TOP
  • Home
  • Sanyuka ne wikendi
  • Akakuku mu bayimbi ba Kadongokamu keeyongedde: Ssegawa alayira butaddamu kuyimba ne Walukagga

Akakuku mu bayimbi ba Kadongokamu keeyongedde: Ssegawa alayira butaddamu kuyimba ne Walukagga

By Edward Sserinnya

Added 9th January 2016

Bombi baasomoka Lwera era omu bwe yayimba ‘Ekyatusomosa Lwera’ n’ayagaliza munne okulwongerako nga balinga abatalina mpalana emaze emyaka musanvu bwe ddu!

Yimba1 703x422

Ssegawa ne Walukagga

Abayimbi ba Kadongokamu Sir. Mathias Walukagga ne Vincent Ssegawa bongedde okwanika obuziina bwabwe buli omu n’awera obutaddamu kulinnya ku siteegi emu nga bayimba wadde okutimbibwa ku kipande ekimu.

-------------------------------------------------------------------

Bombi baasomoka Lwera era omu bwe yayimba ‘Ekyatusomosa Lwera’ n’ayagaliza munne okulwongerako nga balinga abatalina mpalana emaze emyaka musanvu bwe ddu! 

Bukedde akuleetedde olutalo lwabwe gye luva;

Walukagga yantega maneja

Ssegawa agamba: Nze ndi mwana muto ku Walukagga era muwa ekitiibwa olw’obumanyirivu bw’alina mu kuyimba bwe sinatuukako. Olutalo lutandika nga nkubye akayimba ka ‘Balemeddwa okwekolera’. Ng’abantu batandise okummanya, nakola ekibiina kya Friends Production, era nga bajja ne batulaba. Nali awo nga Tadeo Kalule ajja ansaba omulimu gw’obwamaneja era ne tutandika okukola ffembi nga mweyabiza mu buli kimu kumbe nga yali mbega.

Nga nkoze naye emyaka esatu, akawunti y’ekibiina teyaliiko wadde ennusu ate nga yeewola ensimbi ez’okukulaakulanya ekibiina obukadde 46.

Mu 2013 amabanja geeyongera ne gadda ku bukadde 120 era wano we namugobera. Bw’ava eno yadda wa Walukagga ne bamuwa omulimu, era waliwo n’ebivvulu bye nayimbirako

Walukagga nga Kalule eyaakava ewange y’abisolooza era yanfuulira obugere nga bw’amaze okundeka mu mabanja basuule ekibiina naye nga gwonna gwali mupango!

Walukagga mu kwanukula yagambye: “Nsobola ntya okutega omuntu amabanja, amabanja ge yalya ye yageeteerako emikono ate olwo nze mba nagamutega? Amabanja ogayita ssente za ku ssimu nti ogaweereza omuntu?’’ Bayise olukiiko ku Ssande okwogera ku bino naye nga mu Kadongokamu temubadde ntalo ezo ebyo Ssegawa y’ayagala okubitandika.

SSEGAWA KU BIVVULU

Okumanya Walukagga musajja muzibu, twakkaanya mu ngeri y’okwekulaakulanya ng’abayimbi tutandike okutegeka ebivvulu nga buli omu ayimbirako munne ku bwereere okuggyako okukuwaayo ez’amafuta.

Yalina okumpa amafuta ga 150,000/- buli lw’ennyimbye mu kivvulu kye ate nze nga muwa ga 200,000/-. Namuyimbira ebivvulu ebisoba mu 8 ku lw’e Masaka bye twatuuma ‘Ekyatusomosa Lwera’ wabula n’olumu ng’amafuta sigafuna naye ebyange bwe byatuuka yagaana okuyimba.

Ku ky’ebivvulu, Walukagga agamba nti “Situulangako naye ne tubaako kye twogera kyonna, ate ku ky’okunnyimbirako ayagala nnyo okukola nange naye namuteekako akakwakkulizo bw’aba ayagala tukole ajje mu Vision Heroes si bya kuyimbirako gundi nga tuyising’anya mu makubo.’’

Oluyimba lwa Lwera

Twasooka kutambuza kivvulu kya ‘Ekyatusomosa Lwera’ nga n’oluyimba terunnaba kuyiiyizibwa era wano we tufunira ekirowoozo ekikola oluyimba luno ffembi ‘Kkolabo’.

Mu mbeera eno twakkaanya Walukagga agende ayiiye ekitundu kye akimpe nange ngatteko ekyange nga twewala okuyiiya ebigambo ebifaanagana. Nze mba ndi mu kulinda kitundu kya Walukagga, ng’enda okuddamu okumanya ku luyimba nga lugenda kufuluma nga sirina kye mmanyi, nga n’awali kati ekigambo ‘Vincent Ssegawa by’endeseeyo yongerako….’ Yali ataddewo nti ‘DJ Kikoofiira by’endeseewo yongerako…’ era okubikyusa lwali lukiiko olwalimu Mesarch Ssemakula, Harunah Mubiru, Kazibwe Kapo n’abalala ne bamuwaliriza okukikyusa nga luwedde n’akikola naye nga si mu mutima mulungi.

Walukagga mu kwanukula agamba nti kituufu nali ntaddewo DJ Kikoofiira kubanga oluyimba lwali lwange, era okukyusa okussaawo Ssegawa twatuula ku Calendar n’aneegayirira nti alina amabanja muyambe ayiyizeeko oluyimba asasule ku mabanja. Ekyatusomosa Lwera nali nakiyimbako dda mu luyimba lwange olwa ‘Tuyita N’agazibu’ oyo nga tanatandika na kuyimba.

Okutongoza Ekyatusomosa Lwera

Kituufu Walukagga yananga naye ate yali tantegeezezza mu butongole nti nja kuyimba ku kivvulu kye, era okubingamba yansanga mu kkubo.

Walukagga yagambye nti ‘Kituufu namuyita annyimbireko n’atajja! Sirowooza nti namunyooma okumuyita kubanga era bannaffe bwe baba ne lonki batugamba nti ‘Ononyimbirako nkulange’, n’omuddamu nnanga oba nedda. Tewaba ebyo bya kuwandiika bbaluwa.

Ennyimba ku leediyo

Ssegawa alumiriza Walukagga nti bw’afulumya oluyimba n’aluteeka ku leediyo ng’alulwanyisa. Wabula Walukagga yagambye nti talina buyinza buzigaana ku leediyo.

Okutwala abakozi

Ssegawa agamba nti buli mukozi gw’alaba nga y’atambulirako ekibiina afuba okumutwala.

Agamba nti yasookera ku polomoota we, Kiviiri nga waliwo ne Annet Kaweesi eyayimba ‘Mpa Love 90’ naye gwe yatwala. Wabula Walukagga yamulumbye nti ayagala buli gw’ayawukana naye alye ku kasasiro? Kiviiri baali baayawukana emyaka ebiri, kati bwemba nkola naye musango?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...