TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri Abasama gye bakozesaamu emmotoka ez'ebbeeyi okufera abantu

Engeri Abasama gye bakozesaamu emmotoka ez'ebbeeyi okufera abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2016

Ennaku enkulu buli lwe zituuka emmotoka z'abasama zifuuka ebimuli mu pakingi ya Serena Hotel

Samm2 703x422

Cameroon Gitawo ng’ayimiridde kumpi n’emu ku mmotoka z’abadde avuga. Ono yafeze SK Mbuga obukadde 77.

MMOTOKA ez’ebbeeyi zi­fuuka bimuli mu Kampala mu biseera bya Ssekukkulu. Zino ziba zireeteddwa ne ziyiibwa mu kibuga Bannayuganda abakolera ebweru abaakazib­w

Ezisinze okukwata abantu omubabiro z’ezo eziriko amannya gaabwe era abasin­ga okuzireeta bakolera South Afrika. Abamu ku bawala olubalaba ne bagwa amatu ne babeeyunira nga balowooza baloodi, bakubaganya abantu naddala abo be basanga mu bifo ebisanyukirwamu, engeri gye baddugazaamu emmeeza mu bifo ebisanyukirwamu n’ebirala kyokka bangi bad­duse ne baddayo ng’ebifo gye babadde baliira obulamu ba­leseeyo amabanja n’okufera be baaguzizza emmotoka zino.

 ukedde ekoze oku­noonyereza n’ekizuula nti wadde waliwo abatono­tono abeesobola era nga bakola emirimu ne bizinensi ezibaweera ddala ssente ate abalala bali mu kweyiiya era wano bajja bali ku bajeti nga ssente zino baziterekedde ebbanga.

MMOTOKA BAZITUNZE

Newankubadde abasinga tubalaba ‘bazijoogeramu’ ng’enjogera y’ennaku zino bweri, baba baazitunda dda wadde kubaako nnamba puleeti eziri mu mannya gaabwe. Ate abalala bazeey­azika oba okuzipangisa nga buli wiiki basasula era bwe batuuka okuddayo bagenda nazo.

Waliwo abazireeta nga kituufu ddala zaabwe kyo­kka batuuka okuddayo nga baweddemu ne basalawo okuzitunda okusasula ama­banja n’okufuna ssente ezi­bazzaayo. Abamu baagifuula bizinensi okusuubula mmo­toka ne bazitunda. Okugeza Cameroon Gitawo ne Edward Cheune baleeta eziwera ne baliiramu obulamu kyokka bwe baba baddayo ne bazi­kuba ebbeeyi.

Olw’okuba Abasama abas­inga basula ku wooteeri ya Serena, yafuuka kibanda kya mmotoka zino kubanga ziba nnyingi mu paakingi okumala kumpi omwezi gwa Decem­ber. Wabula essaawa eno paakingi erimu mmotoka za bulijjo ng’abasinga bazzeeyo.

 

BAZIREETA BATYA?

Ezimu bavuga nvuge okuva e South Afrika okutuuka kuno nga kibatwalira ennaku 4 n’omukaaga okusinziira w’oyise. Endala bazireetera ku maato ne ziggukira e Mombasa, Dar- Es- Salaam, Bagamoyo n’awala wadde waliwo ze batikka ku nnyonyi.

Abamu mmotoka bazitikka mangu ne zituuka ne zirinda bannannyini zo. Okugeza eza Katsha D’bank z’atuuka mu September wa 2015. Yaleeta bbiri okuli Lam­boghin ne Hummer. Eby’embi teyasobola kuzijoogeramu olw’okukwatibwa n’asibwa e South Afrika ku misango gy’obufere.

Asan Kasingye aku­lira poliisi ye nsi yonna mu Uganda, agamba nti alowooza kyandiba nga waliwo banne ba Katsha eb’e South Afrika b’avuganya nabo abaamu­waayiriza ku nsonga ezitan­namanyika ne bamukwata.

Newankubadde waliwo abazigula mu butuufu, ensonda zigamba nti ezimu ziba nzibe era waliwo poliisi zezze ekwatira wano. Poliisi yategeeza nga bwe waliwo ekibinja ky’ababbi ababba mmotoka zino ne bazitunda mu mawanga ga Afrika ku bbeeyi entono.

 EBYAFAAYO BY’OKULEETA EMMOTOKA EZO

Zari Hussein eyali mukazi wa Ivan Ssemwanga y’omu ku baasooka okuleeta mmo­toka ez’ebbeeyi mu ggwanga n’addirirwa Ivan Ssemwanga, Sk Mbuga, Ken Muyiisa n’abalala.

Bino we bijjidde ng’omugagga SK Mbuga atabuse ne munywanyi we Cameron Gitawo owa TMT ng’etabwe eva ku Cameron kuguza Mbuga mmotoka ye mw’abadde aliira ‘esswaga’ mu nnaku enkulu kyokka n’atagimuwa ate n’agiguza omugagga omulala.

Abasama abalala bangi bazzeeyo e South Afrika nga batunze mmotoka ze babadde bavuga

 Ssente z’osasula okutambuza mmotoka

 Ruth Nakitende ng’akolera, Cape Town, South Africa omu ku bazze okulya ennaku enkulu, agamba nti okuvuga mmotoka okuva e South Africa okugireeta kuno kya layisi era ekikwetagisa kuba na mpapula zaayo entuufu eziraga

obwan­nannyini ssaako eza mmotoka kw’etambulira. Wano kikwetaagisa kusasula ssente za sitampu gye ba­koonamu ku buli nsalo ng’oyingira eggwanga eddala ng’omuwendo bagugereka okusinziira ku bbeeyi y’emmotoka.

Mmotoka ze bapan­gisa okuleeta kuno okuliiramu ess­waga, Nakitende agamba buli wiiki osasula ssente ze South Afrika 1800 eza Uganda 384,949/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....