa bisiraani - Kitaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...