TOP

Gravity Omutujju yava buto nga yeeyiiya

By Musasi Wa

Added 1st November 2014

GRAVITY omuki? Omutujju..! Wabula ayanguwa okugattako nti, “Nze siri mutezi wa bbomu wabula nnalyetuuma kubanga ndi mutujju wa miziki”.

2014 11largeimg201 nov 2014 095903540 703x422

Bya JOSEPHAT SSEGUYA


GRAVITY omuki? Omutujju..! Wabula ayanguwa okugattako nti, “Nze siri mutezi wa bbomu wabula nnalyetuuma kubanga ndi mutujju wa miziki”.

Amannya ge amatuufu ye Gereson Wabuyu 21. Kitaawe ye Micheal Gesa ne Jane Kajoina ababeera e Nakulabye mu Kiwuunya.

OKUTUUKA GYE BAZAALA  GRAVITY

Okugendayo okulaba bazadde be, twabuuse emyala esatu nga buli we tuyita bamumanyi bweso. “Eno ndi kabaka kubanga bangi nkuze bandaba, be bansomesezza.

Muno mwe nneekwekanga nga tubba ffene ku miti.”

N’essomero lya Musa Zzimbe gye yasomera nasale ne pulayimale erya Nakulabye Junior School liri mu ghetto.

Nnyina twamusanze ku lubalaza lw’ennyumba nga yeekuuta ebigere n’ekiyinja n’atwaniriza. Yatuggyiddeyo obufaananyi bwa mutabani we nga muto n’annyonnyola bwe yali omuzibu, omukujjukujju era omuyiiya.

            Yali talootangako nti alivuga ku mmotoka. Kati avulumula Toyota Harrier Lexus.

Wano we nnajjukiridde nti Gravity bw’aba ayimba oluyimba lwa Walumbe zzaaya lwe yadda mu lwa Paul Kafeero, yeeyogerako ng’omukujjukujju!

Nnyina yategeezezza nti obukujjukujju bwa Gravity bwasinga kumwewuunyisa lwe yagwa ng’asamba omupiira ne bamusiba ‘pulaasita’ e Mulago kyokka n’abiggyako mu nnaku bbiri.

Abasomesa baamwekangira ku ssomero. Olwo yali asomera ku Old Kampala SS. Baamugoba ku ssomero lwa ‘kusiba bbaalansi’

               Gravity Omutujju ne nnyina Jane Kajoina. 

GRAVITY YALI MUSAMBI  WA MUPIIRA

Gravity yali acanga nnyo akapiira era baamuwa sikaala. Era olw’okwagala ennyo omupiira, kwe kulimba nti awonye (luli lwe baamumenya).

                      GRAVITY MUZADDE

                     Yiino embooko ya Gravity Omutujju. Ye Shaluwa Nakanyike.

Alina omwana gwe yatuuma Queen Jane Mutoni ow’emyaka ebiri. Abeera ne jjajja we era obwedda azannyamu ne kitaawe. Mutoni yamuzaala mu muwala gwe yasooka okwagala ne baawukana. Kati alina omukyala, Shaluwa Nakanyike, babeera Munyonyo.

AKYUSA EMIZIKI

Gravity ayogerwako ng’eyakyusa muziki ekika kya Hiphop w’Ekimerika n’amuzza mu Hiphop Luga flo ow’Oluganda eyeefaananyiriza kadongokamu abantu kwe bazinira.

Okuyimba yakutandikira ku Old Kampala SS mu 2007 mu S1 n’amalirayo S4.


Okutuuka ku nju za bakadde ba Gravity mu Kiwuunya, obuuka mwala. 

Ku Old Kampala, yalina mukwano gwe Ronald Mwebaza(naye kati muyimbi eyeeyita Rough X) eyamutuusa ku mukulu we Peterson Zziwa owa Redemption Studio e Kasubi.

Ono ye yakwata ennyimba za Gravity ezaasooka omuli ‘Tsunami’ mu 2011, ‘Joanita’ ne ‘Walumbe zzaaya’ mu December wa 2011.
Zziwa ye yakola eng’oma za Walumbe zzaaya ate ‘puloduusa’ Rinex n’akwata amaloboozi.

Afuna puloduusa omulala
Yagenda ew’omukwasi w’ennyimba omulala, Didi eyakola oluyimba lwa Eddie Kenzo olwa Sitamina n’eza Coco Finger omuli Mikono waggulu ne My Miss n’amukolera Billionaire, Nakyejwe lwe yayimba ne Willy Mukaabya.

          Gravity mu ddiiro lye nga ku ttivvi kuliko ‘Oluyimba lwo’ ku Bukedde Ttivvi.

Kenzo amuyingiza Big Talent

Mu 2012, Eddie Kenzo yamukuyega n’amuyingiza ekibiina kye ekya Big Talent mwe yakolera ne konsati za ‘Walumbe zzaaya’ ku bbaala ya PTC ku lw’e Salaama era ssente zonna yazizza mu kukola nnyimba ndala.

Gravity ye yayimba Winner, Nyenya, Mwoto, Boda, Eky’ebbeeyi, Olimba lwe yakoze ne Catherine Kusaasira, Teri ddogo, Manya ennaku yo n’endala.

Kusaasira akyamutenda lwe yamukuba ekigwo ku siteegi e Namboole ye ky’agamba nti tamanyi oba yamusukkako obuzito oba kaali kabadi ka Gravity Omutujju. Nti naye ekigwo yakiwuliramu.

ATEGESE EKIVVULU

Nga November 14, 2014 agenda kutongoza Teri ddogo ku Freedom City. Okuyingira osasula 10,000/-. 

Gravity Omutujju yava buto nga yeeyiiya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja