TOP

DESIRE LUZINDA: Engeri abasajja n’ebyokwerinda gye bimutadde ku bunkenke

By Martin Ndijjo

Added 9th February 2016

Wadde ng’ensonga entuufu emutuusizza mu mbeera eno tennategeerekeka, abamuli ku lusegere bakitadde ku basajja bacanga kyokka ye Desire agamba nti kino akikola lwa nsonga za byakwerinda bye.

Back1 703x422

Omuyimbi Desire Luzinda mu biseera bye eby’eddembe.

OMUYIMBI Desire Luzinda ow’ekitone bimusobedde! Ng’akyalwana okutereeza erinnya lye oluvannyuma lwa muganzi we Omunigeria Franklin Emuobor Ebenhron okusaasaanya obutambi obwanika obwereere bwe ku mikutu gya yintanenti ssaako abamubanja abaali bamusuza ku nsiko, Desire azzeemu okufuna obuzibu obumutuusizza okusenguka buli kiro n’okukyusa mmotoka mw’atambulira ng’ebikooyi.

Wadde ng’ensonga entuufu emutuusizza mu mbeera eno tennategeerekeka, abamuli ku lusegere bakitadde ku basajja bacanga kyokka ye Desire agamba nti kino akikola lwa nsonga za byakwerinda bye.

Desire e Naalya mu Estate amazeeyo emyaka nga musanvu mu nnyumba egambibwa okuba nti yagigula.

van semwanga ku kkono ne ing awrence nga beetegereza esire mu katimba Ivan Ssemwanga (ku kkono) ne King Lawrence nga beetegereza Desire mu katimba.

Gano ge gamanyiddwa ng’amaka ge kyokka waliwo abatugambye nti ennyumba eno takyagisulamu.

Alina amaka amalala mu Kapeera Zooni e Kyaliwajjala okumpi n’e Kira gy’atera okusula.

nnyumba ya esire esangibwa e aalya agivaamu nagiteekamu abapangisa Ennyumba ya Desire esangibwa e Naalya. Yagivaamu n’agiteekamu abapangisa.

 

Oluusi asula Makerere ku Makerere Flats (wano we yakulira) ate olulala abuyiwa Buziga (eno kigambibwa nti alinayo mikwano gye).

Desire Luzinda bwe yatuukiriddwa ku ssimu ng’abuuzibwa ku nsonga eno, yasoose kubuuza nti, ‘‘okukyusa ebifo gy’ensula kibakwatirako wa era kirimu kabi ki?

emba ngafuuwa esire uzinda doola Pemba ng’afuuwa Desire Luzinda doola.

Abantu be bansalirawo gye nnina okusula oba nnina kusooka kubategeeza?” Wabula oluvannyuma yagambye nti kino akikola lwa nsonga za byakwerinda kyokka yagaanye okubaako ekiwanvu kyayogera ku nsonga eno.

Omu ku mikwano gya Desire ataayagadde kumwatuukiriza mannya, embeera eno yagitadde ku basajja abazze bamwegwanyiza ng’agamba nti waliwo abamububira nga tebaagala kumulaba na basajja balala ng’ate abamu balina abakyala abayinza okumutuusaako obulabe.

 nnyumba ya esire gyazimba e atugga ne maama we wagifulumya gye buvuddeko nga kirabika yagimala Ennyumba ya Desire gy’azimba e Matugga ne maama we. Twagifulumya gye buvuddeko nga kirabika yagimala.

 

Ate omu ku baliraanwa be e Kyaliwajjala yatugambye nti, ‘‘embeera z’omuyimbi waffe ‘Maama Kitone’ manya Desire Luzinda naffe tetuzitegeera. Ekyewuunyisa omukyala ono mmotoka azikyusa nga bikooyi. Leero bw’omulaba mu Benz enkya abeera Mark X olulala waliwo abamukomyawo.

Ate olumu mmotoka gy’omulabamu ng’afuluma mu kudda omulaba mu ndala n’oluusi omwekanga alinnya madaala ayambuka ne gwazze naye. Lw’asiibyewo tafuluma nnyumba okutuusa ekiro ng’agenda okulya obulamu oba okuyimba mu bivvulu.

 esire uzinga ngayambadde olugoye lwakatimba olwasasamaza abasajja Desire Luzinga ng’ayambadde olugoye lw’akatimba olwasasamaza abasajja.

 

Waliwo n’eyatugambye nti Desire okusenguka e Naalya (mu maka mwe yali abeera ne muganzi we Omunigeria) bwe yakikoze olw’ebizibu ebibadde bimuzimbyeko akayumba n’asalawo okugipangisa afunemu ssente okusasula amabanja nga bwe yeetereeza.

