TOP

Chameleon aleebuuka nagwakumenya nnyumba z''abantu

By Musasi Wa

Added 7th February 2015

GUNO omwaka nagwo Jose Chameleone agutandise na kuleppuka lwa ttaka.

2015 2largeimg207 feb 2015 101117170 703x422

Bya Basasi ba Bukedde


GUNO omwaka nagwo Jose Chameleone agutandise na kuleppuka lwa ttaka.

Famire bbiri zivuddeyo ne zirumiriza omuyimbi Jose Chameleone okuzimenyera enju oluvannyuma lw’okugula ettaka okuli ebibanja byabwe ng’asuubizza okubaliyirira kyokka n’atakituukiriza.

David Kayuki ne muliraanwa we Madelena Nagawa abatuuze b’e Buwaya mu ggombolola y’e Kassanje be baalaajanidde Chameleone atuukirize bye yabasuubiza omuli buli omu okumuzimbira enju n’okubawa ssente enkalu oluvannyuma lw’okubamenyera ezaabwe bwe yagula ettaka mu kitundu kino ng’ayagala okuzimbako bbiici gye yali atuumye ‘Coco Beach’. Bbiici eno Chameleone yagitunze gye buvuddeko.

Wabula Chameleone ebyogerwa abatuuze abiwakanyiza ng’agamba bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo n’okwagala okwonoona erinnya lye era abawadde amagezi okunoonya Charles Musaazi eyali nnannyini ttaka nti ye yalina okukola ku nsonga zaabwe nga ab’ebibanja. Kwe kubawa amagezi nti bwe baba si bamativu, ensonga bazitwale ku poliisi mu kifo ky’okumusiiga enziro.

Kayuki eyasangiddwa ku kyalo Lulongo yategeezezza Bukedde nti mu 2010, Chameleone ng’amaze okugula ettaka, Musaazi eyamuguza yamutuukirira (Kayuki) ng’ow’ekibanja n’amukakasa bw’atunze era mu ntegeeragana eyatuukibwako, Musaazi okufunira ab’ebibanja ettaka awalala (yabafunira Lulongo) ate Chameleome abazimbiremu enju kubanga mwe baali basula zaali zimenyeddwa ettaka kuzimbibweko bbiici.

“Musaazi ng’amaze okumpa ettaka e Lulongo, Chameleone yansuubiza okunzimbira enju, ekiyungu ne kaabuyonjo. Eky’ennyamiza, ezaali ennaku kati myaka etaano enju gye yanzimbira yakoma ku ‘wall-plate’.”

Yagasseeko nti, “ekyantabudde kati Chameleone simanyi wa kumusanga kumubanja kubanga ne bbiici yagitunze.”
Ate ye Naggawa agamba nti yasooka kugaana kumumenya nju ye. Oluvannyuma omusajja eyeeyita mukwano gwa Chameleone yamutuukirira n’amutegeeza nga Chameleone bwe yali amutumye akkirize enju ye emenyebwe bamuzimbire awalala bamugattireko n’obukadde 7.5.

“Omusajja ono namugamba antwale ewa Chameleone njogere naye butereevu, yanziramu kimu nti tojja kusobola kumulaba kubanga abeera ‘bbize’ (taba na budde) era nti bwe ng’aana okukkiriza kye baali bang’ambye nnyinza okuviiramu awo”.

Kayuki ne Nagawa Chameleon beyamenyera ennyumba zaabwe 

AB’E BUWAYA BAZIBU - CHAMELEONE

Bwe twatuukiridde Chameleone yagambye nti ebimwogerwako byonna bikonjere ebiraga abantu abajjudde effitina, obutaagaliza n’enkwe era bye byamugoba e Buwaya.

“Nkolaganye n’abantu naye sirabanga bantu bazibu nga ab’e Buwaya. Nnagula yiika musanvu (7), okutuukayo nga ziri ttaano(5). Buli lwe nnasimbanga emiti ng’enkeera nsanga bagikuddeyo.

Genereeta ne ggeeti byonna baabibba. Kati laaba n’abo be nnakwatirwa ekisa naddala Kayuki ne nsalawo mbayambe ate bazze mu kunnyonoona. Bwali buvunaanyizibwa bwa Musaazi (eyali nnannyini ttaaka) okubazimbira ate kati bali ku nze.” Chameleone bwe yategeezezza ku ssimu ku Lwokusatu.

Richard Ssempanise, eyafunira Chameleone ettaka lino yagambye, “ensonga za Kayuki ne Naggawa zaakolwako ne ziggwa. Kayuki twali twagala kumuserekera nju kyokka n’asaba ssente akyekolero era nnamuwa obukadde busatu ze yasaba ne Naggawa ebibye byaggwa.

 

Chameleon aleebuuka nagwakumenya nnyumba z''abantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”