TOP

Leila Kayondo yanoga sukaali: SK Mbuga amuggye mu Ghetto n’amuzimbira kalina

By Musasi Wa

Added 22nd March 2014

BWE kubeera kunaaba lweza nga lwe luleeta emikisa, ekyogero kya Leila Kayondo kyanoga.

2014 3largeimg222 mar 2014 164329970 703x422



 

Bya Martin Ndijjo

BWE kubeera kunaaba lweza nga lwe luleeta emikisa, ekyogero kya Leila Kayondo kyanoga.

Ate bw’eba laavu nga y’erinnye omugagga SK Mbuga okutuuka okuwa Leila ennyumba amakula, olwo eno gye bayita ‘laavu supa’, Sophie Nantongo gy’ayimbako!

Okumanya nka, esonsomodde SK Mbuga amanyiddwa okutambulira mu luseregende lwa Hummer n’amuyiwamu omusimbi ogutakomye ku kuyitimusa kitone kye eky’okuyimba wabula n’obulamu bwe obwabulijjo.

Mwanamuwala ono atuuse n’okwerabiza Mbuga bakyala be abalala. Ennaku zino Leila w’abeera, ne Mbuga.

Mu kusooka, laavu yaabwe yali ya kyama ng’era Mbuga yeeyita pulomoota wa nnyimba za Leila.

Wabula ku nkomerero y’omwaka oguwedde, ababiri bano baatandika okweraga mu lwatu ng’era olumu Leila avulumula Hummer za Mbuga.

Abantu baali bakyali ku bya Hummer za Mbuga Leila mwe yeevugira, ate n’amuwa emmotoka ey’ekika kya BMW embikkule yadde ggaali ekozeeko.

Enju Leila gye baamuwadde. Esangibwa Kkonge mu ggombolola y’e Makindye.

Ebyo bibadde bikyali bityo, ate omugagga n’amuyiwamu ggoloofa etemya ng’omuntu gattako okumukolera edduuka lya L-Kay Kollections eritunda ebyambalo. Lisangibwa Kabalagala.

Enju Leila gye baamuwadde okusulamu bw’ogituukako ogiyita wooteeri olw’obunene bwayo. Esangibwa Upper Kkonge.

Ono nno ye Leila eyasulanga mu Ghetto y’e Kyebando Kisalosalo. Kati asula mu bagagga e Muyenga nga bw’alindirira enju eggwe bulungi munda.

Leila we yasulira e Kyebando ng’akyayimba mu Dream Galz nga n’omusaala afuna gwa mitwalo ebiri.

MBUGA AYOGEDDE

Wadde bangi balowooza omukwano gwabwe gwakatandika, Mbuga agamba enkolagana ye ne Leila yava dda nga bato (abamu kye bagamba nga bazannya ebya taata ne maama) e Masaka gye bazaalwa.

Mbuga bwe yagenda emitala w’amayanja ate Leila ng’azze mu Kampala okusoma, ensi n’ebaawula.
Leila y’omu ku bakyala ba Mbuga. Ababiri bali South Afrika.

Leila olumu bamuvugira mu luseregende lwa Hummer ng’agenda okucakala.

“Ku bakyala be nnina songerako mulala kubanga mbaagala nnyo”. Mbuga Musiraamu.

Yawaanye Leila nti, “mumulaba ng’omuwala omuto n’abamu balaba kucakala naye mukyala mugezi nnyo ayagala enkulaakulana”.

Bwe yabuuziddwa oba laavu ya Leila teemwerabize bakyala balala, yazzeemu nti, “nkolagana bulungi ne bakyala bange bonna era mbaagala kyenkanyi.

LEILA KAYONDO Y’ANI?

  • Muyimbi era y’omu kw’abo mu kiseera kino abeeyongedde amaanyi naddala mu bifo ebicakalirwamu.
  • Alina diguli ya ‘Social Sciences’ okuva mu Yunivasite ya UCU e Mukono ne dipuloma mu byatekinologiya (IT) okuva mu Yunivasite e Makerere. Siniya yagisomera Naalya SS ne Greenville High School e Mukono.
  • Muwala w’Omw. Yahaya Kayondo n’omuky. Faridah Wakabi ab’e Kyabakuza mu Masaka. Eno gye yasisinkana Mbuga nga bato.
  • Okuyimba kitone. Mu 2007 lwe yasalawo okuvuganya mu mpaka za Super Girl mwe yayolesezza ekitone ekyamuwanguza ekifo mu kibiina kya Dream Galz ekyali kikulirwa Eddy Yawe.
  • Mu 2009 yava mu Dream Galz n’afuna kkampuni ya Universal Entertainment okumuteekamu ssente. Bano be baali bannannyini kibiina kya Chill Galz.
  • Ezimu ku nnyimba za Leila ezikutteyo mulimu ‘Amazing’, ‘Awo’ ne ‘Morning Breakfast’.
  • Leila y’omu ku bawala Bannakampala abasula nga batiguka mu bifo ebisanyukirwamu ate eby’ebbeeyi.

Kano ke kabuga k’e Kyebando Kisalosalo, Leila gye yasulanga ng’akyayimba ebya Kareoke.

BY’AYOGERA KU LAAVU YE NE MBUGA

Leila agamba nti ayagala nnyo okukuuma ebikwata ku mukwano gwe ne Mbuga nga bya kyama. “Wabula nsiima nnyo Mbuga by’ankolera”.

BANNE TEBAKYAGOBA

Bw’omugeraageranya ne banne bwe baali mu Dream Galz, Leila ali wala. Renah Nalumansi wadde ekitone akirina, nkubakyeyo gwe yali afunye ng’amuteekamu kaasi ‘yayabika’. Ate Anitah Katushabe naye tali bulungi.

Leila (ku ddyo) ng’azinira ku luyimba lwa Hilderman (ku kkono).

Leila Kayondo yanoga sukaali: SK Mbuga amuggye Ghetto n’amuzimbira kalina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai