TOP

Omuwala assizza Mayinja amabbabbanyi n'ayimba 'Oludica'

By Musasi wa Bukedde

Added 5th February 2016

Yabadde ne bayimbi banne aba Golden Band nga bali wamu ne ba Abey Mukiibi aba Afri Talent ku Bat Valley Theatre gye bakyagenda mu maaso n’okusanyusa abantu mu kibbiitu kye batuumye ‘Overdose ky’ofa Togabye’.

Mabaale 703x422

Mayinja ng’ayimba atunuulidde Karitas Kario amussa amabbabbanyi.

Ronald Mayinja omukazi amussizza amabbabbanyi bw’abadde ayimba ‘Nteebereza okukusubwa…. Omuli ekitundu kya Lwaki onnumya omwoyo…..’ .

Yabadde ne bayimbi banne aba Golden Band nga bali wamu ne ba Abey Mukiibi aba Afri Talent ku Bat Valley Theatre gye bakyagenda mu maaso n’okusanyusa abantu mu kibbiitu kye batuumye ‘Overdose ky’ofa Togabye’.

Ronald Mayinja agamba nti basanyusa abantu mu nnyimba kwe bagasse n’okuzannya katemba nga bali ne ba Abey Mukiibi ku wiikendi eno.

Bali n’abayimbi ba Golden Band bonna okuli Meshach Ssemakula, Golden Papa, Catherine Kusaasira, Stecia Mayanja nga bali wamu ne Flavia Namulindwa owa Bukedde TV, Patrico Mujuuko n’abalala.

Balina endaga bbiri buli lunaku emisana n’akawungeezi ng’okuyingira osasula 20,000/-.

Ronald Mayinja ne Charles James Ssenkubuge ekibbiitu bakyesigamizza ku kuyigiriza abantu okubeerawo nga tebalina n’engeri gye bayinza okweyisaamu nga balina ssente.

Baalaze n’abantu ab’enjawulo abakola ebintu ne babiyitiriza ate ne bivaamu emitawaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...