Guno si gwe mulundi gwa Desire ogusoose okulaajana ku byokwerinda bye, azze afuna ebizibu kyokka ebisinga ku bino nga byekuusa ku nsonga z’abasajja ekireetedde abamu ku bawagizi be okulowooza nti ne ku mulundi guno zandiba ensonga z’abasajja ze zimutadde ku bunkenke.

 esire uzinda nmunigeria eyamwanika ku yintanenti ngali bwereere Desire Luzinda n’Omunigeria eyamwanika ku yintanenti ng’ali bwereere.

 

Ebizibu Desire by’azze ayitamu l Ng’oggyeko okwanika obwereere bwe ku mikutu gya yintanenti, mu November wa 2014, Desire azze ayita mu bizibu ebiweerako.

Mu May wa 2012, yatwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya ng’ataawa nga kigambibwa nti yali akubiddwa abazigu n’okutuusa kati abatannamanyika. Byali ku luguudo lwa Northern by Pass ng’adda mu maka ge e Naalya.

Yagamba nti baasooka kumuweereza bubaka bumutiisatiisa n’abiyita eby’okusaaga. Gye byaggweera ng’abantu babiyingizzaamu eby’okucanga abasajja.

esire uzinga ngayambadde olugoye lwakatimba olwasasamaza abasajja Desire Luzinga ng’ayambadde olugoye lw’akatimba olwasasamaza abasajja.

 

  • Bawannyondo ba kkooti aba T/A Muteesasira Associates nga bakolera ku biragiro by’omusuubuzi Peter .G. Mugwanya baamukwata lwa bbanja lya bukadde 15 ze yamwewolako wabula n’alemererwa okuzimusasula mu bbanga lye baategeeragana.
  • Mu February wa 2015, poliisi yamukwatira ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ng’ava okuyimba e Congo - Brazaville nga kigambibwa nti baali bamunoonyerezaako ku misango okuli okukozesa olukujjukujju okuggya ssente obukadde 24 ku musomesa wa Yunivasite ya Cavendish n’okuyamba eyali mugazi we Franklin Emuobor okufuna pasipooti mu bukyamu. Kyokka Desire yategeeza nti bino byonna gwali mupango gwa muganzi we Omunigeria ng’ayagala okumulumya.          
  • Abasajja abazze boogerwako mu bulamu bwa Desire
  • Ng’oggyeko Franklin Emuobor Ebenhron agamba nti Desire yali amutwala nga mukyala we olw’okumala emyaka egisukka mu ena nga baagalana, Desire azze ayogerwako okubeera n’enkolagana ey’enjawulo n’abasajja abalala abamu ne batuuka n’okukaayanira muwala we.
  • John Kaddu: Ono Desire agamba ye taata w’omwana we Michelle. Y’omu ku basajja be yasooka okubeera nabo mu mukwano.
  • Juma Seiko: Ng’oggyeko okwewaana nga bwe yaliko muganzi wa Desire, Seiko amaze ebbanga ng’abanja Desire omwana omuwala ng’agamba nti ye taata we.
  • Jack Pemba: Y’omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu mu Kampala. Wadde nga waliwo ebigambibwa nti alina enkolagana ey’enjawulo ne Desire, bwe yabuuziddwa ku nkolagana ye ne Pemba, Desire yagambye nti ono mukwano gwe.
  • Hajji Naser Sebaggala: Newankubadde birudde nga biyitihhana nti n’ono alina enkolagana ey’enjawulo ne Desire, gye buvuddeko Ssebagala yategeeza nga Desire bwali mukwano gwe era amutwala nga muwala we.
  • Kenni: Ono yali akola mu kkampuni ya MTN era kigambibwa y’omu ku basooka okubeera mu mukwano ne Desire. Ku lukalala kuliko n’omukungu wa Villa omu. Eby’embaga gye yalangirira Mu June wa 2015, Desire yategeeza nga bwe yali afunye omulenzi ng’ateekateeka kumukuba mbaga amuwonye laavu y’amakuuli. Omukolo guno baali bagusuubira kubeerawo mu December wa 2015.
 esire uzinda ngazina ne addu eyali muganzi we aali ku kabaga ka abaka akaamazaalibwa Desire Luzinda ng’azina ne Kaddu eyali muganzi we. Baali ku kabaga ka Kabaka akaamazaalibwa.

 

Bwe yabuuziddwa ekyagaana omukolo guno okubaawo n’amannya g’omusajja yazzeemu nti baagwongezaayo olw’ensonga zaataayogedde ate n’erinnya ly’omusajja talyogera ng’agamba nti yeekengera abantu abatamwagaliza okubatabula ng’ate agyesunga asirise abantu abazze bamwogerera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja